bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ezekiel 24
Ezekiel 24
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 25 →
1
Nate mu mwaka ogw'omwenda mu mwezi ogw'ekkumi ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
2
“Omwana w'omuntu, wandiika olunaku lw'omwezi olwa leero: kubanga ku lunaku luno kabaka w'e Babbulooni lwa zingiziza Yerusaalemi.
3
Era ogerere ennyumba enjeemu olugero obagambe nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Teeka sseffuliya ku kyoto, giteekeko, ogifukemu amazzi.
4
Giteekemu ebifi by'ennyama: buli kifi ekirungi, ekisambi n'omukono; gijjuze amagumba agasinga obulungi.
5
Genda mu kisibo kyo oggyemu esinga obulungi, oteeke ebisiki wansi w'entamu, ofumbe bulungi byesere, ennyama n'amagumba biggye.’ ”
6
“Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, Zikusanze ggwe ekibuga ekiyiwa omusaayi, kiri nga sseffuliya erimu obutalagge, so n'obutalagge bwayo tebugivaamu. Gyamu ekifi kimu awatali kweroboza,
7
Kubanga omusaayi gwe kyayiwa guli wakati mu kyo; omusaayi kyaguyiwa ku lwazi olwereere, tekyaguyiwa ku ttaka gubikkibweko enfuufu.
8
Okusiikula ekiruyi kyange nsobole okuwalana eggwanga, kyenvudde nteeka omusaayi gwakyo ku lwazi olwereere, guleme okubikkibwako.
9
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, Zikusanze ggwe ekibuga ekiyiwa omusaayi! era nange ndikola entuumu ennene ey'enku.
10
Tindikira enku nnyingi, okume omuliro, ofumbe bulungi ennyama, fumba okalize amazzi, n'amagumba gasiriire.
11
Oluvannyuma teeka entamu enkalu ku manda ebugume, ekikomo kyayo kyengerere, obujama bwayo busaanukire mu yo, obutalagge bwayo buggweewo.
12
Okufuba kwonna kubadde kwa bwereere, obutalagge bwakyo obungi tebuvaamu na muliro.
13
Mu kwonoona kwo wagwenyuka, kubanga n'afuba nkulongoose, naye tewalongooka. Toliddamu kulongoosebwa okutuusa lwe ndikumalirako ekiruyi kyange.
14
Nze Mukama nkyogedde, ekiseera kirituuka nange ndikikola, siridda mabega era sirisonyiwa so siryejjusa. Ng'amakubo go bwe gali, era ng'ebikolwa byo bwe biri, bwe ntyo bwe ndikusalira omusango, bw'ayogera Mukama Katonda.”
15
Era ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti,
16
“Omwana w'omuntu, laba, oliba oli awo ne nkuggyako ekyo amaaso go kye geegomba. Naye tokungubaganga wadde okukuba ebiwoobe newakubadde okukulukusa amaziga.
17
Ossanga ekikkowe mu kasirise, tokungubagiranga afudde. Weesibanga ekiremba kyo, noonaanika engatto zo mu bigere, so tobikkanga ku mimwa gyo, era tolyanga ku mmere yabakungubazi.”
18
Awo ne njogera n'abantu ku makya, ku olwo akawungeezi, mukazi wange n'afa. Enkeera ne nkola nga Mukama bwe yandagidde.
19
Abantu ne bambuuza nti, “Tootubuulire bino byonna by'okola kye bitutegeeza ffe? ”
20
Awo ne mbagamba nti, “Ekigambo kya Mukama kyanjijidde nga kyogera nti,
21
‘Gamba ennyumba ya Isiraeri nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, ndyonoona ekifo kyange ekitukuvu, amalala ag'obuyinza bwammwe, amaaso gammwe kye geegomba, n'ekyo emmeeme yammwe kye yagala, kale batabani bammwe ne bawala bammwe be mwaleka mu Yerusaalemi balittirwa mu lutalo.
22
Nammwe mulikola nga nze bwe nkoze: temulibikka ku mimmwa gyammwe era temulirya mmere ya bakungubazi.
23
Mulisigala nga mwesibye ebiremba byammwe ku mitwe gyammwe, era nga mwambadde engatto mu bigere byammwe: temulikungubaga, temulikaaba naye muliyongobera olwo butali butuukirivu bwammwe, na buli muntu alisindira munne ennaku ye.
24
Bwe kityo Ezeekyeri aliba akabonero gye muli, era mulikola nga bw'akoze. Ebyo bwe biribaawo, nga mulitegeera nga nze Mukama Katonda.’
25
“Naawe, omwana w'omuntu, ku lunaku lwe ndibaggyako ekigo kyabwe, essanyu n'ekitiibwa kyabwe, amaaso gaabwe kye geegomba, n'ekyo kye bateekako omutima gwabwe, abaana baabwe ab'obulenzi n'ab'obuwala,
26
ku lunaku olwo oyo aliba awonyeewo alijja gy'oli okukikutegeeza.
27
Ku lunaku olwo olulimi lwo lulisumulukuka n'osobola okwogera n'oyo aliba awonyeewo. Bw'otyo oliba kabonero gyebali, era balimanya nga nze Mukama.”
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 25 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48