bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ezekiel 40
Ezekiel 40
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 39
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 41 →
1
Mu mwaka ogw'abiri mu etaano (25) ogw'obuwaŋŋanguse bwaffe, omwaka nga kye gujje gutandike, ku lunaku olw'ekkumi (10) olw'omwezi mu mwaka ogw'ekkumi n'ena (14) ekibuga nga kimaze okumenyebwa, ku lunaku olwo omukono gwa Mukama ne guba ku nze, n'antwalayo.
2
Mukwolesebwa, Katonda n'antwala mu nsi ya Isiraeri, n'anzisa ku lusozi oluwanvu ennyo, okwali ekifaananyi ky'ekibuga mu bukiikaddyo
3
N'antwalayo, kale, laba, nga waliwo omusajja, enfaanana ye ng'enfaanana ey'ekikomo, ng'alina omugwa ogw'obugoogwa mu mukono gwe n'olumuli olugera; n'ayimirira mu mulyango.
4
Omusajja oyo n'aŋŋamba nti, “Omwana w'omuntu, tunula n'amaaso go, owulire n'amatu go, oteeke omutima gwo ku byonna bye nnaakulaga; kubanga kyovudde oleetebwa wano ndyoke mbikulage: byonna by'onoolaba obibuuliranga ennyumba ya Isiraeri.”
5
Awo, laba, ekisenge ebweru w'ennyumba okwetooloola, ne mu mukono gw'omusajja nga mulimu olumuli olugera, obuwanvu bwalwo emikono mukaaga, buli mukono ko n'oluta: awo n'agera obugazi bw'ennyumba, olumuli lumu; n'obugulumivu olumuli lumu.
6
Awo n'ajja eri omulyango ogutunuulira ebuvanjuba, n'alinnya ku madaala gaagwo; n'agera awayingirirwa ow'omulyango, obugazi bwawo olumuli lumu: n'awayingirirwa awalala, obugazi bwawo olumuli lumu.
7
Na buli nju obuwanvu bwayo olumuli lumu n'obugazi bwayo olumuli lumu; ne wakati w'amayu emikono etaano; n'awayingirirwa ow'omulyango awali ekisasi eky'oku mulyango okwolekera ennyumba, waaliwo olumuli lumu.
8
Era n'agera n'ekisasi eky'oku mulyango okwolekera ennyumba, olumuli lumu.
9
Awo n'agera ekisasi eky'oku mulyango, emikono munaana; n'emifuubeeto gyamu, emikono ebiri; n'ekisasi eky'oku mulyango kyayolekera ennyumba.
10
N'amayu ag'oku mulyango ebuvanjuba gaali asatu (3) eruuyi n'asatu (3) eruuyi; ago gonsatule ga kigera kimu n'emifuubeeto gyalina ekigera kimu eruuyi n'eruuyi.
11
Era n'agera awayingirirwa mu mulyango obugazi bwawo, emikono kkumi (10); n'obuwanvu bw'omulyango emikono kkumi n'esatu (13);
12
n'ebbanga eryali mu maaso g'amayu, omukono gumu eruuyi, n'ebbanga omukono gumu eruuyi; n'amayu emikono mukaaga eruuyi n'emikono mukaaga eruuyi.
13
N'agera omulyango okuva ku nju waggulu okutuuka ku nju ginnaayo waggulu, obugazi emikono abiri mu etaano (25); oluggi nga lwolekera oluggi.
14
Era n'akola n'emifuubeeto, emikono enkaaga (60); n'oluggya lwatuuka ku mufuubeeto, omulyango nga gwetooloola.
15
N'okuva ku bwenyi bw'omulyango awayingirirwa okutuuka ku bwenyi obw'ekisasi eky'omunda eky'oku mulyango gyali emikono ataano (50).
16
Era amayu gaaliko obudirisa, n'emifuubeeto gyago egyali munda w'omulyango enjuyi zonna, era n'ebizizi bwe bityo byaliko ebituli: era munda mwalimu ebituli okwetooloola: ne ku buli mufuubeeto kwaliko ebifaananyi eby'enkindu.
17
Awo n'antwala mu luggya olw'ebweru, era, laba, nga waaliwo ebisenge asatu (30), n'amayinja amaaliire, okwetooloola oluggya.
18
N'amayinja amaaliire gaali ku mabbali g'emiryango, okwenkanankana n'obuwanvu obw'emiryango, ge mayinja amaaliire aga wansi.
19
Awo n'agera obugazi okuva ku bwenyi obw'omulyango ogwa wansi okutuuka ku bwenyi obw'oluggya olw'omunda ebweru, emikono kikumi, ebuvanjuba n'obukiikakkono.
20
N'omulyango ogw'oluggya olw'ebweru ogutunuulira obukiikakkono n'agera obuwanvu bwagwo n'obugazi bwagwo.
21
Obusenge bwagwo busatu oluuyi n'oluuyi, n'emifuubeeto gyabwo n'ebizizi byawo byali ng'ekigera eky'omulyango ogwolubereberye: obuwanvu bwagwo emikono ataano (50), n'obugazi emikono abiri mu etaano (25).
22
Amaddirisa n'olukuubo lwabwo, n'ebifaananyi eby'enkindu, byalina ekigera kye kimu n'omulyango ogutunuulira ebuvanjuba. Amadaala musanvu nga gegalinnyibwa okutuuka ku mulyango ogw'obukiikakkono, omulyango gwalina ekisasi.
23
Era oluggya olw'omunda lwaliko omulyango ogwolekera omulyango omulala, obukiikakkono era n'ebuvanjuba; n'agera okuva ku mulyango okutuuka ku mulyango emikono kikumi (100).
24
Awo n'antwala obukiikaddyo, kale, laba, omulyango ogw'obukiikaddyo, n'agera emifuubeeto gyagwo n'ekisasi ng'ebigera ebyo bwe biri.
25
Era kwaliko amadirisa ku gwo ne ku kisasi kyagwo, enjuyi zonna ebifaanana amadirisa ago, obuwanvu emikono ataano (50), n'obugazi emikono abiri mu etaano (25).
26
Era waaliwo amadaala musanvu kwe baalinnyiranga, n'ekisasi kyagwo, kyali mu maaso gaago, era gwaliko n'ebifaananyi by'enkindu, eruuyi n'eruuyi ku mifuubeeto gyagwo.
27
Era oluggya olw'omunda lwalina omulyango ogwolekera obukiikaddyo n'agera okuva ku mulyango okutuuka ku mulyango okwolekera obukiikaddyo emikono kikumi (100).
28
Awo n'antwala mu luggya olw'omunda oluliraanye omulyango ogw'obukiikaddyo ng'ebigera ebyo bwe byali;
29
ebisenge n'emifuubeeto gyagwo n'ekisasi kyagwo ng'ebigera ebyo bwe byali, era gwaliko amadirisa n'ekisasi kyagwo enjuyi zonna, obuwanvu bwagwo emikono ataano (50) n'obugazi bwagwo emikono abiri mu etaano (25).
30
Era waaliwo ekisasi enjuyi zonna obuwanvu bwakyo emikono abiri mu etaano (25) n'obugazi bwakyo emikono etaano.
31
Ekisasi kyagwo kyayolekera oluggya olw'ebweru; n'emifuubeeto gyakyo gyalina ebifaananyi eby'enkindu; n'awalinnyirwa waaliwo amadaala munaana.
32
N'antwala mu luggya olw'omunda okwolekera obuvanjuba: n'agera omulyango ng'ebigera ebyo bwe byali;
33
obusenge bwagwo n'emifuubeeto gyagwo n'ekisasi kyagwo ng'ebigera ebyo bwe byali, era gwaliko amadirisa n'ekisasi kyagwo enjuyi zonna. Obuwanvu bwagwo emikono ataano (50) n'obugazi bwagwo emikono abiri mu etaano (25).
34
Ekisasi kyagwo kyayolekera oluggya olw'ebweru; n'emifuubeeto gyagwo gyaliko ebifaananyi by'enkindu, eruuyi n'eruuyi: n'awalinnyirwa waaliwo amadaala munaana.
35
N'antwala ku mulyango ogw'obukiikakkono, n'agugera ng'ebigera ebyo bwe byali;
36
ebisenge n'emifuubeeto gyagwo n'ekisasi kyagwo; era gwaliko amadirisa enjuyi zonna: obuwanvu bwagwo emikono ataano (50) n'obugazi bwagwo emikono abiri mu etaano (25).
37
N'emifuubeeto gyagwo gyayolekera oluggya olw'ebweru; era emifuubeeto gyagwo gyaliko ebifaananyi by'enkindu eruuyi n'eruuyi: n'awalinnyirwa waaliwo amadaala munaana.
38
Era n'enju n'oluggi lwayo yali eriraanye ku mifuubeeto ku miryango; eyo gye baanaalizanga ekiweebwayo ekyokebwa.
39
Ne mu kisasi eky'oku mulyango mwalimu emmeeza bbiri eruuyi n'emmeeza bbiri eruuyi okuttirangako ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo olw'ekibi n'ekiweebwayo olw'omusango.
40
Era ku luuyi ebweru ng'olinnya awayingirirwa mu mulyango okwolekera obukiikakkono yaliyo emmeeza bbiri: ne ku luuyi olwokubiri, lwe lw'ekisasi eky'oku mulyango, yaliyo emmeeza bbiri.
41
Waaliwo emmeeza nnya eruuyi n'emmeeza nnya eruuyi okuliraana omulyango; emmeeza munaana kwe battiranga ssaddaaka.
42
Era waaliwo emmeeza nnya ez'ekiweebwayo ekyokebwa, ez'amayinja amateme, obuwanvu bwazo omukono ko ekitundu, n'obugazi bwazo omukono ko ekitundu, n'obugulumivu bwazo omukono gumu: kwe baateekanga ebintu bye bassisanga ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka.
43
N'ebikwaso, obuwanvu bwabyo luta, byasibibwa munda enjuyi zonna; ne ku mmeeza kwaliko ennyama ey'ekitone.
44
Era ebweru w'oluggya olw'omunda waaliwo enju ez'abayimbi mu luggya olw'omunda olwali ku mabbali g'omulyango ogw'obukiikakkono era zaatunuulira obukiikaddyo, nga waaliwo emu ku mabbali g'omulyango ogw'obuvanjuba etunuulira obukiikakkono.
45
Awo n'aŋŋamba nti Enju eno etunuulira obukiikaddyo ya bakabona abakuumi b'ennyumba gye balagirwa.
46
N'enju etunuulira obukiikakkono ya bakabona abakuumi b'ekyoto kye balagirwa: abo be batabani ba Zadoki, be b'oku batabani ba Leevi abasemberera Mukama okumuweereza.
47
N'agera oluggya, obuwanvu bwalwo emikono kikumi (100), n'obugazi bwalwo emikono kikumi (100), okwenkanankana; n'ekyoto kyali mu maaso g'ennyumba.
48
Awo n'antwala ku kisasi eky'ennyumba, n'agera buli mufuubeeto ogw'ekisasi emikono etaano eruuyi n'emikono etaano eruuyi, n'obugazi obw'omulyango bwali emikono esatu eruuyi n'emikono esatu eruuyi.
49
Obuwanvu bw'ekisasi bwali emikono abiri (20) n'obugazi emikono kkumi na gumu (11), ng'ogera awali amadaala ge baalinnyirangako omwo, era waaliwo empagi eziriraanye emifuubeeto, emu eruuyi n'emu eruuyi.
← Chapter 39
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 41 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48