bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ezekiel 18
Ezekiel 18
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 19 →
1
Ekigambo kya Mukama kyanjijira nate nga kyogera nti,
2
“Mubadde mutya n'okugera ne mugerera olugero luno ensi ya Isiraeri nga mwogera nti, ‘Bakitaabwe balidde ezabbibu ezinyunyuntula, amannyo g'abaana ne ganyenyeera?’
3
Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, temuliddayo kugera lugero olwo mu Isiraeri.
4
Laba, emmeeme zonna zange; emmeeme ya kitaawe, n'emmeeme y'omwana zonna zange, oyo anaakolanga ekibi y'alifa.
5
Naye omuntu bw'aba omutuukirivu n'akola ebyalagirwa ebituufu;
6
natasinza bifaananyi eby'ennyumba ya Isiraeri, n'atalya ebiweereddwayo ku nsozi, natayonoona mukazi wa munne, natasemberera mukazi mu biseera bye eby'okweyawula buli mwezi;
7
natalyazaamaanya muntu yenna, naye naddizanga omwewoze omusingo gwe, natanyaga muntu yenna, n'awanga omuyala emmere ye, n'ayambaza n'abali obwereere;
8
ataawolanga lwa magoba, era nga takkiriza kutwala ezisukka mu ezo ze yawola, eyeewala okukola ekibi, era asala emisango gy'abantu mu bwenkanya,
9
eyatambuliranga mu mateeka gange, era eyakwatanga ebiragiro byange, n'akolanga eby'amazima: oyo ye mutuukirivu, talirema kuba mulamu, bw'ayogera Mukama Katonda.
10
Naye omuntu oyo bw'alizaala omwana omunyazi, ayiwa omusaayi, era akola ebyo byonna,
11
atakola ebyo byonna ebimugwanidde, naye nnaliiranga eby'omuzizo ku nsozi, n'ayonoona mukazi wa munne,
12
n'alyazaamaanya omwavu n'eyeetaaga, n'abba, n'ataddiza musingo eyamwewolako, n'asinzanga ebifaananyi, n'akola eby'emizizo,
13
eyawolanga olw'amagoba, era eyatwalanga ensimbi ezisuka mu ezo ze yawola, oyo aliba mulamu? Taliba mulamu: akoze eby'emizizo bino byonna: talirema kufa; omusaayi gwe guliba ku ye.
14
Naye bw'alizaala omwana, nnalaba ebibi byonna ebya kitaawe bye yakola, ye n'atya n'atakola ebifaanana bwe bityo,
15
nataliira ku nsozi, natayimusanga maaso ge eri ebifaananyi eby'ennyumba ya Isiraeri, natayonoonanga mukazi wa munne,
16
natalyazaamaanya muntu yenna, natasingirwa kintu, natabba, naye n'awanga omuyala emmere, naayambanga ali obwereere,
17
n'atakolanga bubi omwavu, n'atakkirizanga magoba newakubadde ensimbi ezisukiridde kwezo zeyawola, nnaakwatanga ebiragiro n'amateeka gange, oyo talifa lwa butali butuukirivu bwa kitaawe, naye aliba mulamu.
18
Naye kitaawe alifiira mu butali butuukirivu bwe kubanga yalyazaamanya, n'anyaga muganda we n'obukambwe, n'akola ebyo ebitali birungi mu bantu be.
19
Era naye mwebuuza nti, Omwana kiki ekimulobera okubonaabona olw'obutali butuukirivu bwa kitaawe? Omwana bw'aba nga akoze ebyalagirwa ebituufu, era ng'akutte amateeka gange gonna, n'agatuukiriza, ye aliba mulamu.
20
Emmeeme eyonoona y'erifa: omwana talibaako butali butuukirivu bwa kitaawe, so ne kitaawe talibaako butali butuukirivu bwa mwana we; obutuukirivu obw'omutuukirivu buliba ku ye, n'obubi obw'omubi buliba ku ye.
21
Naye omubi bw'akyukanga okuleka ebibi bye byonna bye yakola n'akwata amateeka gange gonna, n'akola ebyalagirwa ebituufu, aliba mulamu, talifa.
22
Tewaliba ku byonoono bye bye yakola ebirijjukirwa ku ye: alibeera mulamu mu butuukirivu bwe bwe yakola.
23
Nnina essanyu lye nsanyukira okufa kw'omubi? Bw'ayogera Mukama Katonda: naye saagala bwagazi akomewo okuva mu kkubo lye abeere omulamu?
24
Naye omutuukirivu bw'akyukanga okuleka obutuukirivu bwe n'akola ebitali bya butuukirivu, n'akola ng'emizizo gyonna bwe giri omuntu omubi gy'akola, aliba mulamu? Tewaliba ku bikolwa bye eby'obutuukirivu bye yakola ebirijjukirwa: mu kyonoono kye ky'ayonoonye ne mu kibi kye ky'akoze, mu ebyo mw'alifiira.”
25
“Era naye mwogera nti, ‘Ekkubo lya Mukama teryenkanankana.’ Muwulire nno, ayi ennyumba ya Isiraeri: ekkubo lyange si lye lyenkanankana? Amakubo gammwe si ge gatenkanankana?
26
Omuntu omutuukirivu bw'akyukanga okuleka obutuukirivu bwe n'akola ebitali bya butuukirivu, n'afiira omwo; mu butali butuukirivu bwe bw'akoze mw'alifiira.
27
Nate omuntu omubi bw'akyukanga okuleka obubi bwe bw'akoze n'akola ebyo ebyalagirwa eby'ensonga aliwonya emmeeme ye okufa.
28
Kubanga alowooza n'akyuka n'alekerawo okukola ebibi, aliba mulamu, talifa.
29
Era naye ennyumba ya Isiraeri boogera nti, ‘Ekkubo lya Mukama teryenkanankana.’ Ayi ennyumba ya Isiraeri, amakubo gange si ge genkanankana? Amakubo gammwe si ge gatenkanankana?
30
Kyendiva mbasalira omusango, ayi ennyumba ya Isiraeri, buli muntu ng'amakubo ge bwe gali, bw'ayogera Mukama Katonda. Mukomewo, mukyuke muve mu byonoono byammwe byonna; kale obutali butuukirivu buleme okubazikiriza.
31
Musuule wala ebyonoono byammwe byonna bye mwonoonye; mufune omutima omuggya n'omwoyo omuggya: kubanga kiki ekibaagaza okufa, ayi ennyumba ya Isiraeri?
32
Kubanga sirina ssanyu lye nsanyukira okufa kw'oyo afa, bw'ayogera Mukama Katonda: kale mukyuke mube balamu.”
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48