bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ezekiel 21
Ezekiel 21
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 22 →
1
Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti,
2
“ Omwana w'omuntu, tunula e Yerusaalemi, oyogere ekigambo ku bifo ebitukuvu, olabule ensi ya Isiraeri;
3
ogambe ensi ya Isiraeri nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndi mulabe wo, era ndisowola ekitala kyange okuva mu kiraato kyakyo, ne nkumaliramu ddala abantu abatuukirivu n'ababi.
4
Kale kubanga ndikumaliramu ddala abatuukirivu n'ababi, ndisowolayo ekitala kyange okuva mu kiraato kyakyo okulwanyisa abantu bonna okuva e bukiikaddyo okutuuka e bukiikakkono.
5
Kale abantu bonna balimanya nga, nze Mukama, nze nsowodde ekitala okuva mu kiraato kyakyo era sirikizzaamu nate.
6
Kale ggwe omwana w'omuntu, ssa ekikkowe, ng'omuntu alina obuyinike obungi mu mutima, ssa ekikkowe bw'otyo nga bonna balaba.
7
Kale olunaatuuka bwe banaakubuuza nti, ‘Lwaki ggwe okussa ekikkowe?’ onoobaddamu nti, ‘Olw'amawulire ge mpulidde, ag'ebyo ebijja: buli mutima gulisaanuuka, n'emikono gyonna giriyongobera, na buli mwoyo gulizirika, n'amaviivi gonna galinafuwa ne gafuuka ng'amazzi, bijja, era birituukirira, bw'ayogera Mukama Katonda.’ ”
8
Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti,
9
“Omwana w'omuntu, langa ogambe nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Ekitala, ekitala kiwagaddwa era kiziguddwa,
10
kiwagaddwa okutta, kiziguddwa kimyanse ng'enjota: kale tunaasanyuka? Omwana wange onyoomye buli kibonerezo n'okulabulwa.
11
Ekitala kiweereddwayo okuzigulwa kiryoke kikozesebwe, ekitala kiwagaddwa, kiziguddwa, kiryoke kiweebwe omussi.
12
Kaaba era wowoggana, omwana w'omuntu: kubanga kiri ku bantu bange, kiri ku bakungu bonna aba Isiraeri: baweereddwayo eri ekitala wamu n'abantu bange: kale kuba ku kisambi kyo nga weesasabaga.
13
Kubanga waliwo okusala omusango; era kiriba kitya omuggo nagwo ogugayibwa bwe guliba nga tegukyaliwo?” Bw'ayogera Mukama Katonda.
14
“Kale ggwe, omwana w'omuntu, langa okube mu ngalo; leka ekitala kikozesebwe ogwokubiri oba ogwokusatu, ekitala kya kutta, okutta okunene, nga kiyingira mu bisenge byabwe.
15
Ntadde omumwa gw'ekitala ku miryango gyabwe gyonna, emitima gyabwe girisaanuuka, balyesitala ne bagwa, kimyansa ng'enjota, kisongoddwa okutta.
16
Kale tema ku ludda olwa ddyo; tala, oteme ku ludda olwa kkono, yonna yonna amaaso go gye goolekera.
17
Nange ndikuba mu ngalo, n'ekiruyi kyange kirikkakkana, nze Mukama nkyogedde.”
18
Ekigambo kya Mukama ne kinjijira nate nga kyogera nti,
19
“ Omwana w'omuntu, weeteekerewo amakubo abiri ekitala kya kabaka w'e Babbulooni we kinaayita, gombi nga gava mu nsi emu: olambe ekifo, amakubo ago we geegattira.
20
Olage ekkubo ekitala mwe kinaayita okutuuka mu kibuga Labba eky'Abamoni, n'eddala erituuka eri Yuda mu Yerusaalemi ekiriko ebigo ebigumu.
21
Kubanga kabaka w'e Babbulooni ayimiridde mu masaŋŋanzira, amakubo gombi we geegattira okusobola okuzuula ekkubo ly'anakwata, azunzazunza obusaale, yeebuuza ku baterafi, n'akebera n'ekibumba.
22
Mu mukono gwe ogwa ddyo mulimu obulaguzi obw'e Yerusaalemi, okusimba ebitomera, okulanga okutta, okuyimusa eddoboozi n'okwogerera waggulu, okusimba ebitomera ku miryango, okutuuma ebifunvu, okuzimba ebigo.
23
Era buliba gyebali ng'obulaguzi obutaliimu mu maaso gaabwe ababalayiridde ebirayiro: naye buzze okubajjukiza obutali butuukirivu bwabwe, balyoke bakwatibwe.”
24
“Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, Kubanga mujjukiza obutali butuukirivu bwammwe, okusobya kwammwe kubikkuddwako, ebibi byammwe n'okulabika ne birabikira mu bikolwa byammwe byonna; kubanga mubinzijukiza buli kiseera, kyemuliva mutwalibwa mu buwambe.
25
Naawe, ayi ggwe omubi omukulu wa Isiraeri, olunaku lwo lutuuse, ofune okubonenerezebwa okusembayo.
26
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Ggyako ekitambala ku mutwe, otikkuleko engule, kubanga ebintu tebirisigala nga bwe biri. Abanyoomebwa baligulumizibwa, n'abeegulumiza balitoowazibwa.
27
Ndikivuunika, ndikivuunika, ndikivuunika, tekirizzibwawo okutuusa nnyini kyo lw'alijja, era ndikimuwa.”
28
“Naawe, omwana w'omuntu, langa oyogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda ku baana ba Amoni n'okuvuma kwabwe nti, Ekitala, ekitala kisowoddwa okutta, kiziguddwa okuzikiriza, era kimyansa ng'enjota.
29
Okulabikirwa kwe mufuna si kwa mazima, ne bye babalagula bya bulimba, ekitala kiriteekebwa ku bulago bwa babi ab'okuttibwa, olunaku lwabwe lutuuse, bafune okubonerezebwa okusembayo.
30
Kizze mu kiraato kyakyo. Mu kifo mwe watonderwa, mu nsi mwe wazaalirwa, mwe ndikusalirira omusango.
31
Era ndikufukirako ddala okunyiiga kwange; ndikufuuwako omuliro ogw'obusungu bwange: era ndikuwaayo mu mukono gw'abantu abali ng'ensolo ab'amagezi okuzikiriza.
32
Oliba nku za muliro; omusaayi gwo guliyibwa mu nsi yo, tolijjukirwa nate, kubanga nze Mukama nkyogedde.”
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48