bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ezekiel 34
Ezekiel 34
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 33
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 35 →
1
Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti,
2
“Omwana w'omuntu, gamba abasumba ba Isiraeri, obagambe abasumba nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Zibasanze abasumba ba Isiraeri abeeriisa bokka! abasumba tebasaanye kuliisa ndiga?
3
Mulya amasavu, ne mwambala ebyoya, ne mutta ensolo ensava, naye ne mutaliisa ndiga.
4
Eteyinza temugizizzamu maanyi, so n'endwadde temugijjanjabye, emenyese temugisibye, ewabye temuginoonyeza, ebuze temugikomezzaawo, naye muzifuze n'amaanyi n'amawaggali.
5
Ne ziryoka zisaasaana olw'obutabaako musumba, ne ziba kya kulya eri ensolo ez'omu nsiko.
6
Endiga zange zaabulubuutira ku nsozi ne ku buli kasozi akawanvu, weewaawo, ne zisaasaana okubuna ensi yonna, ne zibulwako azinoonya wadde okuzibuuliriza.
7
Kale, mmwe abasumba, muwulire ekigambo kya Mukama.
8
Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, mazima kubanga endiga zange zaafuuka muyiggo, era endiga zange zaafuuka kya kulya eri ensolo ez'omu nsiko olw'obutabaako musumba, era n'abasumba bange tebanoonya ndiga zange, naye ne beeriisa bokka ne bataliisa ndiga zange;
9
kale, mmwe abasumba, muwulire ekigambo kya Mukama;
10
bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndi mulabe wa basumba; era ndivunaana endiga zange mu mukono gwabwe, ne mbalekesaayo okuliisa endiga; so n'abasumba tebalyeriisa bokka nate; era ndiwonya endiga zange mu kamwa kaabwe zireme okuba eky'okulya eri bo.
11
Kubanga Mukama Katonda bw'ayogera bw'ati nti Laba, nze mwene, nze ndinoonya endiga zange, ne nzibuuliriza.
12
Ng'omusumba bw'abuuliriza ekisibo kye ku lunaku lw'abeera mu ndiga ze ezisaasaanye, bwe ntyo bwe ndibuuliriza endiga zange; era ndiziggya mu bifo byonna gye zaasaasaanira ku lunaku olw'ebire olw'ekizikiza.
13
Era ndiziggya mu mawanga, ne nzikuŋŋaanya okuziggya mu nsi nnyingi, ne nzireeta mu nsi yaazo zo; era ndiziriisiza ku nsozi za Isiraeri ku lubalama lw'ensalosalo z'amazzi ne mu bifo byonna ebibeerwamu eby'ensi.
14
Ndiziriisa omuddo omulungi, era ku ntikko z'ensozi za Isiraeri kwe zirirundirwa. Eyo gye zirigalamira mu kisibo ekirungi, ne ziriira omuddo omugimu ku nsozi za Isiraeri.
15
Nze mwene ndiriisa endiga zange ne nzigalamiza, bw'ayogera Mukama Katonda.
16
Ndinoonya ezaabula, ne nkomyawo ezaawaba, ne nsiba ezaamenyeka, ne nzizzaamu amaanyi eziteyinza, naye ezassava n'ez'amaanyi, ndizirabirira ne nziriisa mu mazima.
17
Nammwe, ekisibo kyange, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, nsala omusango ogw'ensolo n'ensolo, ogw'endiga ennume era n'embuzi ennume.
18
Mukiyita kigambo kitono nga mu maze okulya omuddo omulungi, naye ate ne mulinnyirira ogusigaddewo? Era nga mu maze okunywa amazzi amateefu, naye ate ne musiikuula n'ebigere byammwe agasigaddewo?
19
N'endiga zange zirya ebyo bye mulinnyiridde n'ebigere byammwe, ne zinywa ago ge musiikudde n'ebigere byammwe.”
20
“Mukama Katonda kyava abagamba bw'ati nti Laba, nze, nze mwene, ndisala omusango gw'endiga ensava n'ogw'endiga enkovvu.
21
Kubanga musindisa embiriizi n'ebibegabega, ne mutomeza ezirwadde zonna amayembe gammwe okutuusa lwe muzisaasaanyiza ddala;
22
kyendiva mponya ekisibo kyange, so teziriba nate muyiggo; nange ndisala omusango wakati w'endiga n'endiga.
23
Era ndissaawo ku zo omusumba omu, naye alizirunda, omuddu wange Dawudi, ye alizirunda, era ye aliba omusumba waazo.
24
Nange Mukama ndiba Katonda waabwe, n'omuddu wange Dawudi aliba mulangira mu bo, nze Mukama nkyogedde.
25
Era ndiragaana nabo endagaano ey'emirembe, era ndigoba mu nsi ensolo enkambwe, balibeera mu ddungu era ne beebaka mu kibira nga tebalina kye batya.
26
Era ndibawa omukisa wamu n'ebifo ebyetoolodde olusozi lwange; era nditonnyesa enkuba mu ntuuko yaayo, walibaawo enkuba ey'omukisa.
27
N'omuti ogw'omu ttale gulibala ebibala byagwo, n'ettaka lirireeta ekyengera kyalyo, nabo baliba mu nsi yaabwe nga tebaliiko kye batya; kale balimanya nga nze Mukama, bwe ndiba nga mmaze okumenya ebisiba eby'ekikoligo kyabwe, era nga mbawonnyezza mu mukono gw'abo abaabafuula abaddu.
28
So tebaliba muyiggo nate eri ab'amawanga, so n'ensolo ez'omu nsi teziribalya; naye balituula nga tebaliiko kye batya so tewaliba alibatiisa.
29
Era ndibayimusiza ensuku engimu, so tebalimalibwawo nate n'enjala mu nsi, so tebalibaako nsonyi za b'amawanga nate.
30
Kale balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe ndi wamu nabo, era nga bo, ennyumba ya Isiraeri, be bantu bange, bw'ayogera Mukama Katonda.
31
Nammwe, endiga zange, endiga ez'omu ddundiro lyange, muli bantu bange, nange ndi Katonda wammwe, bw'ayogera Mukama Katonda.”
← Chapter 33
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 35 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48