bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ezekiel 38
Ezekiel 38
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 37
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 39 →
1
Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti,
2
“Omwana w'omuntu, amaaso go goolekeze Googi, ow'omu nsi ya Magoogi, omulangira wa Loosi, Meseki, ne Tubali, omugambe nti,
3
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, ndi mulabe wo, gwe Googi, omulangira wa Loosi, Meseki, ne Tubali.
4
Ndikuzzaayo, ne nteeka amalobo mu mba zo, era ndikufulumya n'eggye lyo lyonna, embalaasi n'abasajja abeebagadde embalaasi, bonna nga bambadde eby'okulwanyisa ebyatuukirira, ekibiina ekinene, nga balina engabo ennene n'entono, bonna nga bakutte n'ebitala.
5
Obuperusi, Kuusi, ne Puti nga bali nabo; bonna nga balina engabo n'enkuffiira.
6
Gomeri n'eggye lye lyonna; ennyumba ya Togaluma okuva ewala mu bukiikakkono n'eggye lye lyonna: amawanga mangi nga gali naawe.”
7
“Beera nga weeteeseteese, weewaawo, weetegeke, ggwe n'ebibiina byo byonna abakuŋŋaanidde gy'oli, obeere omugabe waabwe.
8
Oluvannyuma olw'ennaku ennyingi mulikuŋŋaanyizibwa era mu myaka egy'oluvannyuma mulirumba ensi eyaakava mu lutalo, omukuŋŋaanyizibwa amawanga amangi, ku nsozi za Isiraeri, ezaali ensiko etevaawo: naye eggibwa mu mawanga, era balituula nga tebaliiko gwe batya yenna.
9
Kale olyambuka n'obalumba nga kibuyaga, oliba ng'ekire okubikka ku nsi, ggwe n'eggye lyo lyonna n'amawanga mangi nga gali naawe.
10
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Olulituuka ku lunaku olwo ebirowoozo ebibi birikujjira, naawe olitegeka okukola obubi.
11
Kale olyogera nti, Ndyambuka mu nsi ey'ebyalo ebitaliiko nkomera; ndigenda eri abo abeegolodde, abatuula nga tebaliiko kye batya, bonna nga babeerera awo awatali bbugwe so nga tebalina bisiba newakubadde enzigi:
12
okunyaga ebintu, n'okutwala omunyago, nga nnumba ebifo ebyazika, kaakano ebibeeramu abantu abakuŋŋaanyizibwa okuva mu mawanga, abafunye ebisibo n'ebintu, ababeera wakati w'ensi zonna.
13
Seeba ne Dedani n'abasuubuzi ab'e Talusiisi, n'ab'ebyalo bye bonna balibabuuza nti, ‘Muzze okunyaga? Mukuŋŋaanyizza ebibinja byammwe mutunyage, mutwalire ddala effeeza n'ezaabu, ensolo n'ebintu byaffe, mutwale omunyago mungi?’ ”
14
“N'olwekyo omwana w'omuntu, yogera ogambe Googi nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ku lunaku olwo abantu bange Isiraeri lwe balituula nga tebaliiko kye batya, tolikimanya?
15
Kale olijja ng'ova mu kifo kyo mu bukiikakkono obuli ewala ennyo, ggwe n'amawanga mangi wamu naawe, bonna nga beebagadde embalaasi, ekibiina kinene, era eggye ddene.
16
Olitabaala abantu bange Isiraeri, ng'ekire ekibikka ku nsi. Olulituuka mu nnaku ez'oluvannyuma ggwe Googi ndikutabaaza ensi yange, amawanga gakumanye, era nditukuzibwa mu maaso gaabwe.”
17
“Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Ggwe wuuyo gwe nnayogererako edda mu baddu bange bannabbi ba Isiraeri, abaayogerera emyaka emingi nga ndikusindika okubatabaala bo?
18
Awo olulituuka ku lunaku olwo Googi bw'alitabaala ensi ya Isiraeri, ndisumulula ekiruyi kyange, bw'ayogera Mukama Katonda.
19
Kubanga njogeza obuggya bwange n'omuliro ogw'obusungu bwange nti Mazima ku lunaku olwo mu nsi ya Isiraeri mulibaamu okukankana okunene;
20
ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n'ennyonyi ez'omu bbanga, n'ensolo ez'omu nsiko, n'ebintu byonna ebyewalula ku ttaka, n'abantu bonna abali ku maaso g'ensi n'okukankana balikankanira okujja kwange, n'ensozi zirisuulibwa, n'amabanga galigwa, na buli bbugwe aligwa wansi.
21
Awo ensozi zange zonna ndiziyitira ekitala okumulwanyisa, bw'ayogera Mukama Katonda: buli muntu alirwana ne muganda we.
22
Era ndibabonereza ne kawumpuli n'okuyiwa omusaayi, era nditonnyesa enkuba erimu omuzira era n'omuliro ku ggye lye ne ku mawanga amangi agali naye.
23
Kale ndyegulumiza ne ndaga ekitiibwa kyange mu maaso g'amawanga amangi; kale balimanya nga nze Mukama.”
← Chapter 37
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 39 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48