bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ezekiel 30
Ezekiel 30
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 31 →
1
Ekigambo kya Mukama ne kinjijira nate nga kyogera nti,
2
“Omwana w'omuntu, langirira nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda,” “Muwowoggane nti Zisanze olunaku!
3
Kubanga olunaku luli kumpi, olunaku lwa Mukama luli okumpi, olunaku olw'ebire; kiseera ekya kazigizigi eri amawanga.
4
Ekitala kirijja ku Misiri, n'obubalagaze buliba mu Buwesiyopya, abo abattiddwa bwe baligwa mu Misiri; obugagga bwe bulitwalibwa, n'emisingi gyayo girimenyekera ddala.”
5
“Obuwesiyopya, ne Puti, ne Ludi, ne Buwalabu yonna, ne Kubu, n'abantu bonna ab'ensi ez'endagaano, balittibwa ne kitala wamu nabo.”
6
“Bw'ati bw'ayogera Mukama: Abo abawagira Misiri baligwa, n'amalala ge galimuggwamu; okuva ku kigo eky'e Sevene baligwa omwo n'ekitala, bw'ayogera Mukama.
7
Era baliba nga balekeddwawo wakati mu nsi ezaalekebwawo, n'ebibuga byayo biriba wakati mu bibuga ebyazisibwa.
8
Kale balimanya nga nze Mukama, bwe ndimala okukuma omuliro ku Misiri, n'ababeezi baayo bonna nga babetenteddwa.”
9
“Ku lunaku olwo ababaka balitambula nga bava mu maaso gange nga bagendera mu byombo okutiisa Abaesiyopya abeegolola; kale obubalagaze buliba ku bo, nga ku lunaku lwa Misiri; kubanga, laba, lujja.”
10
“Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda, Ndikomya obugagga bwa Misiri, n'omukono gwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni.
11
Ye n'abantu be awamu naye, ab'entiisa mu mawanga, balireetebwa okuzikiriza ensi; era balisowola ebitala byabwe okulwanyisa Misiri, ne bajjuza ensi abo abattiddwa.
12
Era ndikaza Kiyira, ne ntunda ensi mu mukono gw'abantu ababi; era ndizikiriza ensi ne byonna ebirimu, n'omukono gwa bannamawanga. Nze Mukama nkyogedde.
13
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda, Ndizikiriza n'ebifaananyi ebisinzibwa, era ndimalamu ebifaananyi ebikole mu Noofu; tewaliba nate mulangira ava mu nsi y'e Misiri, era nditeeka entiisa mu nsi y'e Misiri.
14
Ndifuula Pasulo okuba amatongo, ne Zowani ndimukumako omuliro, n'ab'e Tebesi ndibabonereza.
15
Era ndifuka ekiruyi kyange ku Sini, ekigo kya Misiri eky'amaanyi, era ndimalirawo ddala abantu bonna ab'e Tebesi.
16
Era ndikuma omuliro ku Misiri; Sini kiriba mu bubalagaze bungi, Ne Tebesi kirimenyeka, ne Noofu kiriba n'abalabe emisana.
17
Abalenzi ba Aveni n'aba Pibesesi baligwa n'ekitala, n'ebibuga bino birigenda mu busibe.
18
Era e Tekafunekeesi kiriba kizikiza emisana, bwendimenya ekikoligo kya Misiri, Amanyi ge yeewaana nago galiggwaawo, alibikibwako ekire, n'abantu bakyo balitwalibwa mu busibe.
19
Bwe ntyo bwe ndibonereza Misiri, kale balimanya nga nze Mukama.”
20
Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu mu mwezi ogwolubereberye ku lunaku olw'omwezi olw'omusanvu ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti,
21
“Omwana w'omuntu, mmenye omukono gwa Falaawo kabaka w'e Misiri; era, laba, tegusibiddwa okusiigako eddagala, n'okugusaako ekiwero okugusiba, gubeere n'amaanyi okukwata ekitala.
22
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndi mulabe wa Falaawo kabaka w'e Misiri, era ndimenya emikono gye, ogw'amaanyi n'ogwo ogwamenyeka; era ndisuula ekitala okuva mu mukono gwe.
23
Era ndisaasaanyiza Abamisiri mu mawanga, era ndibataataaganyiza mu nsi nnyingi.
24
Era ndinyweza emikono gya kabaka w'e Babbulooni, ne nteeka ekitala kyange mu mukono gwe: naye ndimenya emikono gya Falaawo, kale alisindira mu maaso ge ng'omuntu afumitiddwa agenda okufa bw'asinda.
25
Era ndinyweza emikono gya kabaka w'e Babbulooni, n'emikono gya Falaawo girinafuwa. Kale balimanya nga nze Mukama, bwe nditeeka ekitala kyange mu mukono gwa kabaka w'e Babbulooni, naye alikigololera ku nsi y'e Misiri.
26
Era ndisaasaanyiza Abamisiri mu mawanga ne mbataataaganyiza mu nsi nnyingi; kale balimanya nga nze Mukama.”
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 31 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48