bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ezekiel 30
Ezekiel 30
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 31 →
1
Mukama era n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti:
2
“Ggwe omuntu langa oyogere Nze Mukama Afugabyonna bye ŋŋamba. Mukungubage nga mugamba nti: Olunaku olwo zirusanze!
3
Olunaku olwo luli kumpi, olunaku Mukama lw'alikolerako eby'amaanyi. Luliba lunaku lwa bire, olunaku amawanga kwe galibonererezebwa.
4
Walibaawo olutalo mu Misiri n'obulumi buligwira Kuusi. Bangi balittibwa mu Misiri, obugagga bwayo ne bunyagibwa; n'emisingi gyayo girimenyebwawo.
5
Ab'e Kuusi ne Puuti ne Luudi Abawarabu n'Abalibiya, n'ab'ensi zonna ez'omukago, balifiira mu lutalo olwo.”
6
Mukama agamba nti: “Abo abawanirira Misiri baligwa, amaanyi agagireetera okwekuza galimenyebwawo, n'abantu baayo balittirwa mu lutalo, okuva e Migidooli okutuuka e Siyeene. Nze Mukama Afugabyonna, njogedde.
7
Erifuuka amatongo, n'okusinga ensi endala zonna ezaali zifuuse amatongo, n'ebibuga byayo birizika n'okusinga ebibuga ebirala byonna ebyali bizisiddwa.
8
Bwe ndimala okukuma omuliro mu Misiri abagiyambako bonna ne bafa, olwo balimanya nga Nze Mukama.
9
Ku lunaku olwo ndituma ababaka ne bagendera mu mmeeri, okutiisa ab'e Kuusi abatebenkedde. Balituukibwako obulumi ku lunaku Misiri kw'alibonererezebwa. Ddala olunaku olwo lujja.”
10
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Ndikomya ebyobugagga bwa Misiri nga nkozesa Nebukadunezzari, Kabaka wa Babilooniya.
11
Ye n'ab'eggye lye abasingayo mu mawanga okuba abakambwe, balijja ne bazikiriza ensi eyo. Balisowola ebitala byabwe ne balwanyisa Misiri, ne bagijjuza emirambo gy'abattiddwa.
12
Ndikaza Omugga Kiyira, ne nteeka ensi y'e Misiri mu mikono gy'abantu ababi. Ndireka abagwira boonoone ensi eyo ne byonna ebirimu. Nze Mukama Afugabyonna, njogedde.”
13
Mukama Afugabyonna n'agamba nti: “Era ndizikiriza ebifaananyi bya balubaale e Misiri, mbimalewo mu Menfiisi. Tewalisigalawo n'omu alitwala bufuzi mu nsi eyo, era ndigireetamu entiisa.
14
Paturoosi ndikifuula matongo, Zowani nkikumeko omuliro, ne Tebesi nkiwe ekibonerezo.
15
Ndimalira obusungu bwange ku Kibuga Siini, kye kigo kya Misiri eky'okwerindiramu ekisingayo obugumu, era ndimalirawo ddala abantu b'e Tebesi.
16
Ndikuma omuliro ku Misiri, Siini kiribonaabona nnyo. Ebisenge bya Tebesi birikubwamu ebituli, n'Ekibuga Menfiisi, kinaabeeranga mu ntiisa buli lunaku.
17
Abalenzi ab'omu bibuga Aveni ne Pibeseti balittirwa mu lutalo, abantu abalala ne batwalibwa nga basibe.
18
Ekizikiza kirikwata e Tehafuneheesi bwe ndimenyerayo obuyinza bwa Misiri, ne nkomya amaanyi gaabwe agaali gabeeyagaza. Ekire kiribikka ku Misiri, abantu b'omu bibuga byayo ne batwalibwa nga basibe.
19
Bwe ntyo bwe ndibonereza Misiri, ne balyoka bamanya nga Nze Mukama.”
20
Ku lunaku olw'omusanvu olw'omwezi ogw'olubereberye, mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu nga tuli mu buwaŋŋanguse, Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti:
21
“Ggwe omuntu, mmenye omukono gwa Kabaka wa Misiri. Tegusibiddwako ddagala wadde okuyungibwa gusobole okuwona n'okuba ogw'amaanyi, okuddamu okukwata ekitala.
22
Kale Nze Mukama Afugabyonna, ŋŋamba nti ndi mulabe wa Kabaka wa Misiri, era ndimenya emikono gye gyombi, ogw'amaanyi n'ogwo ogwamenyeka, mmusuuze ekitala ky'akutte.
23
Ndisaasaanya Abamisiri mu mawanga mangi ku nsi,
24
era ndinyweza emikono gya kabaka wa Babilooniya, ne nteeka ekitala kyange mu mukono gwe. Kyokka ndimenya emikono gya kabaka wa Misiri, asindire mu maaso ga kabaka wa Babilooniya, ng'omuntu afumitiddwa ebiwundu eby'okumutta bw'asinda.
25
Ndiwa amaanyi emikono gya Kabaka wa Babilooniya, naye emikono gya kabaka wa Misiri girinafuwa ne gikka. Bwe nditeeka ekitala kyange mu ngalo za kabaka wa Babilooniya n'akyolekeza ensi y'e Misiri, olwo balimanya nga Nze Mukama.
26
Ndisaasaanya Abamisiri mu mawanga mangi ku nsi, kale balimanya nga Nze Mukama.”
← Chapter 29
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 31 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48