bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ezekiel 5
Ezekiel 5
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 6 →
1
Mukama n'aŋŋamba nti, “ Omwana w'omuntu, ddira ekitala eky'obwogi, okikozese ng'akamwano ak'omumwi, okimwese enviiri zo n'ekirevu kyo n'oluvannyuma oteeke enviiri ku minzaani ozipime, era ozigabanyeemu.
2
Ekitundu eky'okusatu eky'enviiri okyokeranga mu kifaananyi ky'ekibuga, ennaku ez'okukizingiza nga ziweddeko. Ekitundu eky'okusatu ekirala okikwate, ogende ng'okitematema n'ekitala nga weetooloola ekibuga. N'ekitundu eky'okusatu ekisigaddewo, okisaasaanyize mu bbanga, kitwalibwe empewo, nange ndisowolayo ekitala kizigoberere.
3
Ku nviiri ezo osigazangako entonotono, oziteeke mu ggemo lye kyambalo kyo.
4
Era ne ku ezo otwalangako, ezimu ozisuule mu muliro wakati, ziggye, mu zo omuliro mwe guliva ogulibuna ennyumba yonna eya Isiraeri.”
5
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, “Ekibuga kino Yerusaalemi, nkitadde wakati mu mawanga, ng'ensi zikyetoolodde.
6
Kijeemedde ebiragiro byange n'amateeka gange, n'ekikola ebibi okusinga ensi ezikyetoolodde. Ab'omu Yerusaalemi bajeemedde ebiragiro byange, era bagaanye okukwata amateeka gange.
7
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, ‘Kubanga muli ba mawaggali okukira amawanga agabeetoolodde, so temutambulidde mu mateeka gange, so temukutte misango gyange, so temukoze ng'ebiragiro bwe biri eby'amawanga agabeetoolodde.’
8
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, ‘Laba, nze, nze mwene, ndi mulabe wo; era ndituukiriza emisango wakati mu ggwe amawanga nga galaba.
9
Era ndikolera mu ggwe ekyo kye ssikolanga, era kye ssigenda kukola nate ekiri bwe kityo, olw'emizizo gyo gyonna.
10
Bakitaabwe kyebaliva baliira abaana wakati mu ggwe, n'abaana balirya bakitaabwe: era ndituukiririza emisango mu ggwe, n'ekitundu kyo kyonna ekifisseewo ndikisaasaanyiza eri empewo zonna.
11
Kale, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, kubanga wayonoona awatukuvu wange n'ebibyo byonna eby'ebivve n'ebibyo byonna eby'emizizo, nange kyendiva nkukendeeza; so n'amaaso gange tegalisonyiwa so nange sirikwatibwa kisa.
12
Ekitundu kyo eky'okusatu kirifa kawumpuli, era balimalibwawo n'enjala wakati mu ggwe; n'ekitundu eky'okusatu kirigwa n'ekitala okukwetooloola; n'ekitundu eky'okusatu ndikisaasaanyiza eri empewo zonna, n'ensowola ekitala ekiribagoberera.
13
Obusungu bwange bwe bulituukirira bwe butyo, era ndikkusa ekiruyi kyange ku bo, kale ndisanyusibwa: kale balimanya nga nze Mukama njogedde olw'obunyiikivu bwange, bwe ndimala okutuukiririza ku bo ekiruyi kyange.
14
Era nate ndikufuula amatongo n'ekivume mu mawanga gonna agakwetoolodde, abo bonna abayitawo nga balaba.
15
Awo kiriba kivume n'ekikiino ekiyigirwako era ekisamaaliriza eri amawanga agakwetoolodde, bwe ndituukiririza emisango mu ggwe nga ndiko obusungu n'ekiruyi, era nga nnenya n'ekiruyi: nze Mukama nkyogedde:
16
bwe ndibaweerezaako obusaale obubi obw'enjala obw'okuzikiriza, bwe ndiweereza okubazikiriza: era ndyongera ku mmwe enjala, era ndimenya omuggo gwammwe ogw'omugaati;
17
era ndibaweerezaako enjala n'ensolo embi, era zirikufiiriza; era kawumpuli n'omusaayi biriyita mu ggwe; era ndikuleetako ekitala: nze Mukama nkyogedde.’ ”
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48