bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ezekiel 10
Ezekiel 10
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 11 →
1
Awo ne ntunula, ne ndaba mu bbanga eryali waggulu w'emitwe gy'abakerubi, ekifaanana ng'entebe ey'obwakabaka ekoleddwa mu jjinja lya safiro.
2
Katonda n'agamba omusajja ayambadde bafuta nti, “Yingira wakati wa zinnamuziga ezeetooloolera wansi wa bakerubi, ojjuze ebibatu byo byombi amanda ag'omuliro agava wakati wa bakerubi, ogamansire ku kibuga.” Awo n'ayingira nga ndaba.
3
Era bakerubi baali bayimiridde ku luuyi olw'ennyumba olwa ddyo omusajja bwe yayingira; ekire ne kijjuza oluggya olw'omunda.
4
Ekitiibwa kya Mukama ne kirinnya okuva ku bakerubi, ne kiyimirira waggulu ku mulyango ogw'ennyumba; ennyumba n'ejjula ekire, oluggya ne lujjula okumasamasa okw'ekitiibwa kya Mukama.
5
N'okuwuuma kw'ebiwaawaatiro bya bakerubi ne kuwulirwa ne mu luggya olw'ebweru, nga kuli ng'eddoboozi lya Katonda Omuyinza w'ebintu byonna bw'ayogera.
6
Awo olwatuuka Mukama bwe yalagira omusajja ayambadde bafuta nti, “Ggya omuliro wakati wa zinnamuziga ezeetooloolera wakati wa bakerubi,” omusajja n'ayingira n'ayimirira ku mabbali ga nnamuziga.
7
Awo omu ku bakerubi n'agolola omukono gwe ng'ayima wakati wa bakerubi, n'atoola omuliro ogwali wakati wa bakerubi n'aguteeka mu bibatu by'oyo ayambadde bafuta, oyo n'agutoola n'afuluma.
8
Awo ne ndaba mu bakerubi embala ey'omukono gw'omuntu wansi w'ebiwaawaatiro byabwe.
9
Awo ne ntunula, era, laba, bannamuziga bana nga bali ku mabbali ga bakerubi, nnamuziga emu nga eri mabbali ga kerubi omu, ne nnamuziga endala nga eri mabbali ga kerubi omulala: n'embala eya zinnamuziga yali ng'efaanana ejjinja lya berulo.
10
Zinnamuziga zonna ennya zali zifaanagana, gy'obeera nti nnamuziga eri munda mu ginaayo.
11
Mu kutambula, bakerubi baayinzanga okugenda ku buli ludda lwa zo ennya, nga tebamaze kukyuka, wabula buli mutwe gwabwe gye gutunudde nga gye bagenda, awatali kumala kukyuka.
12
Omubiri gwabwe gwonna n'amabega gaabwe n'emikono gyabwe n'ebiwaawaatiro byabwe ne zinnamuziga zaabwe ezo ennya, nga bijjudde amaaso enjuyi zonna.
13
Ne mpulira nga zinnamuziga baziyita, zinnamuziga ezeetooloola.
14
Buli kerubi yalina obwenyi buna: obwenyi obusooka bwali bwa nte, obwokubiri bwali bwa muntu, obwokusatu bwali bwa mpologoma n'obwokuna bwali bwa mpungu.
15
Awo bakerubi ne babuuka ne bagenda waggulu mu bbanga. Ebyo bye biramu bye nnalaba ku mabbali g'omugga Kebali.
16
Bakerubi bwe baabuukanga ne zinnamuziga ne zigendera ku mabbali gaabwe. Bakerubi bwe baayanjuluzanga ebiwaawaatiro byabwe okubuuka okuva ku ttaka, ne zinnamuziga zalinga ku mabbali gaabwe.
17
Awo bakerubi bwe baayimiriranga nga nazo ziyimirira; era bwe babuukanga waggulu mu bbanga nga nazo zibuukira wamu nabo: kubanga omwoyo gw'ebiramu ebyo gwali mu zo.
18
Awo ekitiibwa kya Mukama ne kiva okuva waggulu ku mulyango gw'ennyumba ne kiyimirira waggulu wa bakerubi.
19
Bakerubi ne banjuluza ebiwaawaatiro byabwe ne babuuka okuva ku ttaka nga ndaba, ne zinnamuziga ne zigendera ku mabbali gaabwe, baayimirira ku luggi olw'omulyango ogw'ebuvanjuba ogw'ennyumba ya Mukama, ng'Ekitiibwa kya Katonda wa Isiraeri kyali ku bo waggulu.
20
Ebyo bye biramu bye nnalaba wansi wa Katonda wa Isiraeri ku mabbali g'omugga Kebali, ne mmanya nga be bakerubi.
21
Buli omu yalina obwenyi buna ne biwaawaatiro bina (4). Wansi w'ebiwaawaatiro byabwe waaliwo ekifaanana ng'emikono gy'abantu.
22
Era endabika y'obwenyi bwabwe, yali ddala ng'ey'obwenyi bwe nnalabira ku mabbali g'omugga Kebali. Mu ndabika yaabwe yennyini baatambulanga beesimbye.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48