bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ezekiel 11
Ezekiel 11
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 12 →
1
Mwoyo wa Mukama era n'ansitula n'antwala ku Mulyango Ogw'ebuvanjuba ogw'Essinzizo, ogutunula ebuvanjuba. Eyo ku mulyango ogwo we guggulira, ne ndabayo abasajja amakumi abiri mu bataano, nga mu bo mulimu ne Yaazaniya mutabani wa Azzuri, ne Pelatiya mutabani wa Benaaya, abakulembeze b'abantu.
2
Mukama n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, bano be bantu abateesa okukola ebibi, era abawa amagezi amabi mu kibuga kino.
3
Bagamba nti: ‘Ekiseera kinaatera okutuuka eky'okuzimba amayumba. Ekibuga kino ye ntamu efumba, era ffe nnyama efumbwamu.’
4
Kale langa, ggwe omuntu, langa obavumirire.”
5
Awo Mwoyo wa Mukama n'ajja ku nze, n'aŋŋamba nti: “Yogera nti Mukama agamba nti: ‘Mmwe ab'Eggwanga lya Yisirayeli, mmanyi bye mugamba, ne bye mulowooza.
6
Mweyongedde okutta abantu mu kibuga kino, enguudo zaakyo ne muzijjuza emirambo.’
7
“Kale Nze Mukama Afugabyonna kyenva ŋŋamba nti ddala ekibuga ntamu, era abantu be mutirimbula ne bagaŋŋalama mu kyo, abo ye nnyama. Naye mmwe ndikibagobamu.
8
Mutidde ekitala, naye ndireeta abalina ebitala ne babalumba.
9
Ndibaggya mu kibuga kino, ne mbawaayo mu mikono gy'abagwira, ne mbabonereza olw'emisango gye mwazza.
10
Mulittibwa mu lutalo wano mu nsi ya Yisirayeli. Olwo mulimanya nga Nze Mukama.
11
Ekibuga kino tekiribakuuma ng'entamu bw'ekuuma ennyama mu yo. Ndibabonerereza buli we mulibeera mu Yisirayeli.
12
Kale mulimanya nga Nze Mukama, era nga mu kukolera ku biragiro by'ab'amawanga agabeetoolodde, mujeemedde amateeka gange, era temutuukirizza bye mbakuutira.”
13
Awo olwatuuka, bwe nali nga nkyalanga ebyo, Pelatiya mutabani wa Benaaya n'afa. Ne ngwa ku ttaka nga nneevuunise, ne ndeekaana mu ddoboozi ery'omwanguka, ne ŋŋamba nti: “Woowe, ayi Mukama, Katonda! Onoomalirawo ddala Abayisirayeli abasigaddewo?”
14
Awo Mukama n'aŋŋamba nti:
15
“Ggwe omuntu, baganda bo, n'ab'eggwanga lyammwe bwe muli mu buwaŋŋanguse, be Bayisirayeli bonna, abantu ababeera mu Yerusaalemu baboogerako nga bagamba nti mmwe muvudde awali Mukama, era nti bo Mukama b'awadde ensi eyo ebe yaabwe.
16
“Kale kaakano tegeeza abo bwe muli mu buwaŋŋanguse nti Nze Mukama Afugabyonna ŋŋamba nti newaakubadde nga nabaggya mu nsi yaabwe ne mbatwala ewala mu mawanga, ne mbasaasaanyiza mu nsi nnyingi, naye mu kiseera kino ekiriwo nja kubeera wamu nabo mu nsi ze balimu.
17
“Kale bategeeze Nze Mukama Afugabyonna kye ŋŋamba nti: ‘Ndibakuŋŋaanya okubaggya mu mawanga, ne mu nsi mwe mwasaasaanyizibwa, era ndibawa ensi ya Yisirayeli.’
18
Kale bwe balikomawo, baliggyayo ebintu byonna eby'ekivve n'ebyenyinyalwa bye balisangawo.
19
Ndibawa omutima omuggya n'endowooza empya. Ndiggya mu bo omutima omukalubo ng'ejjinja, ne mbawa omutima omuwulize.
20
Olwo banaakwatanga amateeka gange, bakolenga bye nabalagira. Banaabanga bantu bange, nze ne mba Katonda waabwe.
21
Naye abo kaakano abamalidde omutima gwabwe ku by'ekivve n'ebyenyinyalwa, ndibabonereza olw'ebibi bye bakola. Bwe ntyo bwe ŋŋamba Nze Mukama Afugabyonna.”
22
Awo bakerubi ne basitula ebiwaawaatiro byabwe ne babuuka mu bbanga, ne zinnamuziga nga zibali ku mabbali, n'ekitangaala eky'ekitiibwa kya Katonda wa Yisirayeli kyali ku bo waggulu.
23
Ekitangaala eky'ekitiibwa kya Mukama ne kisituka ne kiva wakati w'Ekibuga, ne kiyimirira ku lusozi oluli ku ludda lw'ekibuga olw'ebuvanjuba.
24
Mu kulabikirwa, Mwoyo wa Katonda n'ansitula, n'ankomyawo eri abaali mu buwaŋŋanguse e Babilooniya. Olwo ebyo bye nalabira mu kulabikirwa ne bikoma.
25
Ne ntegeeza abaali mu buwaŋŋanguse, ebintu byonna Mukama bye yali andaze.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48