bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ezekiel 12
Ezekiel 12
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 13 →
1
Era ekigambo kya Mukama kyanjijira nga kyogera
2
nti, “Omwana w'omuntu, obeera wakati mu nnyumba y'abantu abajeemu, abalina amaaso ag'okulaba naye tebalaba, abalina amatu ag'okuwulira naye tebawulira; kubanga bantu bajeemu.
3
Kale, ggwe omwana w'omuntu, teekateeka ebintu eby'obuwaŋŋanguse, osituke osenguke misana nga bonna balaba; osenguke okuva mu kifo kyo odde mu kifo ekirala bonna nga balaba: oboolyawo banaategeera newakubadde nga nnyumba njeemu.
4
Onoofulumya ebintu byo eby'obuwaŋŋanguse misana bonna nga balaba, ositule oveeyo kawungeezi bonna nga balaba, ogende ng'abantu bwe bava ewaabwe okugenda mu buwaŋŋanguse.
5
Sima ekituli mu kisenge, oyiseemu ebintu bonna nga balaba.
6
Bisitulire ku kibegabega kyo bonna nga balaba, obifulumye nga ekizikiza kikutte; olibikka ku maaso go oleme okulaba ettaka: kubanga nkutaddewo okuba akabonero eri ennyumba ya Isiraeri.”
7
Awo ne nkola bwe ntyo nga bwe nnalagirwa: Emisana n'aggyamu ebintu byange eby'obuwaŋŋanguse, akawungeezi ne nsima ekituli mu kisenge, ne mbiggyamu nga ekizikiza kikutte, ne mbisitulira ku kibegabega kyange bonna nga balaba.
8
Awo enkya ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera
9
nti, “Omwana w'omuntu, ennyumba ya Isiraeri, ennyumba enjeemu, tebakugambye nti, ‘Okola ki?’
10
Bagambe nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Omugugu guno gwa mulangira wa mu Yerusaalemi n'ennyumba yonna eya Isiraeri eri omwo
11
Yogera nti, ‘Nze ndi kabonero kammwe: nga bwe nkoze, bwe batyo bwe balikolwa: baligobebwa okuva ewaabwe bagende mu busibe.’
12
N'omulangira ali mu bo alisitulira ku kibegabega kye omugugu gwe mu kizikiza ekikutte n'afuluma; balisima ekituli mu kisenge okuyisaamu ebintu okubifulumya: alibikka maaso ge, aleme okulaba gy'agenda.
13
Era ndimusuulako ekitimba kyange, era ndimukwatira mu mutego gwange; ndimutwala e Babbulooni mu nsi ey'Abakaludaaya, naye taligiraba era eyo gy'alifiira.
14
Ndisaasaanyiza eri empewo zonna abo bonna abamwetoolodde okumuyamba n'ebibiina bye byonna; era nditeekawo abantu abalibawondera okubatta.
15
Kale balimanya nga nze Mukama, bwe ndibasaasaanyiza mu mawanga ne mbataataaganyiza mu nsi nnyingi.
16
Naye ndirekawo ku bo batono abaliwona ekitala n'enjala ne kawumpuli; balyoke bejjuse nga bali eyo mu mawanga eby'emizizo byonna bye baakola. Kale balimanya nga nze Mukama.”
17
Era nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera
18
nti, “Omwana w'omuntu, lya emmere yo ng'okankana, onywe amazzi ng'ojugumira era nga weeraliikirira; ogambe abantu ab'omu nsi,
19
nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda ku abo abali mu Yerusaalemi n'ensi ya Isiraeri nti, Balirya emmere yaabwe nga beeraliikirira, era balinywa amazzi gaabwe nga basamaalirira, ensi yaabwe eriggyibwamu byonna ebirimu, kubanga abo bonna abatuulamu bakoze ebitasaana.
20
Ebibuga kati ebirimu abantu birizikirizibwa, ensi erifuuka matongo; kale mulimanya nga nze Mukama.”
21
Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera
22
nti, “Omwana w'omuntu, lugero ki luno lwe mulina mu nsi ya Isiraeri, nga mwogera nti, ‘Ennaku ziggwaayo era teri kwolesebwa kutuukirira?’
23
Kale bagambe nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Ndikomya olugero olwo, so tebaliddayo kulukozesa mu Isiraeri,’ naye bagambe nti Ennaku zinaatera okutuuka, buli kwolesebwa kwonna lwe kulituukirira.
24
Kubanga tewalibaawo nate kwolesebwa kwa bulimba, newakubadde obulaguzi obunyumiriza mu nnyumba ya Isiraeri.
25
Kubanga nze Mukama; ndyogera n'ekigambo kye ndyogera kirituukirizibwa; tekirirwisibwa nate; kubanga mu nnaku zammwe, ayi ennyumba enjeemu, mwe ndyogerera ekigambo, era ndikituukiriza, bw'ayogera Mukama Katonda.”
26
Nate ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera
27
nti, “Omwana w'omuntu, laba, ab'omu nnyumba ya Isiraeri boogera nti,‘ Okwolesebwa kwalaba kwamu nnaku nnyingi ez'omu maaso, era alagula eby'ebiro ebikyali ewala.’
28
Kale bagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Tewaliba ku bigambo byange ebirirwisibwa nate, naye ekigambo kye ndyogera kirituukirizibwa, bw'ayogera Mukama Katonda.”
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48