bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ezekiel 32
Ezekiel 32
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 33 →
1
Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri (12), mu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri (12) ku lunaku olw'omwezi olwolubereberye ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti,
2
“Omwana w'omuntu, tandika okukungubagira Falaawo kabaka w'e Misiri omugambe nti,” “Weetwala ng'empologoma mu mawanga, naye oli ng'ogusota oguli mu nnyanja; ng'owaguza mu migga gyo, n'otabangula amazzi n'ebigere byo, ng'osiikula emigga gyabwe.
3
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Ndikusuulako omugonjo gwange n'ekibiina eky'amawanga amangi; era balikuvuba n'omugonjo gwange.
4
Era ndikuleka ku lukalu ne nkukasuka ku ttale, ne nkugwisaako ennyonyi zonna ez'omu bbanga, ensolo ez'omu nsi zirikulya ne zibwegera.
5
Era ndisaasaanya ennyama y'omubiri gwo ku nsozi, ne njijuza ebiwonvu amagumba go.
6
Era nditotobaza ensi okutuukira ddala ne ku nsozi omusaayi gwo nga gukulukuta, n'emikutu gy'amazzi girikujjula.
7
Awo bwe ndikumalawo, ndibikka ku ggulu ne nfuula emmunyeenye zaamu okubaako ekizikiza; era ndibikka ekire ku njuba, so n'omwezi tegulireeta kwaka kwagwo.
8
Ebitangaala byonna eby'omu ggulu ebyakaayakana birikufuukira ekizikiza, ne bireeta ekizikiza ku nsi yo, bw'ayogera Mukama Katonda.”
9
“Era ndyeraliikiriza emitima gy'amawanga amangi, bwe ndikutwala ng'oli musibe mu mawanga, mu nsi z'otomanyanga.
10
Abantu bangi balisamalirira ku lulwo, ne bakabaka baabwe balitya nnyo, ne bakankana ku lulwo, bwe ndigalula ekitala kyange mu maaso gaabwe; era balikankana buli kaseera, buli muntu ng'akankanira obulamu bwe ye, ku lunaku olw'okugwa kwo.
11
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti,‘ Ekitala kya kabaka w'e Babbulooni kirituuka ku ggwe.’
12
Abantu bo bangi ebitala eby'ab'amaanyi biri batta, abantu ab'entiisa mu mawanga.” “Balimalawo amalala ga Misiri, abantu be bonna balizikirizibwa.
13
Ndizikiriza ensolo zaayo zonna okuva awali amazzi amangi; era tewaliba kigere kya muntu kirigatabangula nate, wadde ebinuulo eby'ensolo okugatabangula.
14
Kale ndirongoosa amazzi gaabwe, ne nkulukusa emigga gyabwe ng'amafuta, bw'ayogera Mukama Katonda.
15
Bwe ndirekawo ensi y'e Misiri ne ngizisa, ne ngiggyamu buli kintu ekyagirimu, ne nzita bonna abalimu, kale ne balyoka bamanya nga nze Mukama.”
16
Kuno kwe kukungubaga kwe balikungubaga; abawala ab'amawanga balikungubaga bwe batyo; balikungubagira Misiri n'abantu baamu bonna bwe batyo, bw'ayogera Mukama Katonda.
17
Era olwatuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi n'ettaano (15) ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti,
18
“Omwana w'omuntu, kubira ebiwoobe abantu bonna ab'e Misiri, obasuule wansi, ye n'abawala ab'amawanga agaayatiikirira, mu njuyi ez'ensi eza wansi, wamu n'abo abakka mu bunnya.”
19
“Osinga ani obulungi? serengeta oteekebwe wamu n'abatali bakomole.”
20
“Baligwa wakati mu abo abattiddwa n'ekitala, aweereddwayo eri ekitala: muggyeewo n'abantu be bonna.
21
Ab'amaanyi ab'obuyinza balyogera naye nga bayima wakati mu magombe wamu n'abo abamuyamba: baserengese, bagalamidde, basirise, abatali bakomole abattibwa n'ekitala.
22
Asuli ali eyo n'ekibiina kye kyonna; amalaalo ge gamwetooloodde, bonna battiddwa, bagudde n'ekitala:
23
amalaalo gaabwe gateekebwa mu njuyi ez'obunnya ezikomererayo, n'ekibiina kye kyetoolodde amalaalo ge, bonna battiddwa, bagudde n'ekitala, abaaleetanga entiisa mu nsi ey'abalamu.
24
Eramu ali eyo n'abantu be bonna nga beetoolodde amalaalo ge, bonna battiddwa, bagudde n'ekitala, abasse nga si bakomole mu njuyi ez'ensi eza wansi, abaaleetanga entiisa yaabwe mu nsi ey'abalamu, ne babaako ensonyi zaabwe wamu n'abo abakka mu bunnya.
25
Bamusimbidde ekitanda wakati mu abo abattiddwa wamu n'abantu be bonna, amalaalo ge gamwetooloodde, bonna si bakomole, abattiddwa n'ekitala; kubanga entiisa yaabwe yaleetebwanga mu nsi ey'abalamu, ne babaako ensonyi zaabwe wamu n'abo abakka mu bunnya, ateekeddwa wakati mu abo abattiddwa.
26
Meseki, Tubali, n'abantu be abangi abali eyo, amalaalo gaabwe gabeetooloodde, bonna abatali bakomole, abattiddwa n'ekitala; kubanga baaleetanga entiisa yaabwe mu nsi ey'abalamu.
27
So tebaligalamira wamu n'ab'amaanyi abagudde ku batali bakomole, abasse mu magombe nga balina eby'okulwanyisa byabwe n'ebitala byabwe nga biteekeddwa ku mitwe gyabwe, n'obutali butuukirivu bwabwe buli ku magumba gaabwe; kubanga baabanga ntiisa eri ab'amaanyi mu nsi ey'abalamu.
28
Naye olimenyekera wakati mu batali bakomole, era oligalamira wamu n'abo abattiddwa n'ekitala.
29
Edomu naye ali eyo, bakabaka be n'abakungu be, newakubadde nga ba maanyi, abateekeddwa wamu n'abo abattiddwa n'ekitala. Bagalamidde n'abatali bakomole n'abo abakka mu bunnya.
30
Eriyo abalangira bonna ab'obukiikakkono, n'Abasidoni bonna, abasse n'abo abattiddwa; newakubadde nga baaleeta entiisa olw'amaanyi gaabwe, bakwatiddwa ensonyi; era bagalamidde nga si bakomole wamu n'abo abattiddwa n'ekitala, ne babaako ensonyi zaabwe wamu n'abo abakka mu bunnya.
31
Falaawo bwalibalaba, alyekubagiza olw'abantu n'asanyusibwa olw'olufulube lwe lwonna: Falaawo n'eggye lye lyonna abattiddwa n'ekitala, bw'ayogera Mukama Katonda.
32
Kubanga ntadde entiisa ye mu nsi ey'abalamu, era aliteekebwa wakati mu batali bakomole wamu n'abo abattiddwa n'ekitala, ye Falaawo n'abantu be bonna, bw'ayogera Mukama Katonda.”
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 33 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48