bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ezekiel 29
Ezekiel 29
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 30 →
1
Mu mwaka ogw'ekkumi mu mwezi ogw'ekkumi ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi n'ebbiri ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti,
2
“Omwana w'omuntu, simba amaaso go okwolekera Falaawo kabaka w'e Misiri, olangirire ebirimutuukako era ne ku Misiri yonna.
3
Yogera gy'ali nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda,” “Laba, ndi mulabe wo, Falaawo kabaka w'e Misiri, ogusota ogunene ogugalamira wakati mu migga gyagwo, ogwogedde nti, Kiyira wange, era nnamwekolera.
4
Era nditeeka amalobo mu mba zo, era ndireetera n'ebyennyanja eby'omu migga gyo okukwatira ku magamba go. Era ndikusikayo okuva wakati mu migga gyo, ng'ebyennyanja byonna eby'omu migga gyo bikwatidde ku magamba go.
5
Era ndikuleka ng'osuuliddwa mu ddungu, ggwe n'ebyennyanja byonna eby'omu migga gyo. Oligwa ku ttale, tolikuŋŋaanyizibwa era toliziikibwa. Nkuwaddeyo eri ensolo ez'oku nsi n'eri ennyonyi ez'omu bbanga okuba emmere.”
6
“Kale bonna abali mu Misiri balimanya nga nze Mukama, kubanga obadde muggo gwa lumuli eri ennyumba ya Isiraeri.
7
Bwe bakukwata ku mukono, n'omenyeka n'oyuza ebibegabega byabwe byonna; era bwe baakwesigamako, n'omenyeka, n'okutula emigongo gyonna gyonna.
8
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndikuleetako ekitala, ne nkumalamu abantu n'ensolo.
9
N'ensi y'e Misiri eriba matongo era nsiko; kale balimanya nga nze Mukama: kubanga ayogedde nti Omugga gwange, era nze nnagukola.
10
Kale, laba, nze ndi mulabe wo, era ndi mulabe w'emigga gyo, era ndifuula ensi y'e Misiri ensiko enjereere n'amatongo, okuva ku kigo eky'e Sevene okutuuka ku nsalo ey'e Buwesiyopya.
11
Tewaliba kigere kya muntu ekiriyitamu so tewaliba kigere kya nsolo ekiriyitamu, so terituulwamu emyaka ana (40).
12
Era ndifuula ensi y'e Misiri amatongo wakati mu nsi ezaalekebwawo, n'ebibuga byayo mu bibuga ebyalekebwa awo biriba matongo emyaka ana (40). Ndisaasaanyiza Abamisiri mu mawanga ne mbataataaganyiza mu nsi nnyingi.”
13
“Naye bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Emyaka ana (40) nga giyiseewo ndikuŋŋaanya Abamisiri okubaggya mu mawanga mwe baasaasaanyizibwa,
14
era Abamisiri ndibakomyawo okuva mu busibe ne mbazza mu nsi y'e Pasulo, mu nsi mwe baazaalirwa; era eyo baliba obwakabaka obwajeezebwa.
15
Bulisinga obwakabaka bwonna okujeezebwa; so tebulyegulumiza nate ku mawanga, era ndibakendeeza, so tebalifuga nate mawanga.
16
Misiri teryesigibwa nate nnyumba ya Isiraeri, naye Isiraeri balyejusa nti baakolanga bubi okudda gyebali okubayamba, kale balimanya nga nze Mukama Katonda.”
17
Awo olwatuuka mu mwaka ogw'abiri mu musanvu (27) mu mwezi ogwolubereberye ku lunaku olw'omwezi olwolubereberye ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti,
18
“Omwana w'omuntu, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni yaweereza eggye lye okulwanyisa Ttuulo, buli mutwe ne gubaako ekiwalaata, na buli kibegabega ne kibambuka: naye ye n'eggye lye tebaafuna mpeera olw'okulumba Ttuulo.
19
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndiwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni ensi y'e Misiri, alitwalira ddala obugagga bwayo n'abanyagira ddala, ebyo bye biriba empeera ey'eggye lye.
20
Mmuwadde ensi y'e Misiri okuba empeera ye gye yatabaalira, kubanga baakola omulimu gwange, bw'ayogera Mukama Katonda.
21
Ku lunaku olwo ndimeza ejjembe ennyumba ya Isiraeri, era ndiyasamya akamwa ko wakati mu bo, kale balimanya nga nze Mukama.”
← Chapter 28
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 30 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48