bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ezekiel 33
Ezekiel 33
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 34 →
1
Awo Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti:
2
“Ggwe omuntu, yogera n'abantu b'eggwanga lyo, obategeeze ekibaawo bwe mbaako ensi gye nsindiseemu olutalo: abantu ab'omu nsi eyo beerondamu omu ku bo, ne bamuteekawo okuba omukuumi.
3
Bw'alaba abalabe nga bajja, afuuwa ekkondeere n'alabula abantu.
4
Kale buli awulira ekkondeere nga livuga n'atalabuka, abalabe ne bajja ne bamutta, olwo ye okuttibwa, gunaabanga musango gwe.
5
Ye okuttibwa, gunaabanga musango gwe, kubanga aba awulidde ekkondeere nga livuga n'atafaayo kulabuka. Aba kufaayo n'alabuka, yandiwonyezza obulamu bwe.
6
Kyokka omukuumi bw'alaba abalabe nga bajja, n'atafuuwa kkondeere, abantu ne batalabulwa, abalabe ne bajja, ne babaako gwe basaanyaawo ng'ali mu bibi bye, okuttibwa kwe ndikuvunaana mukuumi oyo.
7
“Kaakano, ggwe omuntu, naawe nkutaddewo okuume ab'Eggwanga lya Yisirayeli. N'olwekyo bw'owuliranga bye nkugamba, ng'obalabula ku lwange.
8
Bwe ŋŋamba omubi nti ‘Ggwe omubi, ojja kufa’, ggwe n'otoyogera okumulabula ave mu mpisa ze embi, omuntu oyo omubi alifiira mu bibi bye, kyokka okufa kwe ndikuvunaana ggwe.
9
Naye bw'olabula omubi okukyuka ave mu mpisa ze embi, n'atakyuka kuzivaamu, alifiira mu bibi bye, naye ggwe oliba owonyezza obulamu bwo.”
10
“Ggwe omuntu, gamba ab'Eggwanga lya Yisirayeli nti: Mugamba nti: ‘Tuzitoowereddwa ebibi byaffe n'ensobi zaffe, bitumazeemu amaanyi. Kale tunaalema tutya okufa!’
11
Bagambe nti: ‘Nze Mukama Afugabyonna, nga bwe ndi omulamu, sisanyukira kufa kwa mwonoonyi, wabula njagala akyuke ave mu mpisa ze embi, abe mulamu. Kale, mmwe ab'Eggwanga lya Yisirayeli, mukyuke, mukyuke muve mu mpisa zammwe embi. Lwaki mwagala mufe?’
12
“Kaakano, ggwe omuntu, gamba abantu bo Abayisirayeli nti omuntu omulungi bw'akola ebibi, ebirungi bye yakola edda tebirimuwonya. N'omuntu omubi bw'akyuka n'alekayo okukola ebibi, talibonerezebwa. Era n'omuntu omulungi bw'atandika okwonoona, taliwonya bulamu bwe.
13
Bwe nkakasa omuntu omulungi nti aliba mulamu, kyokka ne yeesiga obulungi bwe obw'edda, n'atandika okukola ebibi, tewaliba kijjukirwa ku birungi bye yakola, wabula mu bibi by'akoze mw'alifiira.
14
Era bwe ndabula omuntu omubi nti ajja kufa, kyokka n'akyuka n'alekera awo okwonoona, n'akola ebyo ebituufu by'alagirwa okukola,
15
okugeza, bw'azzaayo omusingo gwe yaggya ku muntu gwe yawola, oba bw'akomyawo kye yabba, n'agoberera amateeka agawa obulamu, nga taliiko kibi ky'akola, talirema kusigalawo nga mulamu.
16
Alisonyiyibwa ebibi byonna bye yakola, n'aba mulamu, kubanga akoze ebyo ebituufu by'alagirwa okukola.
17
“Naye abantu b'Eggwanga lyo bagamba nti nze Afugabyonna, bye nkola, si bya bwenkanya, sso nga bo bye bakola bye bitali bya bwenkanya.
18
Omuntu omulungi bw'akyuka n'ava ku kukola ebirungi, n'akola ebibi, alifa olw'okukola ebibi ebyo.
19
Omubi bw'akyuka n'alekayo okukola ebibi, n'akola ebyo ebituufu by'alagirwa okukola, aliwonya obulamu bwe olw'okukola bw'atyo.
20
Naye mugamba nti nze, Afugabyonna bye nkola si bya bwenkanya. Mmwe Abayisirayeli, buli muntu ndimusalira omusango, nga nsinziira ku bikolwa bye.”
21
Awo olwatuuka, ku lunaku olwokutaano olw'omwezi ogw'ekkumi, mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri nga tuli mu buwaŋŋanguse, omu eyali awonyeewo mu Yerusaalemu, n'ajja n'antegeeza nti Ekibuga Yerusaalemu kikubiddwa ne kiwambibwa.
22
Eggulolimu ng'oyo awonyeewo tannajja, nawulira ng'amaanyi ga Mukama gankutteko. Enkeera oyo awonyeewo we yantuukirako, Mukama yali amaze okunsumulula akamwa, nga nsobola okwogera, nga sikyali nga kasiru.
23
Awo Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti:
24
“Ggwe omuntu, abantu abali mu bibuga ebyafuuka amatongo, eby'omu nsi ya Yisirayeli bagamba nti: ‘Oba nga Aburahamu eyali omuntu omu, ensi eno yamuweebwa ebe yiye, kale alabisa ffe abangi! Ddala etuweereddwa ebe yaffe.’
25
“Kale bategeeze, Nze Mukama Afugabyonna, kye mbagamba nti: ‘Mulya ennyama ekyalimu omusaayi. Musinza ebitali Katonda, era mutemula abantu. Olwo ne mulowooza nti ensi eyo eriba yammwe?’
26
Mwesiga byakulwanyisa byammwe. Mukola ebyenyinyalwa. Buli omu ayenda ne muka munne. Olwo ne mulowooza nti ensi eyo eriba yammwe?
27
“Bagambe nti Nze Mukama Afugabyonna mbakakasa nti nga bwe ndi omulamu, mazima abo abali mu bibuga ebyafuuka amatongo, balittibwa mu lutalo. Abo abali mu byalo aweetadde, ndibawaayo ne baliibwa ensolo enkambwe, n'abo abali mu bigo ebigumu eby'okwerindiramu, ne mu mpuku, balifa endwadde.
28
Ndifuula ensi eyo amatongo era ettale omutali kantu, era okwekulumbaza kw'obuyinza bwayo, kulikoma. Ensozi z'omu Yisirayeli zirifuuka ddungu, zibuleko n'omu aziyitamu.
29
Bwe ndibonereza abantu olw'ebibi byabwe, n'ensi ne ngifuula amatongo era ettale omutali kantu, olwo balimanya nga Nze Mukama.”
30
“Ggwe omuntu, abantu bo bakwogerako nga basisinkanye ku mabbali g'ebisenge ne ku miryango gy'ennyumba zaabwe, ne bagambagana nti: ‘Mujje baana battu, tugende tuwulire Mukama ky'atugamba.’
31
Ne bajja kinnabulungi, ne batuula mu maaso go ng'abantu bange, ne bawulira by'obagamba, naye nga tebajja kubikola, kubanga balaga okwagala kungi, naye mu bigambo bugambo, emitima gyabwe nga gyemalidde ku kufuna magoba ag'okuwampanya.
32
Ggwe bakulaba ng'omuntu abayimbira oluyimba olulungi mu ddoboozi erisanyusa ennyo, era amanyi okukuba obulungi ennanga, kubanga bawulira by'obagamba, naye ne batabikola.
33
Naye by'obagamba bwe birituukirira, ate nga tebirirema kutuukirira, olwo ne balyoka bamanya nga mu bo mubaddemu omulanzi.”
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 34 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48