bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ezekiel 42
Ezekiel 42
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 41
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 43 →
1
Awo omusajja n'ankulemberamu n'antwala mu luggya olw'ebweru, ku luuyi olw'obukiikakkono, n'annyingiza mu nju eyayolekera ekifo ekyayawulibwa era eyayolekera ennyumba ku luuyi olw'obukiikakkono.
2
Mu maaso g'obuwanvu buli obw'emikono ekikumi (100) we waali oluggi olw'obukiikakkono, n'obugazi bwali emikono ataano (50).
3
Okwolekera emikono abiri (20) giri egy'oluggya olw'omunda n'okwolekera amayinja amaaliire gali ag'omu luggya olw'ebweru we waali olubalaza okwolekera olubalaza lunnaalwo mu nju eya waggulu ey'okusatu.
4
Ne mu maaso g'amayu gali waaliwo ekkubo obugazi bwalyo emikono kkumi munda (10), ekkubo lya mukono gumu; n'enzigi zaago zaayolekera obukiikakkono.
5
Ebisenge ebya waggulu byali bifunda okusinga ebya wansi, kubanga olubalaza olwa waggulu lwatwala ekifo kinene okusinga ku myaliiro egya wansi n'egya wakati mu nnyumba.
6
Oluggya lwalina empagi naye ebisenge ebyali ku mwaliiro ogwokusatu tebyalina mpagi, n'olwekyo byali bitono okusinga ebyali ku mwaliiro ogwa wansi ne ku mwaliiro ogwa wakati.
7
N'ekisenge ekyali ebweru ekyaliraana amayu okwolekera oluggya olw'ebweru mu maaso g'amayu obuwanvu bwakyo bwali emikono ataano (50).
8
Kubanga obuwanvu bw'amayu agaali mu luggya olw'ebweru bwali emikono ataano (50) era, laba, mu maaso ga Yeekaalu waaliwo emikono kikumi (100).
9
Era wansi w'amayu ago we baavanga okuyingira ku luuyi olw'ebuvanjuba, ng'oyingira mu go ng'ova mu luggya olw'ebweru.
10
Ku mubiri gw'ekisenge eky'oluggya okwolekera obuvanjuba, mu maaso g'ekifo ekyayawulibwa ne mu maaso g'ennyumba, kwaliko amayu.
11
N'ekkubo eryali mu maaso gaago lyali ng'enfaanana ey'ekkubo ery'amayu agayolekera obukiikakkono, ng'obuwanvu bwago, n'obugazi bwago bwe bwali bwe butyo, n'awafulumirwa mu go wonna waali ng'engeri zaago bwe zaali era ng'enzigi zaago bwe zaali.
12
Era ng'enzigi ez'amayu agayolekera obukiikaddyo bwe zaali, oluggi bwe lwali bwe lutyo ekkubo we lisibuka eriri ddala mu bwenyi bw'ekisenge ebuvanjuba bw'oyingira mu go.
13
Awo n'aŋŋamba nti Amayu ag'obukiikakkono n'amayu ag'obukiikaddyo agoolekedde ekifo ekyayawulibwa ago ge mayu amatukuvu, bakabona abali okumpi ne Mukama mwe banaaliiranga ebintu ebitukuvu ennyo, eyo gye banaateekanga ebintu ebitukuvu ennyo n'ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo olw'ekibi n'ekiweebwayo olw'omusango; kubanga ekifo ekyo kitukuvu.
14
Bakabona bwe banaayingirangamu, kale tebavanga mu kifo ekitukuvu okuyingira mu luggya olw'ebweru, naye banaateekanga eyo ebyambalo byabwe bye baweererezaamu; kubanga bitukuvu; kale banaayambalanga ebyambalo ebirala, ne balyoka basemberera ekyo eky'abantu.
15
Awo bwe yamala okugera ennyumba ey'omunda, n'anfulumya mu kkubo ery'omulyango ogutunuulira obuvanjuba, n'agigera enjuyi zonna.
16
N'agera ku luuyi olw'ebuvanjuba n'olumuli olwo olugera, emmuli bitaano (500), n'olumuli olugera enjuyi zonna.
17
N'agera ku luuyi olw'obukiikakkono n'olumuli olugera, emmuli bitaano (500) enjuyi zonna.
18
N'agera ku luuyi olw'obukiikaddyo emmuli bitaano (500), n'olumuli olugera.
19
N'akyukira eri oluuyi olw'ebugwanjuba n'agera emmuli bitaano (500), n'olumuli olugera.
20
Yagigera enjuyi ennya, yalina bbugwe enjuyi zonna, obuwanvu bitaano (500) n'obugazi bitaano (500), okwawula ebitukuvu n'ebitali bitukuvu.
← Chapter 41
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 43 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48