bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ezekiel 7
Ezekiel 7
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 8 →
1
Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti,
2
“Ggwe omwana w'omuntu, bw'ati Mukama Katonda bw'agamba ensi ya Isiraeri nti Enkomerero: enkomerero yennyini etuuse ku nsonda ennya ez'ensi.
3
Kaakano enkomerero ekutuuseeko, nange ndikuweereza ku busungu bwange, era ndikusalira omusango ng'amakubo go bwe gali; era ndikubonereza olw'eby'emizizo byonna bye wakola.
4
Sirikusaasira wadde okukukwatirwa ekisa, naye ndibasasula ng'engeri zammwe, n'ebikolwa byammwe ebibi ebiri mu mmwe bwe biri: kale mulimanya nga nze Mukama.”
5
“Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Akabi nga kaddirirwa kaanaako: laba, kajja.
6
Enkomerero etuuse, enkomerero yennyini etuuse, ejjiridde ggwe: laba, ejja.
7
Akabi kakujjidde, ayi ggwe atuula mu nsi: ekiseera kituuse, olunaku luli kumpi; olunaku olw'okusasamaliramu so si lwa kujaguliriza ku nsozi.
8
Kaakano nnaatera okufukira ddala ekiruyi kyange ku ggwe, ne nkumalirako ekiruyi kyange, ne nkusalira omusango ng'amakubo go bwe gali; era ndikusasula ng'eby'emizizo byonna bwe biri bye wakola.
9
So sikusaasira wadde okukukwatirwa ekisa: ndibasasula ng'engeri zammwe, n'ebikolwa byammwe ebibi ebiri mu mmwe bwe biri; kale mulimanya nga nze Mukama nkuba.
10
Laba, olunaku, luuluno lutuuse! okusalirwa omusango kutuuse, obutali bwenkanya bweyongedde, n'amalala gayitiridde.
11
Ebikolwa eby'obukambwe bifuuse muggo okwongera okukola obubi. Tewaliba ku bo alisigalawo, newakubadde olufulube lwabwe, wadde eby'obugagga bwabwe era tewaliba mukulu mu bo.
12
Ekiseera kituuse, olunaku lusembedde kumpi: agula aleme okusanyuka, so n'atunda aleme okunakuwala: kubanga obusungu bubuubuukidde ku kibiina kyonna.
13
Omutunzi taliddizibwa ekyo kye yatunda, ne bwe baliba nga bakyali balamu: kubanga obusungu bwa Mukama buli ku kibiina kyonna, era olw'obutali butuukirivu tewaliba n'omu aliwonya bulamu bwe.
14
Bafuuye ekkondeere ne bateekateeka buli kimu, naye tewali agenda mu lutalo: kubanga obusungu bwange buli ku kibiina kyonna.
15
Ekitala kiri ebweru, kawumpuli n'enjala biri munda: ali mu nnimiro alifa n'ekitala; n'oyo ali mu kibuga enjala ne kawumpuli birimumalawo.
16
Naye abo abaliwonawo ne baddukira ku nsozi, baliba nga bukaamukuukulu obw'omu biwonvu, bonna nga bawuubaala, buli omu nga anakuwala olw'obutali butuukirivu bwe.
17
Emikono gyonna girigwamu amaanyi, n'amaviivi gonna galiba manafu ng'amazzi.
18
Balyambala ebibukutu, ne bakwatibwa ensisi; balimwa emitwe gyabwe gyonna, ne bakwatibwa ensonyi n'okuswala.
19
Balisuula effeeza yaabwe mu nguudo, ne zaabu yaabwe eriba ng'ekintu ekitali kirongoofu; effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe tebiriyinza kubawonya ku lunaku olw'obusungu bwa Mukama; tebalikkuta newakubadde okukkusibwa: kubanga ebyo bye byabaleetera okugwa mu bibi.
20
Ebintu byabwe eby'omuwendo byabaleetera amalala era ekyavaamu kwe kukola ebifaananyi eby'ekivve, era kyendiva mbifuula ebitali birongoofu gyebali.
21
Era ndibiwaayo byonna mu mikono gya bannamawanga okuba omunyago, n'eri ababi ab'omu nsi omugabo gwabwe n'okubyonoona.
22
Ndikyusa amaaso gange ne si batunuulira nga boonoona ekifo kyange ekitukuvu, era abanyazi balikiyingiramu ne bakyonoona.
23
Kola olujegere: kubanga ensi ejjudde emisango egy'okuyiwa omusaayi, era ekibuga kijjudde eby'obukambwe.
24
Kyendiva ndeeta bannamawanga abasinga obubi, ne batwala ennyumba zaabwe: era ndikomya amalala ag'ab'amaanyi; n'ebifo byabwe ebitukuvu biryonoonebwa.
25
Okuzikirira kujja; era balinoonya emirembe, naye nga tegiriiwo.
26
Akabi kalyeyongera ku kabi, ne ŋŋambo ziryeyongera; era balinoonya okwolesebwa okuva eri nnabbi; ne kabona aliba takyalina mateeka gaayigiriza bantu, n'abakadde balibulwa amagezi ge bawa abantu.
27
Kabaka alikungubaga, n'omulangira alijjula obuyinike, n'emikono gy'abantu ab'omu nsi girikankana olw'entiisa. Ndibasalira omusango nga bwe bagusalidde abalala, kale balimanya nga nze Mukama.”
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48