bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ezekiel 35
Ezekiel 35
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 34
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 36 →
1
Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti,
2
“Omwana w'omuntu, kyuka otunuulire olusozi Seyiri, olugambe nti,
3
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Laba, ndi mulabe wo, ayi olusozi Seyiri, era ndikugololerako omukono gwange, era ndikufuula okuba amatongo n'ekyewuunyo.
4
Ndizisa ebibuga byo, naawe oliba matongo; kale olimanya nga nze Mukama.
5
Kubanga wabanga n'obulabe obutakoma, n'owaayo abaana ba Isiraeri okuttibwa mu biro mwe baalabira ennaku, mu biro eby'okubonerezebwa kwabwe okw'enkomerero.
6
Kale, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, kyendiva nkuteekerateekera omusaayi, n'omusaayi gulikucocca: kubanga tewakyawa musaayi, omusaayi kyeguliva gukucocca.
7
Bwe ntyo ndifuula olusozi Seyiri okuba ekyewuunyo n'amatongo; era ndimalirawo okwo oyo ayitamu n'oyo akomawo.
8
Era ndijjuza ensozi zaayo abaayo abattibwa: abattibwa n'ekitala baligwa ku nsozi zo ne mu biwonvu byo ne mu nsalosalo zo zonna ez'amazzi.
9
Ndikufuula amatongo ag'olubeerera, era ebibuga byo tebiribeeramu bantu, kale mulimanya nga nze Mukama.
10
Kubanga wayogera nti Amawanga gano gombi n'ensi zino zombi zizo, era olizetwalira, newakubadde nga Mukama yali eyo;
11
kale, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, ndikola ng'obusungu bwo bwe buli era ng'obuggya bwo bwe buli bwe walaga okuva mu kukyawa kwe wabakyawa; era ndyemanyisa mu bo, bwe ndikusalira omusango.
12
Kale olimanya nga nze Mukama mpulidde okuvvoola kwo kwonna kwe wavvoola eri ensozi za Isiraeri, ng'oyogera nti Zirekeddwawo, ziweereddwa ffe okuzirya.
13
Era mwanneegulumirizaako n'akamwa kammwe, era mwongera okunjogerako ebigambo, naye mpulira.
14
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Ensi yonna erisanyuka, bwe ndikufuula ggwe amatongo.
15
Nga bwe wasanyukira obusika obw'ennyumba ya Isiraeri bwe bwafuuka amatongo, nange bwe ntyo bwe ndikukola. Gwe olusozi Seyiri ne Edomu yonna, mulifuuka matongo, kale balimanya nga nze Mukama.”
← Chapter 34
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 36 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48