bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ezekiel 13
Ezekiel 13
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 14 →
1
Awo Mukama n'ayogera nange n'aŋŋamba nti:
2
“Ggwe omuntu, langa ovumirire abalanzi b'omu Yisirayeli, abalanga ebyo bo bye beeyiiyiza mu mutima. Bagambe bawulire Nze Mukama kye ŋŋamba.”
3
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Zibasanze abo abalanzi abasirusiru, abeeyiiyiza ebyabwe, nga tebalina kye balabye.
4
Mmwe Abayisirayeli, abalanzi bammwe bali ng'ebibe ebiri mu matongo.
5
Tebakuuma bifo ebisenge we byawomoggolwa ebituli, wadde okuddaabiriza ebisenge ebyo basobole okutaasa ab'Eggwanga lya Yisirayeli mu lutalo, olunaku lwa Mukama nga lutuuse.
6
Okulabikirwa kwabwe tekuliiwo, era balanga bya bulimba abo abagamba nti boogera bubaka bwange, Nze Mukama, sso nga nze sibatumye, ne basuubiza abantu nti kye boogedde kijja kutuukirira.
7
Abo mbagamba nti: ‘Tewali kulabikirwa kwe mufunye, ne bye mwogedde bya bulanzi bwa bulimba. Mugamba nti ebyo nze mbyogedde, sso nga sibyogeranga.’ ”
8
Kale Mukama Afugabyonna agamba nti: “Nga bwe mwogedde ebitaliiwo, era nga bwe mulabye eby'obulimba, kaakano ndi mulabe wammwe.
9
Nja kubonereza abalanzi abo abalaba ebitaliiwo, era abalanga eby'obulimba. Tebaliba mu bantu bange nga bakuŋŋaanye okuteesa, amannya gaabwe tegaliwandiikibwa mu ga ba ggwanga lya Yisirayeli, era tebaliyingira mu nsi ya Yisirayeli. Olwo mulimanya nga Nze Mukama Afugabyonna.
10
Abalanzi abo, mazima bawubisizza abantu bange, nga bagamba nti: ‘Mirembe’, sso nga tewali mirembe. Abantu bwe bazimba ekisenge ekitagumye, abalanzi abo ne bakisiigako langi kinyirire.
11
Abo abakisiigako langi, bagambe nti kijja kugwa. Wajja kutonnya enkuba ey'amaanyi, wagwe n'amayinja ag'omuzira amanene, wakunte ne kibuyaga omungi.
12
Ekisenge bwe kirimala okugwa, balibabuuza nti langi gye mwasiigako egasizza ki?”
13
Kale Mukama Katonda agamba nti: “Nga nzijjudde obusungu n'ekiruyi, ndireeta kibuyaga mungi n'akunta, ne ntonnyesa enkuba efukumuka, erimu n'amayinja ag'omuzira amanene, ne nkimenyerawo ddala ne kivaawo.
14
Bwe ntyo bwe ndimenyerawo ddala ekisenge kye musiizeeko langi, ne nkisuula wansi, omusingi gwakyo ne gusigala nga gweyerudde mu bbanga. Kirigwa, nammwe ne kibazikiriza mwenna. Olwo buli muntu alimanya nga nze Mukama.
15
Bwe ntyo bwe ndimalira obusungu bwange ku kisenge ekyo, ne ku abo abaakisiiga langi, era ndibagamba mmwe nti: ‘Ekisenge tekikyaliwo era n'abo abaakisiiga langi,
16
be balanzi ba Yisirayeli abaalanga ebifa ku Yerusaalemu, nga bwe bafunye okulabikirwa nti kinaaba mirembe nga sso tewali mirembe.’ Mukama Afugabyonna bw'atyo bw'agamba.”
17
“Kale, ggwe omuntu, kyukira abakazi abo ab'omu bantu bo, abeeyiiyiza bye balanga, olange ng'obavumirira.
18
Ogambe nti: ‘Mukama Afugabyonna agamba nti: Zibasanze mmwe abakazi abatungira buli muntu ensiriba ez'okwesiba ku mikono, era abakolera abantu aba buli ngeri ebiwero eby'amalogo okwetimba ku mitwe, basobole okufuga obulamu bw'abalala. Mwagala okuba n'obuyinza okukola kye mwagala ku bulamu bw'abantu bange, mmwe mwewonye okufa?
19
Mummalamu ekitiibwa mu maaso g'abantu, nga munoonya okwefunira embatu za bbaale n'ebitundu by'emigaati, nga mutta abantu abatagwanira kufa, ne muwonya abo abatagwanira kuba balamu, ne mulimba abantu bange abawuliriza eby'obulimba.’ ”
20
Kale nno Mukama Afugabyonna agamba nti: “Ndi mulabe wa nsiriba ezo ze mukozesa okutawaanya obulamu bw'abantu, era n'okutta, era ndizisika ne nziggya ku mikono gyammwe, ne nta abo be mubadde mutigomya.
21
N'ebiwero byammwe ebyo eby'amalogo ndibiyuza, ne nzigya abantu bange mu mikono gyammwe, ne bawona okuyiggibwa. Olwo mulimanya nga Nze Mukama.
22
Kubanga mu bulimba bwammwe, munakuwaza abantu abalungi, nze be saagadde kunakuwaza, ne munyweza ababi baleme kukyuka okuva mu bibi byabwe, bawonye obulamu bwabwe.
23
Kale kaakano okulabikirwa kwammwe okutaliiwo, n'okulanga kwammwe okw'okubuzaabuza, biweddewo. Nja kuwonya abantu bange mbaggye mu buyinza bwammwe, mulyoke mumanye nga Nze Mukama.”
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48