bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ezekiel 33
Ezekiel 33
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 34 →
1
Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti,
2
“Omwana w'omuntu, yogera eri abantu bo obagambe nti Bwe ndeetanga ekitala ku nsi, abantu ab'omu nsi ne baddira omusajja wakati mu bo ne bamuteekawo okuba omukuumi waabwe,
3
n'alaba ekitala nga kijja ku nsi, n'afuuwa ekkondeere n'alabula abantu;
4
kale buli awulira okuvuga kw'ekkondeere n'atalabuka, ekitala bwe kijja ne kimuggyawo, kale omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe ye.
5
Kubanga awulidde okuvuga kw'ekkondeere n'atalabuka; omusaayi gwe kye guliva gubeera ku mutwe gwe ye, naye singa yalabuka yandiwonyezza emmeeme ye.
6
Naye omukuumi bw'alabanga ekitala nga kijja, n'atafuuwa kkondeere, abantu ne batalabulwa, ekitala ne kijja, ne kiggya mu bo omuntu yenna; kale ng'aggiddwawo mu butali butuukirivu bwe, naye omusaayi gwe ndiguvunaana omukuumi.
7
Naawe bw'otyo, omwana w'omuntu, nkutaddewo okuba omukuumi eri ennyumba ya Isiraeri; kale, owuliranga ekigambo ekiva gyendi, n'obategeeza okulabula okuva gye ndi.
8
Bwe ŋŋambanga omubi nti Ayi omubi, tolirema kufa, n'otoyogera kulabula omubi okuva mu kkubo lye; omuntu oyo omubi alifiira mu butali butuukirivu bwe, naye omusaayi gwe ndiguvunaana ggwe
9
Era naye bw'olabulanga omubi okuleka ekkubo lye, n'atakyuka okuva mu kkubo lye; alifiira mu butali butuukirivu bwe, naye ggwe ng'owonyezza emmeeme yo.”
10
“Naawe, omwana w'omuntu, gamba ennyumba ya Isiraeri nti Mwogera bwe muti nti, ‘Okusobya kwaffe n'okwonoona kwaffe kuli ku ffe, era tuyongoberera mu kwo; kale tuyinza tutya okuba abalamu?’
11
Bagambe nti, Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, sisanyukira okufa kw'omubi, wabula omubi akyuke ave mu kkubo lye abeere omulamu. Mukyuke, mukyuke okuva mu makubo gammwe amabi; kubanga mwagalira ki okufa, ayi ennyumba ya Isiraeri?
12
Naawe, omwana w'omuntu, gamba abantu bo nti, Obutuukirivu obw'omutuukirivu tebulimuwonyeza ku lunaku olw'okusobya kwe; n'obubi obw'omubi tebulimuzikirizisa ku lunaku lw'akyuka okuleka obubi bwe. Oyo alina obutuukirivu taliyinza kuba mulamu olw'obwo ku lunaku lw'ayonoona.
13
Bwe ŋŋamba omutuukirivu nga aliba mulamu, naye ne yeesiga obutuukirivu bwe, n'akola obutali butuukirivu, tewaliba ku bikolwa bye eby'obutuukirivu ebirijjukirwa; naye mu butali butuukirivu bwe bw'akoze omwo mw'alifiira.
14
Nate bwe ŋŋamba omubi nti Tolirema kufa; naye n'akyuka okuleka okwonoona kwe n'akola ebyo ebyalagirwa eby'ensonga;
15
omubi oyo n'okuzzayo n'azzaayo omusingo, n'azzayo ekyo kye yabba, n'atambulira mu mateeka ag'obulamu, nga taliiko butali butuukirivu bw'akola, aliba mulamu, talifa.
16
Tewaliba ku bibi bye bye yakola ebirijjukirwa ku ye, kubanga akoze ebyo ebyalagirwa eby'ensonga, aliba mulamu.
17
Era naye abantu bo boogera nti, ‘Ekkubo lya Mukama teryenkanankana.’ Naye ate ekkubo lyabwe lye litenkanankana.
18
Omutuukirivu bw'akyukanga okuleka obutuukirivu bwe n'akola obutali butuukirivu, alifiira omwo.
19
Era omubi bw'akyukanga okuleka obubi bwe n'akola ebyo ebyalagirwa eby'ensonga, aliba mulamu olw'ebyo.
20
Era naye mwogera nti, ‘Ekkubo lya Mukama teryenkanankana.’ Ayi ennyumba ya Isiraeri, ndibasalira omusango buli muntu ng'amakubo ge bwe gali.”
21
Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri ogw'okusibibwa kwaffe, mu mwezi ogw'ekkumi ku lunaku olw'omwezi olw'okutaano omu eyali awonye mu Yerusaalemi n'ajja gye ndi n'aŋŋamba nti, “Ekibuga kikubiddwa.”
22
Awo omukono gwa Mukama gwali nga gumbaddeko akawungeezi, oyo awonyeewo nga tannaba kuntukako enkeera, Mukama yali asumuludde akamwa kange nga ntandise okwogera nga sikyali kasiru.
23
Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti,
24
“Omwana w'omuntu, abo abali mu bifo ebyo ebyazika eby'omu nsi ya Isiraeri boogera nti, ‘Ibulayimu yali omu, naye n'asikira ensi, naye ffe tuli bangi, ensi etuweereddwa okuba obusika.’
25
Kale bagambe nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Mulya ekirimu omusaayi, ne muyimusa amaaso gammwe eri ebifaananyi byammwe ne muyiwa omusaayi, era mulirya ensi?
26
Mwesiga kitala kyammwe, mukola eby'emizizo ne mwonoona buli muntu mukazi wa munne, era mulirya ensi?’
27
Bw'oti bw'oba obagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Nga bwe ndi omulamu, mazima abo abali mu bifo ebyazika baligwa n'ekitala, n'oyo ali mu ttale ebweru ndimuwaayo eri ensolo okuliibwa, n'abo abali mu bigo ne mu mpuku balifa kawumpuli.
28
Era ndifuula ensi okuba amatongo n'ekyewuunyo, n'amalala ag'obuyinza bwayo galikoma; n'ensozi za Isiraeri zirirekebwawo, omuntu yenna aleme okuyitamu.
29
Kale olwo balimanya nga nze Mukama, bwe ndiba nga nfudde ensi okuba amatongo n'ekyewuunyo olw'emizizo gyabwe gyonna gye bakoze.
30
Naawe, omwana w'omuntu, abantu bo bakwogerako mu bisaakaate ne mu miryango egy'ennyumba, nga bagambagana nti, Mujje, tuwulire ekigambo ekivudde eri Mukama.
31
Ne bajja gy'oli ng'abantu bwe bajja, ne batuula mu maaso go ng'abantu bange ne bawulira ebigambo byange naye ne batabikola: kubanga boolesa okwagala kungi n'akamwa kaabwe, naye omutima gwabwe gugoberera amagoba gaabwe.
32
Era, laba, oli gyebali ng'oluyimba olulungi ennyo olw'omuntu alina eddoboozi erisanyusa ennyo, era amanyi okukuba obulungi ennanga: kubanga bawulira ebigambo byo, naye ne batabikola.
33
Awo ebyo bwe birituukirira, era nga bijja kutuukirira, kale ne balyoka bamanya nga nnabbi abadde mu bo.”
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 34 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48