bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ezekiel 14
Ezekiel 14
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 15 →
1
Awo abamu ku bakadde ba Isiraeri ne bajja gye ndi ne batuula mu maaso gange.
2
Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti,
3
“Omwana w'omuntu, abasajja bano batadde ebifaananyi mu mitima gyabwe, ne bibaleetera okukola ebibi. Nnyinza ntya abo okubaleka babeeko kye bambuuza?
4
Kale yogera nabo obagambe nti bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, buli muntu ow'omu nnyumba ya Isiraeri asinza ebifaananyi bye mu mutima gwe, ne yeereetako obutali butuukirivu, n'ajja eri nnabbi; nze Mukama ndimuddamu mu ebyo ng'olufulube lw'ebifaananyi bye bwe luli;
5
ndyoke nneddize emitima gya b'ennyumba ya Isiraeri bonna abanneeyawulako olw'ebifaananyi byabwe.”
6
Kale bagambe ab'ennyumba ya Isiraeri nti bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, “Mwenenye, mukyuke muleke ebifaananyi byammwe; era mukyuse amaaso gammwe muleke eby'emizizo byammwe byonna.
7
Kubanga buli muntu ow'omu nnyumba ya Isiraeri oba ow'okubannamawanga ababeera mu Isiraeri anvaako, n'asinza ebifaananyi mu mutima gwe, ne yeereetako obutali butuukirivu, n'ajja eri nnabbi okunneebuuzaako; nze Mukama nze ndimuddamu.
8
Omuntu oyo ndimukyukira ne mmufuula ekyewuunyo, okuba akabonero n'olugero, era ndimuzikiriza wakati mu bantu bange; kale mulimanya nga nze Mukama.
9
Era oba nga nnabbi alirimbibwa n'ayogera ekigambo, nze Mukama nga nnimbye nnabbi oyo, era ndimugololerako omukono gwange, ne mmuzikiriza wakati mu bantu bange Isiraeri.
10
Era balyetikka obutali butuukirivu bwabwe: obutali butuukirivu bwa nnabbi bulyenkanira ddala obutali butuukirivu bw'oyo amwebuuzaako;
11
ennyumba ya Isiraeri ereme okuwaba nate okunvaako newakubadde okweyonoona nate n'okusobya kwabwe kwonna; naye babeerenga abantu bange, nange mbeerenga Katonda waabwe, bw'ayogera Mukama Katonda.”
12
Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera
13
nti, “Omwana w'omuntu, ensi bwe nnyonoona ne tebeera nneesigwa, nange ne ngigololerako omukono gwange ne ngima emmere gye yeetaaga, ne ngisindikira enjala, ne nengimalamu abantu era n'ensolo;
14
newakubadde bano abasatu, Nuuwa, Danyeri ne Yobu, nga baali omwo, bandiwonyezza emmeeme zaabwe bo zokka olw'obutuukirivu bwabwe,” bw'ayogera Mukama Katonda.
15
“ Oba singa nsindika ensolo enkambwe mu nsi ne zigyonoona, n'okuzika n'ezika, omuntu yenna n'atayinza kuyitamu olw'ensolo ezo;
16
abasajja abo bonsatule newakubadde nga baali omwo, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, tebandiwonyezza batabani baabwe newakubadde bawala baabwe; wabula bo bokka bandiwonyezebbwa, naye ensi erizika.”
17
“ Oba bwe ndireeta ekitala ku nsi ne njogera nti, ‘Ekitala, yita mu nsi;’ n'okumalamu ne ngimalamu abantu n'ensolo;
18
abo bonsatule newakubadde nga bali omwo, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, tebandiwonyeza batabani baabwe newakubadde bawala baabwe, naye bo bennyini be bandiwonyeewo bokka.”
19
“Oba singa ndeeta kawumpuli mu nsi eno, ne ngifukako ekiruyi kyange, ne njiwa omusaayi, n'okugimalamu ne ngimalamu abantu n'ensolo:
20
Nuuwa ne Danyeri ne Yobu ne bwe bandibadde nga bali omwo, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, tebandiwonyeza batabani baabwe newakubadde bawala baabwe; bandiwonyeza emmeeme zaabwe bo zokka olw'obutuukirivu bwabwe.”
21
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, “Kale tekirisingawo okuba obubi, bwe ndisindika ebibonerezo byange ebizibu ebina ku Yerusaalemi: ekitala, enjala, ensolo enkambwe ne kawumpuli, okukimalamu abantu n'ensolo?
22
Era naye mulisigalamu abamu abaliwonawo, wamu n'abaana baabwe ab'obulenzi n'ab'obuwala. Abo bwe balivaayo ne bajja gye muli, nammwe muliraba ekkubo lyabwe n'ebikolwa byabwe: kale mulitegeera ng'ekibonerezo kye mpadde Yerusaalemi kisaanidde.
23
Bw'oliraba enneyisa yaabwe n'ebikolwa byabwe, olikakasa nga saabalanga bwereere okubatuusaako ebyo byonna bye nnakolera mu kyo, bw'ayogera Mukama Katonda.”
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48