bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ezekiel 21
Ezekiel 21
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 22 →
1
Awo Mukama n'ayogera nange, n'agamba nti:
2
“Ggwe omuntu, tunula e Yerusaalemu, olaamirize ebirituuka ku bifo bye basinzizaamu, era olange ng'olabula ensi ya Yisirayeli,
3
ogigambe nti Mukama agamba nti: ‘Nfuuse mulabe wo, era ndisowola ekitala kyange mu kiraato kyakyo, ne nkumaliramu ddala abantu abalungi n'ababi.
4
Olw'okumalirawo ddala mu ggwe abalungi n'ababi, ndisowolayo ekitala kyange mu kiraato kyakyo, ne nnwanyisa abantu bonna okuva ebukiikaddyo okutuuka ebukiikakkono.
5
Abantu bonna balimanya nga Nze Mukama, nsowodde ekitala kyange mu kiraato kyakyo, era sijja kukizzaamu.’
6
“Kale ggwe omuntu, sinda ng'omuntu alina obuyinike obungi mu mutima, sinda nga bonna balaba.
7
Bwe banaakubuuza nti: ‘Lwaki osinda?’ Obagambe, nti: ‘Nsinda olw'amawulire ge mpulidde, ag'ebyo ebijja. Bwe binaatuuka, buli muntu ajja kwewanika omutima, ayongobere emikono, aggweemu amaanyi, era amaviivi ge gakubagane. Ebyo bijja kubaawo, ddala bijja kutuukirira.’ ” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba.
8
Awo Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti:
9
“Ggwe omuntu, langa ogambe nti: Mukama agamba nti: ‘Gamba nti: Ekitala! Ekitala kiwagaddwa era kiziguddwa!
10
Kiwagaddwa kitte, kiziguddwa kimyanse ng'enjota. Kale olwo tunaasanyuka? Abantu bange banyoomye buli kibonerezo n'okulabulwa.
11
Ekitala kiziguddwa kitegekebwe okukozesebwa. Ddala kiwagaddwa ne kizigulwa kiryoke kikwasibwe anaakikozesa okutta.’
12
Kaaba owowoggane, ggwe omuntu, kubanga ekitala kino kijjiridde bantu bange n'abakungu bonna aba Yisirayeli. Baweereddwayo okuttibwa, wamu n'abantu bange abalala bonna. Kale weekubeekube ku bisambi nga weesansabaga.
13
Abantu bange nja kusooka kubageza. Singa banyooma okulabulwa, ebyo byonna bijja kubaawo.” Mukama Afugabyonna bw'atyo bw'agamba.
14
“Kale kaakano, ggwe omuntu, langa, okube mu ngalo, ekitala kiteme ab'okutta, kiteme ogwokubiri n'ogwokusatu. Kye kitala ekitta, ekitala eky'entiisa ekizikiriza.
15
Ntadde omumwa gwakyo ku miryango gy'abantu bange gyonna, ne kibaleetera okweraliikirira n'okwesittala ne bagwa. Kimyansa ng'enjota, kifuuliddwa kisongovu kitte.
16
Weekaaliise, oteme ku ludda olwa ddyo, tala oteme ku ludda olwa kkono, yonna yonna amaaso go gye goolekera.
17
Nze nja kukuba mu ngalo, nneemale ekiruyi. Nze Mukama, Nze nkyogedde.”
18
Mukama era n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti:
19
“Kale ggwe omuntu, weeteerewo amakubo abiri, kabaka wa Babilooniya mw'ayinza okuyita ng'akutte ekitala kye, gombi gabe nga gatandikira mu nsi emu, olambe ekifo amakubo ago we geegattira.
20
Olage ekkubo kabaka mw'anaayisa ekitala okutuuka mu Kibuga Rabba eky'Abammoni, n'ekkubo mw'anaayita okutuuka mu Buyudaaya mu Kibuga Yerusaalemu ekiriko ebigo ebigumu.
21
Kubanga kabaka wa Babilooniya ayimiridde mu masaŋŋanzira amakubo gombi we gagattira okusobola okuzuula ekkubo ly'anaakwata, azunzazunza obusaale, ne yeebuuza ku balubaale be ab'omu maka, n'akebera ekibumba ky'ensolo etambiddwa.
22
Mu mukono gwe ogwa ddyo mulimu akasaale akalambiddwako ‘Yerusaalemu’. Kamulagula okusimba ebitomera, okulagira okutta, okukangula amaloboozi baleekaane, okusimba ebitomera enzigi z'emiryango gyakyo, okutuuma entuumu ez'okukiwalampirako, n'okukizimbako ekigo okukitaayiza.
23
Ab'omu Yerusaalemu bino bajja kubiyita bulanzi obutaliimu makulu, olw'obweyamo obwabakolerwa. Naye obulanzi buno buzze okubajjukiza ebibi byabwe bye baakola, n'okubalabula nga bajja kukwatibwa.
24
Kale kino, Nze Mukama Katonda kye ŋŋamba, nti ebibi byammwe bibikkuddwa. Buli omu amanyi bwe muli aboonoonyi. Ebibi byammwe mubiragidde mu bikolwa byammwe byonna. Kale nga bwe mubinzijukiza buli kaseera, nja kubawaayo mukwatibwe abalabe bammwe.
25
“Naawe ggwe omubi, omufuzi wa Yisirayeli, olunaku lwo olw'okusalirwako omusango ogw'enkomerero, lutuuse.
26
Nze Mukama Afugabyonna ŋŋamba nti ggyako engule n'ekitambaala ku mutwe gwo, kubanga ebintu tebirisigala nga bwe biri. Abagayibwa be balikuzibwa, abeekitiibwa bazzibwe wansi.
27
Ekibuga ekyo ndikizikiriza ne kiggwaawo, era tekiriddawo okutuusa nnyini kyo lw'alijja ne nkimuwa.
28
“Ggwe omuntu, langa oyogere Nze Mukama Afugabyonna kye ŋŋamba Abammoni abavuma Abayisirayeli. Bagambe nti: ‘Ekitala kisowoddwa okutta, kiziguddwa okuzikiriza, era kimyansa ng'enjota.
29
Okulabikirwa kwe mufuna si kwa mazima, ne bye babalagula bya bulimba. Muli babi era boonoonefu, era olunaku olw'enkomerero, olw'okuweerwako ekibonerezo kyammwe, lutuuse. Ekitala kijja kusala obulago bwammwe.
30
“ ‘Muzze ekitala mu kiraato kyakyo. Mu kifo mwe mwatonderwa, mu nsi mwe mwasibuka, mwe ndibasalira omusango.
31
Era ndibayiirako ddala obusungu bwange, bubookye ng'olunyata lw'omuliro. Era ndibawaayo mu mikono gy'abantu abakambwe ng'ensolo, abamanyirivu mu kuzikiriza.
32
Mulisaanyizibwawo omuliro. Omusaayi gwammwe guliyiibwa mu nsi yammwe, ne mutaddamu kujjukirwa.’ Nze Mukama, Nze njogedde.”
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48