bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ezekiel 36
Ezekiel 36
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 35
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 37 →
1
“Naawe, omwana w'omuntu, yogera eri ensozi za Isiraeri, ogambe nti, Mmwe ensozi za Isiraeri, muwulire ekigambo kya Mukama.
2
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Kubanga omulabe aboogeddeko nti ‘Otyo!’ Ebifo ebigulumivu eby'edda kaakano byaffe,
3
kale yogera nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga, baabaccocca ne babayigganya enjuyi zonna, amawanga amalala gabalye, era mwafuuka eky'okwogerwako era ne baboogerako eby'obulimba;
4
kale, mmwe ensozi za Isiraeri, muwulire ekigambo kya Mukama Katonda; bw'ati Mukama Katonda bw'agamba ensozi n'obusozi, ensalosalo n'ebiwonvu, ebifulukwa, n'ebibuga ebyafuuka amatongo, ebyafuuka omuyiggo n'eky'okusekererwa eri amawanga ageetoolodde;
5
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Mazima njogerera mu busungu bwange obungi eri amawanga amalala n'eri Edomu yonna abeesunga okulya ensi yange, nga bajjudde essanyu n'okujooga mu mitima gyabwe, ne bagifuula okuba omuyiggo gwabwe.
6
Kale yogera eri ensi ya Isiraeri ogambe ensozi n'obusozi, ensalosalo n'ebiwonvu, nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, njogera nga nzijudde obuggya n'obusungu, mwasekererwa nnyo amawanga.
7
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Nnyimusizza omukono gwange nga njogera nti Mazima amawanga agabeetoolodde nago galisekererwa.”
8
“Naye mmwe, ayi ensozi za Isiraeri, mulireeta amatabi gammwe, ne mubalira abantu bange Isiraeri ebibala kubanga banaatera okudda ewaabwe.
9
Kubanga, laba, nze ndi ku lwammwe, era ndibakwatirwa ekisa, nammwe mulirimibwa, ne musigibwa,
10
era ndibaaza mmwe, ennyumba yonna eya Isiraeri nga bweyenkana, ebibuga birituulwamu n'ebyali ebifulukwa biriddaabirizibwa.
11
Ndyaza abantu n'ensolo era abantu balyeyongera okuzaala era n'ensolo, era ndibazzayo ewammwe, era ndibakola bulungi okusinga bwe nnakola mu kusooka, kale mulimanya nga nze Mukama.
12
Nditambuliza ku mmwe, abantu bange Isiraeri, balibafuga era muliba mugabo gwabwe, era temuliddamu kutta baana baabwe.
13
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga babagamba nti, Ggwe ensi, oli muli wa bantu, wasaanyaawo abantu b'eggwanga lyo;
14
n'olw'ekyo toliddayo kusaanyaawo bantu, era tolifiiriza nate eggwanga lyo, bw'ayogera Mukama Katonda.
15
Toliddamu nate kuwulira kusekererwa kw'amawanga, wadde okuvumibwa abantu, so tolyesittaza nate ggwanga lyo, bw'ayogera Mukama Katonda.”
16
Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti,
17
“Omwana w'omuntu, ennyumba ya Isiraeri bwe baatuulanga mu nsi yaabwe, baagyonoona olw'empisa zaabwe n'olw'ebikolwa byabwe, era empisa zaabwe zaali ng'obutali bulongoofu bw'omukazi mu kweyawula kwe.
18
Kyennava mbafukako ekiruyi kyange, olw'omusaayi bo gwe bayiwa mu nsi, era n'olw'okugyonoona nga basinza ebifaananyi byabwe.
19
Ne mbasaasaanyiza mu mawanga ne bataataaganira mu nsi nnyingi, ne mbasalira omusango ng'empisa zaabwe n'ebikolwa byabwe bwe byali.
20
Awo bwe baatuuka mu mawanga gye baagenda, ne bavumisa erinnya lyange ettukuvu; kubanga abantu baaboogerangako nti, ‘Bano bantu ba Mukama, naye baava mu nsi ye.’
21
Naye ne nsaasira erinnya lyange ettukuvu ennyumba ya Isiraeri lye baali bavumisizza mu mawanga gye baagenda.
22
Kale gamba ennyumba ya Isiraeri nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Sikola kino ku lwammwe, ayi ennyumba ya Isiraeri, naye ku lw'erinnya lyange ettukuvu lye muvumisizza mu mawanga gye mwagenda.
23
Era nditukuza erinnya lyange ekkulu eryavumisibwa mu mawanga, mmwe lye muvumisizza wakati mu go; kale amawanga galimanya nga nze Mukama, bw'ayogera Mukama Katonda, bwe nditukuzibwa mu mmwe mu maaso gaabwe.
24
Kubanga ndibaggya mu mawanga, ne mbakuŋŋaanya okubaggya mu nsi zonna, ne mbayingiza mu nsi yammwe mmwe.
25
Era ndibamansirako amazzi amalungi, era muliba balongoofu, ndibalongoosa ne mbaggya mu bibi byammwe byonna ne mu bifaananyi byammwe byonna.
26
Era ndibawa n'omutima omuggya, ne nteeka omwoyo omuggya munda mu mmwe; era ndiggya omutima ogw'ejjinja mu mubiri gwammwe ne mbawa omutima ogw'ennyama.
27
Era nditeeka omwoyo gwange munda mu mmwe, ne mbatambuliza mu mateeka gange, era mulikwata ebiragiro byange ne mubikola.
28
Awo munaabeeranga mu nsi gye nnawa bajjajjammwe; nammwe munaabanga bantu bange, nange n'abanga Katonda wammwe.
29
Era ndibawonya mu butali bulongoofu bwammwe bwonna; era ndiyita eŋŋaano, ne ngyaza, so siribaleetako njala.
30
Era ndyaza ebibala eby'emiti, n'ekyengera eky'omu nnimiro, mulemenga okusekererwa nate mu mawanga olw'enjala.
31
Kale olwo ne mulyoka mujjukira amakubo gammwe amabi n'ebikolwa byammwe ebitali birungi, era mulyetamwa mmwe olw'obutali butuukirivu bwammwe n'olw'emizizo gyammwe.
32
Mukimanye sikola kino ku lwammwe, bw'ayogera Mukama Katonda, naye mukwatibwe ensonyi olw'amakubo gammwe, muswale, ayi ennyumba ya Isiraeri.
33
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ku lunaku lwe ndibanaalizaako obutali butuukirivu bwammwe bwonna, ndituuza abantu mu bibuga, n'ebifulukwa biriddabirizibwa.
34
N'ensi eyazika eririmibwa, ereme kuba nate ensiko mu maaso g'abo bonna abaagiyitaangamu.
35
Kale balyogera nti, Ensi eno eyali ezise efuuse ng'olusuku Edeni; n'ebibuga ebyali bifuuse amatongo, kaakano bikoleddwako bbugwe era birimu abantu ababibeeramu.
36
Kale amawanga agasigadde agabeetoolodde galimanya nga nze Mukama nziddabiriza ebifo ebyayonoonebwa, n'okulongoosa ebyali bizise, nze Mukama nkyogedde, era ndikikola.”
37
“Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Era njagala ennyumba ya Isiraeri okunsaba ekyo okukibakolera; ndibongerako abantu babeere ng'ekisibo.
38
Balyala ng'ekisibo kya ssaddaaka, ng'ekisibo kyo mu Yerusaalemi mu mbaga zaakyo ezaalagirwa ebibuga ebyali amatongo bwe birijjula bwe bityo enkuyanja y'abantu. Kale balimanya nga nze Mukama.”
← Chapter 35
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 37 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48