bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ezekiel 27
Ezekiel 27
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 28 →
1
Awo Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti:
2
“Ggwe omuntu, kungubagira Ekibuga Tiiro,
3
okigambe nti: Ggwe Tiiro, omwalo gw'ennyanja, era asuubulagana n'abantu ab'oku bizinga ebingi, Mukama Afugabyonna akugamba nti: ‘Ggwe Tiiro, ogamba nti oli mulungi, toliiko bbala.
4
Wateekebwa mu nnyanja wakati, abazimbi bo ne bakuyooyoota.
5
Embaawo zonna ze baakozesa, baaziggya mu miberosi gy'e Seniri. Mu muvule gw'e Lebanooni, mwe baakukolera omulongooti.
6
Mu myera gye Basani mwe baakola enkasi zo. Baakwaliiramu embaawo ez'enzo, eziva mu bizinga by'e Kittimu, ze bawaayiddemu amasanga.
7
Amatanga go baagakola mu lugoye olweru okuli emidalizo egyava e Misiri. Ago ye bbendera yo. Wabikkibwako engoye ennungi eza bbululu n'eza kakobe, ezaava ku bizinga bya Elisa.
8
Abatuuze b'e Sidoni ne Aruvadi be baali abavuzi b'amaato go. Abakungu abaali mu ggwe, Tiiro, be baakuvugiranga emmeeri.
9
Abantu abakulu mu Gebali n'abagezi baayo, baali mu ggwe, nga be baddaabiriza emmeeri zo. Emmeeri zonna ez'oku nnyanja n'abalunnyanja baazo, baabeeranga mu ggwe okusuubula ebyamaguzi byo.
10
“ ‘Abaserikale Abaperusi, n'Abaluudi, n'Abapuuti, baali mu ggye lyo. Baawanikanga mu ggwe engabo n'enkuufiira ez'ebyuma, ne bakufunyisa ettutumu.
11
Abaserikale b'e Aruvadi awamu n'eggye lyo, be baakuumanga ebigo byo. N'abasajja b'e Gamadi, be baabanga mu minaala gyo. Baatimbanga engabo zaabwe ku bisenge byo ne bakulungiya.
12
“ ‘Ab'e Tarusiisi baasuubulagananga naawe ebyamaguzi byo ebya buli ngeri, ne bakusasulamu ffeeza n'ekyuma, n'amabaati, n'amasasi.
13
Ab'e Yavani, Tubali ne Meseki, baasuubulagananga naawe. Baawangayo abaddu n'ekikomo, ne bakugulako ebintu.
14
Ab'e Togaruma baagulanga eby'obusuubuzi bwo, nga bakuwa embalaasi ezaabulijjo, n'ezo ezikozesebwa mu ntalo, era n'ennyumbu.
15
Abantu b'e Dedani be wasuubulagananga nabo; era ebizinga bingi wabirinamu akatale. Baakuleeteranga ebintu okuwaanyisaamu amasanga, n'embaawo z'emitoogo.
16
Abassiriya baasuubulagananga naawe olw'ebintu ebingi bye wakolanga, bye baakuwangamu amayinja ag'omuwendo, aga kiragala, n'engoye eza kakobe, n'emidalizo, n'engoye enjeru ennungi, n'amayinja amalungi aga korali, n'amamyufu amatwakaavu.
17
Buyudaaya n'ensi ya Yisirayeli zaasuubulagananga naawe. Baawangayo eŋŋaano eyavanga e Minniti, n'ebyakawoowo, n'omubisi gw'enjuki, n'omuzigo, n'envumbo okukugulako ebintu.
18
Ab'e Damasiko baakugulangako ebintu bye wakolanga mu bungi, n'ebyobugagga bye walina ebingi ebya buli ngeri. Baabikusasulangamu omwenge gw'emizabbibu ogw'e Helubooni, n'ebyoya by'endiga ebyeru.
19
Daani ne Yavani beetawulanga, ne bagula ebintu byo. Ekyuma ekimasamasa, ebyamaguzi ebiyitibwa Kassiya ne Keeni, bye bimu ku byali mu by'otunda.
20
Ab'e Dedani, baasuubulagananga naawe mu ngoye ezikolwamu amatandiiko, ag'okuteeka ku mbalaasi ezeebagalwa.
21
Wakolagananga n'Abawarabu era n'abakungu bonna ab'e Kedari, mu busuubuzi bw'endiga ento, ne sseddume z'endiga n'ez'embuzi.
22
Abasuubuzi b'e Seeba ne Raama, baaleetanga ebyakawoowo ebisinga obulungi, n'amayinja gonna ag'omuwendo, ne zaabu, okugula ebintu byo.
23
Wasuubulagananga n'ebibuga Harani, ne Kanne, ne Edeni, n'abasuubuzi b'e Seeba n'e Assuri, n'e Kilumaadi.
24
Wasuubulagananga nabo mu bintu ebirungi, engoye eza kakobe, ebyambalo ebiriko emidalizo, n'ebiwempe ebya langi ezinekaaneka, n'emiguwa emirange obulungi.
25
Eby'obusuubuzi byo byatwalirwanga mu maato amanene, ag'e Tarusiisi. Wajjula ng'emmeeri, n'oba waakitiibwa mu nnyanja.
26
Abavuzi b'enkasi zo baakutuusa mu mazzi amangi. Omuyaga gw'ebuvanjuba gukumenyedde mu buziba bw'ennyanja.
27
Obugagga bwo, n'ebyamaguzi byo, abalunnyanja bo bonna, n'abagoba bo n'abakozi, n'abatambuza ebyamaguzi byo, n'abaserikale bo bonna abali mu ggwe, n'abantu abalala bonna abali mu ggwe, baligwa mu buziba bw'ennyanja, ku lunaku lw'olizikirira.
28
Okuleekaana kw'abagoba bo, kulikankanya ebyalo ebiriraanyeewo.’
29
“Abakwata enkasi bonna, na buli mulunnyanja, emmeeri zaabwe balizaabulira, ne bayimirira ku lubalama.
30
Balireekaana nga bakungubaga ku lulwo. Balyeyiira enfuufu mu mitwe gyabwe, ne beekulukuunya mu vvu.
31
Ku lulwo balyemwako enviiri, ne bambala ebikutiya. Balikukaabira amaziga, emitima gyabwe ne gijjula ennyiike.
32
Balikuba ebiwoobe mu kukungubaga, ne bakaaba ne basindogoma nti ani yenkana Tiiro, Tiiro oyo asirikkidde mu nnyanja!
33
Ebintu byo bwe byagobanga ku lukalu nga biggyiddwa mu nnyanja, wamalangawo obwetaavu bw'abangi, n'ogaggawaza bakabaka b'ensi, olwa nnamunkukumbo w'obugagga bwo, n'ow'eby'obusuubuzi bwo.
34
Naye kaakano omenyekedde mu nnyanja, mu bwengula bw'amazzi amangi. Ebibyo n'abakozi bo bonna batokomokedde mu ggwe, mu nnyanja.
35
Bonna abatuuze b'oku bizinga bakubiddwa encukwe ku lulwo, ne bakabaka baabwe batidde nnyo, era bonna batintima.
36
Abasuubuzi b'omu mawanga bennyamivu ku lulwo. Obafuukidde kya ntiisa, kubanga tokyaddayo kubaawo nate!”
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 28 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48