bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ezekiel 22
Ezekiel 22
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 23 →
1
Mukama era n'ayogera nange, n'agamba nti:
2
“Ggwe omuntu, onoosalira omusango ekibuga ekyo ekijjudde obutemu? Kale kimanyise byonna ebyenyinyalwa bye kikola.
3
Kitegeeze nti: Mukama Afugabyonna agamba nti nga bw'otemudde abantu bo abangi, ne weejaajaamya ng'osinza ebifaananyi bya balubaale, ekiseera kyo kituuse.
4
Ozzizza omusango gw'obutemu, era weejaajaamizza olw'ebifaananyi bya balubaale bye wakola, ekiseera kyo ne kituuka, era kiweddeko, kyenvudde nkuleka okuvumibwa amawanga n'okusekererwa ensi zonna.
5
Abakuli okumpi n'abakuli ewala, balikusekerera kubanga olina erinnya ebbi era ojjudde obusasamalo.
6
Abakulembeze ba Yisirayeli bonna beesiganga obuyinza bwabwe, ne battira abantu mu ggwe.
7
Mu ggwe, abaana mwe banyoomera bakitaabwe ne bannyaabwe. Mu ggwe, mwe bayiikiririza abagwira, ne balyazaamaanya bannamwandu ne bamulekwa.
8
Onyooma ebintu byange ebitukuvu, era tokuuma Sabbaato ze nateekawo.
9
Abawaayiriza bannaabwe battibwe, bali mu ggwe. Mu ggwe, mwe muli abalya ebitambiriddwa balubaale, era mu ggwe mwe bakolera eby'obukaba.
10
Mu ggwe, mwe muli abeebaka ne bakaabakitaabwe. Mu ggwe, abasajja mwe bakwatira abakazi olw'empaka nga bali mu biseera byabwe ebya buli mwezi.
11
Mu ggwe mulimu abenda ku bakaabasajja, n'abasigula bakaabaana baabwe, era n'abakwata bannyinaabwe bwe bagatta bakitaabwe.
12
Mu ggwe, mulimu abagulirirwa okutemula abantu, n'abamu basaba amagoba ku nsimbi ze bawola Bayisirayeli bannaabwe, ne babagaggawalirako. Banneerabidde.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba.
13
“Kale ndikubonereza n'amaanyi olw'obunyazi bwo n'obutemu bwo.
14
Olowooza oliba okyalimu amaanyi, era ng'okyayinza wadde okugolola omukono gwo, mu biseera mwe ndikukangavvulira? Nze Mukama nkyogedde, era ndikituukiriza.
15
Abantu bo ndibabunya mu mawanga, ne mbasaasaanya mu nsi nnyingi, ne mmalawo ebikolwa byo ebibi.
16
Awo oliggwaamu ekitiibwa mu mawanga amalala, n'omanya nga Nze Mukama.”
17
Awo Mukama n'ayogera nange n'aŋŋamba nti:
18
“Ggwe omuntu, ab'Eggwanga lya Yisirayeli banfuukidde abatalina mugaso. Bo masengere agaggyiddwamu ekikomo, amasasi, ekyuma, ebbaati oba ffeeza mu kabiga k'omuliro.
19
Kale kaakano Nze Mukama Afugabyonna ŋŋamba nti: nga mwenna bwe mufuuse amasengere, ndibakuŋŋaanya ne mbaggya mu Yerusaalemu,
20
nga bwe bakuŋŋaanya ebiyinjayinja ebirimu ffeeza, oba ekikomo, oba ekyuma, oba ebbaati oba essasi, ne babiteeka mu kabiga k'omuliro ne bafukuta okubisaanuusa, nange bwe ntyo bwe ndibakuŋŋaanya mmwe, nga nnina obusungu n'ekiruyi, ne mbateeka awo, ne mbasaanuusa.
21
Ddala ndibakuŋŋaanya ne mbafukutako omuliro gw'obusungu bwange, ne musaanuukira mu Yerusaalemu.
22
Nga ffeeza bw'asaanuukira mu kabiga k'omuliro, nammwe bwe mulisaanuukira mu Yerusaalemu, ne mulyoka mumanya nga Nze Mukama, nze mbamaliddeko ekiruyi kyange.”
23
Awo Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti:
24
“Ggwe omuntu, gamba Abayisirayeli nti ensi yaabwe si nnongoofu, era teritonnyebwamu nkuba mu kiseera kye ndigibonererezaamu nga nsunguwadde.
25
Abalanzi abagirimu beekobye, ne baba ng'empologoma ewuluguma, etaagulataagula ensolo z'eyizze. Basse abantu, ne banyaga ensimbi n'ebyobugagga, na buli kintu eky'omuwendo, ne baleka ng'abakazi bangi bafuuse bannamwandu.
26
Bakabona baamu, bamenya amateeka gange, era bajaajaamizza ebintu byange ebitukuvu. Tebaawula bitukuvu ku bitali bitukuvu. Tebayigiriza bantu kwawula birongoofu na bitali birongoofu, era tebassaayo mwoyo kukuuma Sabbaato ze nateekawo, kale ne bandeetera obutassibwamu kitiibwa.
27
Abafuzi baamu bali ng'emisege egitaagulataagula ensolo ze giyizze. Batta abantu ne babazikiriza, balyoke beetwalire ebintu byabwe bagaggawale.
28
Abalanzi baamu babikkirira ebibi ebyo, ng'abantu bwe babikkirira ekisenge nga bakisiigako langi. Bafuna okulabikirwa okutaliiwo, ne balanga eby'obulimba. Bagamba nti: ‘Mukama Afugabyonna agamba bw'ati,’ sso nga Nze Mukama, sirina kye njogedde.
29
Abatuuze b'omu nsi eyo bayiikiriza bannaabwe, ne babanyagako ebyabwe. Banyigiriza abaavu n'abali mu bwetaavu, ne bayiikiriza abagwira awatali kubasaasira.
30
Nanoonya mu bo omuntu ayinza okuddaabiriza ekisenge, n'ayimirira mu maaso gange mu kituli ekikubiddwa mu kisenge ekyo, awolereze ensi eyo nneme okugizikiriza, kyokka ne sirabayo n'omu.
31
N'olwekyo mbasunguwalidde nnyo, era nja kubasaanyaawo n'omuliro gw'obusungu bwange, nga mbalanga bye bakoze.” Nze Mukama Afugabyonna, njogedde.
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48