bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ezekiel 39
Ezekiel 39
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 38
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 40 →
1
“Naawe, omwana w'omuntu, yogera eri Googi nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndi mulabe wo, gwe Googi, omulangira wa Loosi, Meseki, ne Tubali.
2
Ndikukyusa ne nkuggya okuva e bukiikakkono obw'ewala ennyo, ne nkutuusa ku nsozi za Isiraeri.
3
Ndiggya omutego gwo mu mukono gwo ogwa kkono, ne nkusuuza n'obusaale bwo obuli mu mukono gwo ogwa ddyo.
4
Oligwa ku nsozi za Isiraeri, ggwe n'eggye lyo lyonna n'amawanga agali naawe: ndikuwaayo eri ennyonyi ez'amaddu ez'engeri zonna n'eri ensolo ez'omu nsiko okuliibwa.
5
Oligwa ku ttale mu bbanga, kubanga nze nkyogedde, bw'ayogera Mukama Katonda.
6
Era ndiweereza omuliro ku Magogi, ne ku abo abatuula ku bizinga nga tebaliiko kye batya: kale balimanya nga nze Mukama.”
7
“Era ndimanyisa erinnya lyange ettukuvu wakati mu bantu bange Isiraeri; so siriganya erinnya lyange ettukuvu kuvumibwa nate, kale amawanga galimanya nga nze Mukama, Omutukuvu mu Isiraeri.
8
Kijja, era kirikolebwa, bw'ayogera Mukama Katonda; luno lwe lunaku lwe nnayogerako.
9
N'abo abatuula mu bibuga bya Isiraeri balifuluma, ne babissaako omuliro eby'okulwanyisa, engabo ennene ne ntono, emitego n'obusaale, emiggo n'amafumu, balibikozesa ng'enku okumala emyaka musanvu.
10
Tekiribeetaagisa kutyaba nku mu ttale so tebalitema nku zonna mu kibira; kubanga eby'okulwanyisa bye balikozesa ng'enku, balinyaga abo abaabanyaganga, era balibba abo abaabalabanga, bw'ayogera Mukama Katonda.”
11
“Awo olulituuka ku lunaku olwo ndiwa Googi ekifo eky'okuziikamu mu Isiraeri, ekiwonvu ky'abatambuze ku luuyi olw'ennyanja olw'ebuvanjuba. Kiriziba ekkubo ly'abatambuze, kubanga baliziika eyo Googi n'enkuyanja y'abantu be bonna. Kale balikiyita nti, ‘Kiwonvu Kamonugoogi.’
12
Era ennyumba ya Isiraeri balimala emyezi musanvu nga babaziika, balongoose ensi.
13
Weewaawo, abantu bonna ab'omu nsi balibaziika; era kiriba kya kaati gyebali ku lunaku lwe ndigulumizibwa, bw'ayogera Mukama Katonda.
14
Era balisaawo abasajja okukola omulimu gw'okulongoosa ensi, nga bayita mu nsi okunoonya n'okuziika abatambuze abalisigala ku ngulu ku nsi. Oluvannyuma lw'emyezi musanvu balitandika okunoonya abafu.
15
N'abo abanaayitanga mu nsi, bwe banaalabanga eggumba ly'omuntu yenna, anaasimbangako akabonero, okutuusa abaziisi lwe baliriziika mu kiwonvu Kamonugoogi.
16
Era walibaawo ekibuga ekiriyitibwa Kamona. Bwe batyo bwe balirongoosa ensi.”
17
“Naawe, omwana w'omuntu, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Yogera n'ennyonyi ez'engeri zonna na buli nsolo ey'omu nsiko nti Mukuŋŋaane, mujje mukuŋŋaane okuva enjuyi zonna eri ssaddaaka yange gye mbateekeddeteekedde, ssaddaaka ennene ku nsozi za Isiraeri, mulye ennyama, munywe n'omusaayi.
18
Mulirya ennyama ey'ab'amaanyi, ne munywa omusaayi gw'abalangira ab'ensi, ogw'endiga ennume n'ogw'abaana b'endiga n'ogw'embuzi, n'ogw'ente ennume, zonna eza ssava ez'e Basani.
19
Era mulirya amasavu ne mukkuta, ne munywa omusaayi ne mugutamiira, ku ssaddaaka yange gye mbateekeddeteekedde.
20
Era mulikkutira mu ddiiro lyange, embalaasi n'amagaali, abasajja ab'amaanyi n'abasajja bonna abalwanyi, bw'ayogera Mukama Katonda.”
21
“Era nditeeka ekitiibwa kyange mu mawanga, n'amawanga gonna galiraba ekibonerezo kye ndikuwa, n'omukono gwange gwe mbataddeko.
22
Kale ennyumba ya Isiraeri balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe okuva ku lunaku olwo n'okweyongerayo.
23
N'amawanga galimanya ng'ennyumba ya Isiraeri baagenda mu busibe olw'obutali butuukirivu bwabwe; kubanga bansobya ne mbakweka amaaso gange ne mbawaayo mu mukono gw'abalabe baabwe, bonna ne battibwa n'ekitala.
24
Ng'obutali bulongoofu bwabwe bwe bwali era ng'okusobya kwabwe bwe kwali, bwe ntyo bwe nnabakola, ne mbakweka amaaso gange.”
25
“Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Kaakano nnaakomyawo obusibe bwa Yakobo, ne nsaasira ennyumba yonna eya Isiraeri; era ndikwatirwa erinnya lyange ettukuvu obuggya.
26
Balyerabira okuswazibwa kwabwe n'okusobya kwabwe kwonna kwe bansobya, bwe balituula mu nsi yaabwe nga tebaliiko kye batya, so nga tewali abatiisa;
27
bwe ndiba nga mbakomezzaawo okubaggya mu mawanga, era nga mbakuŋŋaanyizza okuva mu nsi ez'abalabe baabwe, era nga ntukuziddwa mu bo mu maaso g'amawanga amangi.
28
Kale balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe, kubanga n'abasindika mu busibe mu mawanga, era nga mbakuŋŋaanyizza mu nsi yaabwe bo; so ssirireka nate n'omu ku bo okubeera eyo;
29
so ssiribakweka nate maaso gange: kubanga nfuse omwoyo gwange ku nnyumba ya Isiraeri, bw'ayogera Mukama Katonda.”
← Chapter 38
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 40 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48