bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ezekiel 48
Ezekiel 48
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 47
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
1
Era gano ge mannya g'ebika: okuva ku nsalo ey'obukiikakkono, ku mabbali g'ekkubo Agekesulooni okutuuka awayingirirwa mu Kamasi, Kazalemaani awali ensalo y'e Ddamasiko, ku luuyi olw'obukiikakkono ku mabbali ag'e Kamasi; era baliba n'embiriizi zaabwe nga zitunuulira ebuvanjuba n'ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Ddani.
2
N'awali ensalo ya Ddaani, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Aseri.
3
N'awali ensalo ya Aseri, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Nafutaali.
4
N'awali ensalo ya Nafutaali, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Manase.
5
N'awali ensalo ya Manase, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Efulayimu.
6
N'awali ensalo ya Efulayimu, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Lewubeeni.
7
N'awali ensalo ya Lewubeeni okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Yuda.
8
Era awali ensalo ya Yuda, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba, we waliba ekitone kye muliwaayo, obugazi bwakyo emmuli emitwalo ebiri mu enkumi ttaano (25,000) n'obuwanvu nga bwenkana ogumu ku migabo, okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba: n'awatukuvu waliba mu kyo wakati.
9
Ekitone kye muliwaayo eri Mukama kiriba obuwanvu bwakyo emmuli emitwalo ebiri mu enkumi ttaano (25,000), n'obugazi omutwalo gumu (10,000).
10
N'ekitone ekitukuvu kiriba kya bakabona; eri obukiikakkono obuwanvu emitwalo ebiri mu enkumi ttaano (25,000), n'eri obugwanjuba obugazi omutwalo gumu (10,000), n'eri obuvanjuba obugazi omutwalo gumu (10,000), n'eri obukiikaddyo obuwanvu emitwalo ebiri mu enkumi ttaano (25,000), n'awatukuvu wa Mukama waliba wakati mu kyo.
11
Kiriba kya bakabona abaatukuzibwa ab'oku batabani ba Zadoki, abaakuumanga ebyo bye nnalagira; abatawabanga abaana ba Isiraeri bwe baawaba, nga Abaleevi bwe baawaba.
12
Era kiriba gyebali ekitone ekiggibwa ku kitone eky'ensi, ekintu ekitukuvu ennyo, awali ensalo ey'Abaleevi.
13
n'Abaleevi baliba n'ekitundu ekyenkana n'ensalo ya bakabona, obuwanvu emitwalo ebiri mu enkumi ttaano (25,000) n'obugazi omutwalo gumu (10,000), obuwanvu bwonna buliba emitwalo ebiri mu enkumi ttaano (25,000) n'obugazi omutwalo gumu (10,000).
14
So tebakitundanga so tebakiwaanyisanga, so n'ebibala ebibereberye eby'ensi tebifuukanga bya balala, kubanga kitukuvu eri Mukama.
15
N'enkumi ettaano (5,000) ezifisseewo mu bugazi mu maaso g'emitwalo ebiri mu enkumi ettaano (25,000) ziriba za bantu bonna okulya, za kibuga, za kubeerwamu era za mbuga, era ekibuga kiriba wakati omwo.
16
Era kuno kwe kuliba okugerebwa kwawo; olubiriizi olw'obukiikakkono enkumi nnya mu bitaano (4,500), n'olubiriizi olw'obukiikaddyo enkumi nnya mu bitaano (4,500), ne ku lubiriizi olw'obuvanjuba enkumi nnya mu bitaano (4,500), n'olubiriizi olw'obugwanjuba enkumi nnya mu bitaano (4,500).
17
Era ekibuga kiribaako embuga; eri obukiikakkono bibiri mu ataano (250), n'eri obukiikaddyo bibiri mu ataano (250), n'eri obuvanjuba bibiri mu ataano (250), n'eri obugwanjuba bibiri mu ataano (250).
18
N'obuwanvu obufisseewo obwenkana ekitone ekitukuvu buliba omutwalo gumu (10,000) ebuvanjuba n'omutwalo gumu (10,000) ebugwanjuba, era bulyenkana ekitone ekitukuvu; n'ebibala byamu biriba bya kulya eri abo abakola emirimu mu kibuga.
19
N'abo abakola emirimu mu kibuga ab'omu bika byonna ebya Isiraeri banaakirimanga.
20
Ekitone kyonna kiriba obugazi emitwalo ebiri enkumi ttaano (25,000) n'obuwanvu emitwalo ebiri mu enkumi ttaano (25,000), muliwaayo ekitone ekitukuvu nga kyenkanankana enjuyi zonna, wamu n'obutaka obw'ekibuga.
21
N'ekitundu ekifisseewo kiriba kya mulangira, okuliraana ekitone ekitukuvu eruuyi n'eruuyi n'obutaka obw'ekibuga, mu maaso emitwalo ebiri mu enkumi ttaano (25,000) obw'ekitone, okwolekera ensalo ey'ebuvanjuba, n'ebugwanjuba mu maaso emitwalo ebiri mu enkumi ettaano (25,000) okwolekera ensalo ey'ebuvanjuba, okwenkana emigabo, kye kiriba eky'omulangira n'ekitone ekitukuvu n'awatukuvu awa Yeekaalu wakati omwo.
22
Era nate okuva ku butaka obw'Abaleevi n'okuva ku butaka obw'ekibuga, obuli wakati w'ekitundu eky'omulangira, wakati w'ensalo ya Yuda n'ensalo ya Benyamini, waliba wa mulangira.
23
N'ebika ebirala birigabana bwe biti: okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Benyamini.
24
N'awali ensalo ya Benyamini okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Simyoni.
25
N'awali ensalo ya Simyoni okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Isakaali.
26
N'awali ensalo ya Isakaali okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Zebbulooni.
27
N'awali ensalo ya Zebbulooni okuva ku lubiriizi olw'ebuvanjuba okutuuka ku lubiriizi olw'ebugwanjuba, gwe guliba omugabo gwa Gaadi.
28
N'awali ensalo ya Gaadi, ku lubiriizi olw'obukiikaddyo, mu busimba bwabwo, ensalo eriva ku Tamali n'etuuka ku mazzi ag'e Meribasukadeesi okutuuka ku kagga ak'e Misiri okutuuka ku nnyanja ennene.
29
Eyo ye nsi gye muligabanira n'obululu ebika bya Isiraeri okuba obusika, era egyo gye migabo gyabwe kinnakimu, bw'ayogera Mukama Katonda.
30
Era wano ekibuga we kikoma; ku lubiriizi olw'obukiikakkono emmuli enkumi nnya mu bitaano (4,500) ezigerebwa,
31
n'emiryango egy'ekibuga giriba ng'amannya g'ebika bya Isiraeri; emiryango esatu nga gitunuudde e bukiikakkono, omulyango gwa Lewubeeni gumu; omulyango gwa Yuda gumu n'omulyango gwa Leevi gumu.
32
Ne ku lubiriizi olw'obuvanjuba emmuli enkumi nnya mu bitaano (4,500); n'emiryango esatu: omulyango gwa Yusufu gumu; omulyango gwa Benyamini gumu n'omulyango gwa Ddaani gumu.
33
Ne ku lubiriizi olw'obukiikaddyo emmuli enkumi nnya mu bitaano (4,500) ezigerebwa; n'emiryango esatu: omulyango gwa Simyoni gumu; omulyango gwa Isakaali gumu n'omulyango gwa Zebbulooni gumu.
34
Ku lubiriizi olw'obugwanjuba emmuli enkumi nnya mu bitaano (4,500), n'emiryango gyabwe esatu: omulyango gwa Gaadi gumu; omulyango gwa Aseri gumu n'omulyango gwa Nafutaali gumu.
35
Kiriba kya mmuli omutwalo gumu mu kanaana (18,000) okwetooloola, n'erinnya ery'ekibuga okuva ku lunaku olwo liriba nti, Mukama ali omwo.
← Chapter 47
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48