bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ezekiel 26
Ezekiel 26
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 27 →
1
Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu ku lunaku olwolubereberye olw'omwezi ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti,
2
“Omwana w'omuntu, kubanga Ttuulo yakuba mu ngalo n'ayogera ku Yerusaalemi nti, ‘Otyo! oyo amenyese eyabanga omulyango ogw'amawanga, nze nzize mu kifo kyakyo, kaakano nja kugaggawala.’
3
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, Laba, ndi mulabe wo, ggwe Ttuulo, ndiyimusa amawanga mangi, ng'ennyanja bw'esitula amayengo gaayo, gajje gakulwanyise.
4
Balimenya bbugwe wa Ttuulo, bamenye ne minaala gyakyo, ndimuwalakatako ettaka ne mmufuula olwazi olwereere.
5
Anaabanga kifo kya kwanjulirizangako butimba wakati mu nnyanja, kubanga nze nkyogedde, bw'ayogera Mukama Katonda: era kinaabanga munyago gw'amawanga.
6
Ne bawala be abali mu ttale balittibwa n'ekitala: kale balimanya nga nze Mukama.”
7
“Kubanga Mukama Katonda bw'ayogera bw'ati nti Laba, ndireeta Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni, kabaka asinga bakabaka bonna amaanyi, okuva obukiikakkono, okulumba Ttuulo, ng'alina embalaasi n'amagaali n'abeebagadde embalaasi n'eggye eddene.
8
Alitta n'ekitala abo abali ku lukalu, era alikuzimbako ebigo, n'akutuumako ekifunvu, n'akwolekeza n'engabo.
9
Alimenya ebigo byo n'ebintu bye ebitomera, era n'amenyerawo ddala eminaala gyo n'embazzi ze.
10
Embalaasi ze ziriba nnyingi nnyo, n'enfuufu yaazo erikubikka. Bbugwe wo alikankana olw'oluyoogaano lw'abo abeebagala embalaasi ne nnamuziga n'amagaali, nga bayingira mu miryango gyo, ng'abantu bwe bayingira mu kibuga ekikubiddwamu ekituli.
11
Alirinnyirira enguudo zo zonna n'ebinuulo by'embalaasi ze: alitta abantu bo n'ekitala, n'empagi ez'amaanyi go zirikka wansi.
12
Era balinyaga obugagga bwo, n'eby'obuguzi bwo balibifuula omuyiggo: era balimenyera ddala bbugwe wo, ne bazikiriza ennyumba zo ez'okwesiima: era baligalamiza amayinja go n'emiti gyo n'enfuufu yo wakati mu mazzi.
13
Era ndikomya eddoboozi ery'ennyimba zo, n'okuvuga kw'ennanga zo tekuliwulirwa nate.
14
Era ndikufuula olwazi olwereere, era onoobanga kifo kya kutegerangako migonjo: tolizimbibwa nate: kubanga nze Mukama nkyogedde, bw'ayogera Mukama Katonda.”
15
“Bw'ati Mukama Katonda bw'agamba Ttuulo nti Ebizinga tebirikankana olw'okubwatuka olw'okugwa kwo, abaliko ebiwundu bwe balisinda, ng'okutta kuli wakati mu ggwe?
16
Awo abalangira bonna ab'ennyanja baliva ku ntebe zaabwe, ne bambula ebyambalo byabwe, ne beggyako engoye zaabwe ez'eddalizi: balyambala okukankana; balituula ku ttaka nga bakankana, n'okusamaalirira buli kaseera.
17
Era balitandika okukukungubagira ne bakugamba nti Ng'ozikiridde, ggwe eyatuulwangamu abalunnyanja, ekibuga ekyayatiikirira, ekyalina amaanyi ku nnyanja, kyo n'abo abakituulamu, abaaleetanga entiisa ku abo bonna abaagitambulirangamu!
18
Kaakano ebizinga birikankana ku lunaku olw'okugwa kwo: weewaawo, ebizinga ebiri mu nnyanja birikeŋŋentererwa olw'okugenda kwo.
19
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Bwe ndikufuula ekibuga ekyalekebwawo, ng'ebibuga ebitatuulwamu; bwe ndikulinnyisaako ennyanja, amazzi amangi ne gakubikkako;
20
kale ndikukkakkanya wamu n'abo abakka mu bunnya, eri abantu ab'omu biro eby'edda, era ndikutuuza mu njuyi z'ensi eza wansi, mu bifo ebyalekebwawo obw'edda, wamu n'abo abakka mu bunnya, olemenga okutuulwamu; era nditeeka ekitiibwa mu nsi ey'abalamu:
21
ndikufuula entiisa, so tolibaawo nate: newakubadde nga bakunoonya, naye tebaakulabenga nate ennaku zonna, bw'ayogera Mukama Katonda.”
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 27 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48