bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ezekiel 16
Ezekiel 16
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 17 →
1
Nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera
2
nti, “Omwana w'omuntu, manyisa Yerusaalemi emizizo gyakyo,
3
oyogere nti Bw'ati Mukama Katonda bw'agamba Yerusaalemi nti, Okuzaalibwa kwo n'ekika kyo bya mu nsi ey'omu Kanani; Omwamoli ye yali Kitaawo, ne nnyoko yali Mukiiti.
4
Ku lunaku kwe wazaalirwa, tewasalibwa kalira, era tewanaazibwa na mazzi okukutukuza; tewasiigibwa munnyo, newakubadde okubikkibwako obugoye.
5
Tewali yakusaasira wadde okukwatirwa ekisa okukukolera ebyo byonna, naye wasuulibwa ebweru ku ttale, kubanga wakyayibwa ku lunaku kwe wazaalirwako.
6
Awo bwe nnali nga mpitawo, ne nkulaba nga weekulukuunya mu musaayi gwo, ne nkugamba nti Newakubadde ng'oli mu musaayi gwo, ba mulamu:
7
Ne nkukuza ne nkulabirira ng'ekimuli eky'omu nnimiro, n'osuumuka n'okulira ddala n'ofuuka omuwala omuyonjo alabika obulungi ennyo; n'osuna amabeere, n'okuza enviiri zo, naye ng'oli bwereere nga toyambadde.
8
Awo bwe nnali nga mpitawo ne nkutunuulira, ne nkulaba ng'otuusiza ekiseera kyo eky'okufumbirwa, ne nkubikkako omunagiro gwange oleme kusigala ng'oli bwereere; nnakulayirira ne nkola naawe endagaano, bw'ayogera Mukama Katonda, n'ofuuka wange.
9
Awo ne nkunaaza n'amazzi, ne nkunaalizaako ddala omusaayi gwo, ne nkusiigako amafuta.
10
Ne nkwambaza olugoye olukoleddwa obulungi, ne nkunaanika engato ez'amaliba agasinga obulungi, ne nkubikako olugoye olwa liiri, ne nkusiba ekitambala ekirungi ennyo.
11
Ne nkunaanika eby'obuyonjo, ne nteeka ebikomo ku mikono gyo n'omukuufu mu bulago bwo.
12
Ne nkuteekako empeta ey'oku nnyindo, n'eby'oku matu ne nkutikkira n'engule ennungi ku mutwe gwo.
13
Bw'otyo bwe wayonjebwa n'ebya zaabu n'ebya ffeeza; n'oyambazibwa ebyambalo bya bafuta ennungi ne liiri ebya kolebwa obulungi; walyanga emmere ey'obutta obulungi n'omubisi gw'enjuki n'amafuta. Walungiwa n'okamala n'oba nga muka kabaka.
14
Ettutumu lyo ne libuna mu mawanga olw'obulungi bwo, obwali busukkiridde lw'ebyo bye nakukolako. bw'ayogera Mukama Katonda.”
15
“Naye ggwe ne weesiga obulungi bwo, n'okozesa ettutumu lyo n'okola obwenzi, n'okabawaliranga ku buli muntu eyayitangawo.
16
Era watoola ku byambalo byo, n'otimba ebifo ebigulumivu ebyayonjebwa n'amabala agatali gamu, n'oyendera ku byo mu ngeri etabangawo era etaliddamu kubaawo.
17
Ate era waddira eby'obuyonjo bwo ebyange ebirungi ebya zaabu n'ebya ffeeza bye nakuwa ne weekoleramu ebifaananyi eby'abasajja n'oyenda ku byo.
18
N'oddira ebyambalo byo eby'akolebwa obulungi n'obibikkako n'oteeka amafuta gange n'obubaane bwange mu maaso gaabyo.
19
Era n'emmere yange gye nnakuwa, ey'obutta obulungi n'amafuta n'omubisi gw'enjuki, bye nnakuliisanga, n'okuteeka n'obiteeka mu maaso gaabyo okuba evvumbe eddungi, ne biba bwe bityo, bw'ayogera Mukama Katonda.
20
Era nate waddira abaana bo ab'obulenzi n'ab'obuwala, be wanzaalira, n'obawaayo okuba ssaddaaka eri ebifaananyi byo okuliibwa. Obwenzi bwo kyali kigambo kitono,
21
n'ogattako n'okutta abaana bange, n'obawaayo ng'obayisa mu muliro eri byo?
22
Mu by'emizizo ebyo byonna ne mu bwenzi bwo bwonna tewajjukira nnaku za buto bwo, bwe wali obwereere nga tobikkiddwako, era nga weekulukuunya mu musaayi gwo.
23
Mukama Katonda agamba nti, (Zikusanze, zikusanze! ng'omaze okukola ebibi ebyo byonna).
24
Weezimbidde ekifo ekikulumbala ne weekolera ekifo ekigulumivu mu buli luguudo.
25
Ozimbye ekifo kyo ekigulumivu ku buli luguudo we lutandikira, n'ojaajaamiza omwo obulungi bwo, n'owaayo omubiri gwo mu bukaba obungi eri buli eyayitangawo.
26
Era oyenze ku Bamisiri, baliraanwa bo abakaba ennyo, n'oyongera ku bwenzi bwo okunsunguwaza.
27
Kale kaakano nkugololeddeko omukono gwange okukubonereza, era nkendeezezza emmere yo eya bulijjo, ne nkuwaayo eri abakukyawa bakukole kye bagala, abawala b'Abafirisuuti abakwatiddwa ensonyi olw'ebikolwa byo eby'obukaba.
28
Era n'oyenda ku Basuuli, kubanga tewayinza kumatira, weewaawo, oyenze ku bo, era nabo ne batakumatiza.
29
Era nate weeyongera okwenda ku Bakaludaaya, ensi y'abasuubuzi, era n'osigala nga tomatidde.
30
Omutima gwo nga munafu! bw'ayogera Mukama Katonda, kubanga okola bino byonna, ebikolebwa omukazi ow'amawaggali omwenzi;
31
kubanga ozimba ebifo byo ebikulumbala buli luguudo we lutandikira, n'okola ebifo byo ekigulumivu mu buli luguudo; so nno tewafaanana ng'omukazi omwenzi kubanga wanyoomanga empeera.
32
Oli mwenzi alekaawo bba n'ayenda ku basajja abalala abatambuze.
33
Abakazi bonna abenzi babawa ebirabo: naye ggwe owa ebirabo byo baganzi bo bonna, n'obagulirira bajje gy'oli okuva mu njuyi zonna olw'obwenzi bwo.
34
Era oli wanjawulo ku bakazi abalala abenzi, kubanga tewali akuwaliriza ggwe okwenda, wabula ggwe ogulirira so toweebwa mpeera kyova obeera ow'enjawulo!”
35
“Kale, ayi omwenzi, wulira ekigambo kya Mukama.
36
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Kubanga weeyambulamu engoye zo n'oyanika obwereere bwo olw'obwenzi bwo bwe wayenda ku baganzi bo; era olw'ebifaananyi byonna eby'emizizo n'olw'omusaayi gw'abaana bo gwe wabawa;
37
kale, laba, ndikuŋŋaanya baganzi bo bonna be wasanyuka nabo, n'abo bonna be wayagala, wamu n'abo bonna be wakyawa; ndibakuŋŋaanya okulwana naawe enjuyi zonna, era ndibabikkulira obwereere bwo, bonna balabe obwereere bwo.
38
Era ndikusalira omusango ng'abakazi abatta obufumbo ne bayiwa omusaayi bwe basalirwa omusango; era ndikuleetako omusaayi ogw'ekiruyi n'obuggya.
39
Era ndikuwaayo mu mukono gwabwe, kale balisuula ekifo kyo ekikulumbala ne bamenyaamenya ebifo byo ebigulumivu; era balikwambula ebyambalo byo, ne banyaga eby'obuyonjo byo ebirungi: kale balikuleka ng'oli bwereere ng'obikkuddwako.
40
Era balikulinnyisaako ekibiina, ne bakukuba amayinja, ne bakufumitira ddala n'ebitala byabwe.
41
Era balyokya ennyumba zo omuliro ne bakubonereza ng'abakazi bangi balaba; era ndikulekesaayo obwenzi, so toliddayo kusasula baganzi bo mpeera.
42
Bwe ntyo bwe ndikumalirako ekiruyi kyange, n'obuggya bwange bulikuvaako, ne ntereera ne siddamu kukusunguwalira.
43
Kubanga tojjukiranga nnaku za buto bwo, naye n'onnyiiza mu bino byonna; nange kyendiva nkuvunaana olw'ebyo byonna, bw'ayogera Mukama Katonda: so tolyongera bukaba obwo ku mizizo gyo gyonna.”
44
“Buli muntu agera engero anaakugereranga olugero luno ng'agamba nti, ‘Nga nnyina, ne muwala we bw'atyo.’
45
Oli muwala wa nnyoko atamwa bba n'abaana be; era oli wa luganda ne baganda bo abatamwa babbaabwe: nnyammwe yali Mukiiti, ne kitammwe yali Mwamoli.
46
Ne mukulu wo ye Samaliya abeera ku mukono gwo ogwa kkono, ye ne bawala be: ne mwana wannyo atuula ku mukono gwo ogwa ddyo ye Sodomu ne bawala be.
47
Era naye totambuliranga mu makubo gaabwe, so tokolanga ng'emizizo gyabwe bwe giri; naye ekyo ng'okiyita kigambo kitono nnyo, n'osinga bo okuba omukyamu mu makubo go gonna.
48
Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, muganda wo Sodomu ne bawala be tebaakola nga ggwe bw'okoze.
49
Guno gwe musango muganda wo Sodomu gwe yazza, ye ne bawala be baali ba malala kubanga baalina emmere nnyingi n'okwesiima, naye ne batafa ku baavu abaali mu bwetaavu.
50
Era baalina ekitigi, ne bakola eby'emizizo mu maaso gange: kyennava mbaggyawo nga bwe nnasiima.
51
So ne Samaliya takolanga kitundu kya ku bibi byo; naye ggwe wayongera ku mizizo gyo okukira bo, n'oweesa obutuukirivu baganda bo olw'emizizo gyo gyonna gyewakola.
52
Era naawe beerako ensonyi zo ggwe, kubanga osaze omusango baganda bo okukusinga; olw'ebibi byo bye wakola eby'emizizo okukira bo kyebavudde bakusinga obutuukirivu: weewaawo, era swala obeereko ensonyi zo kubanga oweesezza baganda bo obutuukirivu.
53
Era ndikomyawo obusibe bwabwe, obusibe bwa Sodomu ne bawala be, n'obusibe bwa Samaliya ne bawala be, n'obusibe bw'abasibe bo abali wakati mu bo:
54
olyoke obeereko ensonyi zo ggwe, era okwatibwe ensonyi olw'ebyo byonna bye wakola, kubanga obasanyusa.
55
Era baganda bo, Sodomu ne bawala be, balidda mu bukulu bwabwe obw'edda, naawe ne bawala bo mulidda mu bukulu bwammwe obw'edda.
56
Kubanga muganda wo Sodomu akamwa ko tekamwatulanga ku lunaku olw'amalala go;
57
obubi bwo nga tebunnabikkulwa, nga mu biro abawala ab'e Busuuli lwe baavuma n'abo bonna abamwetoolodde, abawala aba Bafirisuuti abakugirira ekyejo enjuyi zonna.
58
Wabaako obukaba bwo n'emizizo gyo, bw'ayogera Mukama.
59
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ndikukolera ddala nga bw'okoze, ggwe eyanyooma ekirayiro n'omenya endagaano.
60
Era naye nze ndijjukira endagaano gye nnalagaana naawe mu nnaku ez'obuto bwo, era ndinyweza eri ggwe endagaano eteriggwaawo.
61
Kale n'olyoka ojjukira amakubo go, n'okwatibwa ensonyi, bw'oliweebwa baganda bo, baganda bo abakulu ne baganda bo abato: era ndikubawa okuba abawala, naye si lwa ndagaano yo.
62
Era ndinyweza endagaano yange naawe; kale olimanya nga nze Mukama:
63
Bwendikusonyiwa byonna bye wakola, olijjukira n'okwatibwa ensonyi, n'olemwa n'okubaako kyoyogera, bw'ayogera Mukama Katonda.”
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48