bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ezekiel 40
Ezekiel 40
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 39
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 41 →
1
Lwali lunaku olw'ekkumi, ng'omwaka kye gujje gutandike, gwe mwaka ogw'amakumi abiri mu etaano nga tuli mu buwaŋŋanguse, era nga gwe mwaka ogw'ekkumi n'ena bukya Yerusaalemu kiwangulwa. Ku lunaku olwo lwennyini, amaanyi ga Mukama ne gankwatako ne gantwala.
2
Mu kulabikirwa, Katonda n'antwala mu nsi ya Yisirayeli, n'anteeka ku lusozi oluwanvu ennyo, okwali mu bukiikaddyo ekifaanana ng'ekibuga.
3
N'antwalayo, ne ndaba omusajja ng'amasamasa ng'ekikomo. Yali akutte mu mukono gwe omuguwa ogw'obugoogwa, n'olumuli olupima, era ng'ayimiridde mu mulyango.
4
Omusajja oyo n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, tunula weetegereze bye ŋŋenda okukulaga, era bitegere amatu, obisseeko omwoyo, kubanga oleeteddwa wano, ndyoke mbikulage. Byonna by'onoolaba, obibuuliranga ab'Eggwanga lya Yisirayeli.”
5
Awo ne ndaba ekisenge eky'ebweru ekyetooloola Essinzizo lya Mukama. Omusajja yali akutte olumuli olupima, olwali olwa mita essatu obuwanvu. Awo n'apima ekisenge. Obugulumivu bwakyo bwali mita ssatu, n'obugazi bw'omubiri gwakyo, nabwo nga bwa mita ssatu.
6
Awo n'ajja ku mulyango ogutunuulira ebuvanjuba, n'alinnya amadaala gaagwo, n'apima omulyango ogwo we guyingirirwa. Obugazi bwawo bwali mita ssatu.
7
Okweyongerayo, waaliwo olukuubo oluwanvu olwaliko obusenge ebbali n'ebbali obubeeramu abakuumi, obusenge busatu ku buli ludda, nga buli kamu ka mita ssatu obuwanvu, ne mita ssatu obugazi. Ekisenge ekyawula obusenge obwo, kyali kya mubiri gwa mita bbiri n'ekitundu. Okuyisa obusenge obwo, waaliwo olukuubo lwa mita ssatu obuwanvu, olugenda ku kasenge k'ovaamu okuyingira mu luggya olwomunda.
8
N'apima olukuubo olwo, nga lwa mita ssatu.
9
N'alyoka apima akasenge k'ovaamu okuyingira mu luggya olwomunda, akasembayo mu lukuubo olwo nga ke kaliraanye Essinzizo.
10
Obusenge obwo obw'abakuumi obusatu ku buli ludda olw'olukuubo, bwali bwenkanankana, era n'ebisenge wakati waabwo, byalina omubiri ogwenkanankana.
11
Omusajja era n'apima n'awayingirirwa mu mulyango. Obugazi bwawo bwali mita ttaano, n'obuwanvu bwawo mita mukaaga n'ekitundu.
12
Mu maaso g'obusenge bw'abakuumi obwali ku buli ludda, waaliwo ebbanga lya kimu kyakubiri ekya mita ku buli ludda. Ate bwo obusenge obwa buli ludda, bwali bwa mita ssatu ku njuyi zaabwo zonna.
13
Awo n'apima obugazi bw'olukuubo lwonna, okuva ku kisenge eky'emabega eky'akasenge akamu, n'eky'emabega eky'akasenge akalala nga bwe butunuuliganye, obugazi obwo ne buba mita kkumi na bbiri n'ekitundu.
14
Akasenge akasemberayo ddala nga k'ovaamu okuyingira mu luggya, yakapima nga ka mita kkumi obugazi.
15
Obuwanvu bwonna obw'olukuubo, okuva ku mulyango awayingirirwa okutuuka ku kasenge akasembayo k'ovaamu okuyingira mu luggya olwomunda, bwali mita amakumi abiri mu ttaano.
16
Obusenge obwo ku buli ludda olw'olukuubo, bwalina amadirisa okwetooloola. Amadirisa ago gaali mafunda munda, awatunula emyango gyago mu bisenge ebyomunda, era ku buli mwango, kwali kwoleddwako ebifaananyi by'enkindu.
17
Omusajja n'antwala mu luggya olw'ebweru. Lwali lwetooloddwa omwaliiro ogw'amayinja, n'obusenge amakumi asatu, obutunudde ku mwaliiro ogwo,
18
ogwali gwetoolodde oluggya. Oluggya luno olw'ebweru, lwali wansinsiko okusinga oluggya olwomunda.
19
N'apima obugazi okuva ku mulyango ogwawansi, okutuuka ku luggya olwomunda, bwe buvanjuba n'obukiikaddyo, mita amakumi ataano.
20
N'apima obuwanvu n'obugazi bw'omulyango ogw'oluggya olw'ebweru ogw'omu bukiikakkono.
21
Obusenge obusatu ku buli ludda olw'olukuubo, n'ebisenge wakati waabwo, n'obusenge bw'ovaamu okuyingira mu luggya, byonna awamu byalina ebipimo ebyenkanankana n'eby'omu lukuubo olw'omulyango ogw'omu buvanjuba. Obuwanvu bwali mita amakumi abiri mu ttaano, n'obugazi mita kkumi na bbiri n'ekitundu.
22
Amadirisa g'olukuubo lwagwo, n'obusenge bwagwo bw'ovaamu okuyingira mu luggya, n'enkindu ezooleddwako, byali kyekimu n'eby'omulyango ogw'omu buvanjuba. Baalinnyanga amadaala musanvu okugutuukako, n'obusenge bwagwo bw'ovaamu okuyingira mu luggya, bwali ku nkomerero yaagwo awatunudde mu luggya.
23
Omulyango guno ogw'omu bukiikakkono, okufaananako n'ogwo ogw'omu buvanjuba, gwali gutunudde mu mulyango omulala oguyingira mu luggya. Omusajja n'apima ebbanga eriri wakati w'emiryango egyo, ne liba mita amakumi ataano.
24
Awo omusajja n'antwala mu bukiikaddyo, nayo ne tusangayo omulyango. N'agupima, nga gwenkanankana na giri ebiri.
25
Mwalimu amadirisa mu busenge bw'olukuubo lwagwo, nga bwe gaali mu nkuubo ziri endala. Obuwanvu bw'olukuubo, bwali mita amakumi abiri mu ttaano, n'obugazi mita kkumi na bbiri n'ekitundu.
26
Waaliwo amadaala musanvu okugutuukako. Obusenge bwagwo bw'ovaamu okuyingira mu luggya, bwali ku nkomerero yaagwo awatunuulidde oluggya. Waaliwo enkindu ezooleddwa ku bisenge by'olukuubo ebyomunda.
27
Era oluggya olwomunda, lwalina omulyango ogutunudde mu bukiikaddyo. Omusajja n'apima okuva ku mulyango ogw'ebweru okutuuka ku mulyango ogwo ogwomunda, ku ludda olwo olw'omu bukiikaddyo, mita amakumi ataano.
28
Awo omusajja n'antwala mu luggya olwomunda, ng'ampisa mu mulyango ogw'omu bukiikaddyo. N'apima omulyango ogwo ne guba nga gwenkanankana n'emiryango egy'omu kisenge eky'ebweru.
29
Obusenge bw'abakuumi, n'ebisenge wakati waabwo, n'obusenge bw'ovaamu okuyingira mu luggya, byali byenkanankana n'eby'emiryango emirala era obusenge bwonna bwaliko amadirisa wonna okwetooloola.
30
Obuwanvu bwali mita amakumi abiri mu ttaano, n'obugazi mita kkumi na bbiri n'ekitundu.
31
Obusenge bw'omulyango ogwo bw'ovaamu okuyingira mu luggya, bwali bwolekedde oluggya olw'ebweru, n'enkindu zaali zooleddwa ku bisenge ebyomunda eby'olukuubo lwagwo. Waaliwo amadaala munaana okugutuukako.
32
Omusajja n'antwala mu luggya olwomunda, ng'ampisa mu mulyango ogw'omu buvanjuba. N'apima omulyango ogwo, ne guba nga kyekimu n'emirala.
33
Obusenge bwagwo obw'abakuumi, n'ebisenge wakati waabwo, n'obusenge bw'ovaamu okuyingira mu luggya, byali ng'eby'emiryango emirala. Era gwaliko amadirisa enjuyi zonna, era ne ku busenge bw'ovaamu okuyingira mu luggya. Obuwanvu bwonna bwali mita amakumi abiri mu ttaano, n'obugazi mita kkumi na bbiri n'ekitundu.
34
Obusenge bwagwo bw'ovaamu okuyingira mu luggya olwomunda, bwali butunudde mu luggya olw'ebweru. Enkindu zaali zooleddwa ku bisenge by'olukuubo lwagwo ebyomunda, era waaliwo amadaala munaana okugutuukako.
35
Omusajja n'antwala ku mulyango ogw'omu bukiikakkono. N'agupima, ne guba nga gwenkanankana n'emirala.
36
Nagwo gwalina obusenge obw'abakuumi, obusenge bw'ovaako okuyingira mu luggya, ebisenge ebyoleddwako enkindu, n'amadirisa ku njuyi zonna, n'obuwanvu bwagwo bwali mita amakumi abiri mu ttaano, n'obugazi mita kkumi na bbiri n'ekitundu.
37
Obusenge bwagwo bw'ovaamu okuyingira mu luggya olwomunda, bwali bwolekedde oluggya olw'ebweru. Enkindu zaali zooleddwa ku bisenge by'olukuubo lwagwo ebyomunda, era waaliwo amadaala munaana okugutuukako.
38
Waaliwo ennyumba enkookere ku mulyango ogwomunda ogw'omu bukiikakkono, ng'oluggi lwayo luggulira mu busenge bw'ovaamu okuyingira mu luggya. Mu nnyumba eyo, mwe baanaalizanga ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba.
39
Mu busenge obwo, bw'ovaamu okuyingira mu luggya, mwalimu emmeeza bbiri ku ludda olumu, n'endala bbiri ku ludda olulala, ez'okuttirangako ensolo ez'ekitambiro ekyokebwa nga kiramba, n'ekitambiro ekiweebwayo olw'ebibi, n'ekitambiro ekiweebwayo ng'omutango olw'omusango.
40
Ate ebweru awambukirwa ku mulyango ogw'omu bukiikakkono, waaliwo emmeeza bbiri ku ludda olumu n'endala bbiri ku ludda olulala.
41
Zonna awamu zaali emmeeza munaana, kwe battiranga ensolo ez'ebitambiro: emmeeza nnya ku ludda olumu, n'emmeeza nnya ku ludda olulala, okuliraana omulyango.
42
Waaliwo n'emmeeza endala nnya, ez'okuteekangako ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba, ez'amayinja amateme, nga za sentimita nsanvu mu ttaano obuwanvu n'obugazi, ne sentimita amakumi ataano obugulumivu. Ku mmeeza ezo, kwe baateekanga ebikozesebwa byonna mu kutta ensolo ez'ebitambiro.
43
Amalobo ag'obuwanvu obwenkana oluta olumu, gaali gasibiddwa munda okwetooloola ebisenge, mu busenge bw'ovaamu okuyingira mu luggya. Ku mmeeza nga kwe kuteekebwa ennyama ey'ekiweebwayo.
44
N'anzigya ebweru n'annyingiza mu luggya olwomunda. Mu luggya olwo olwomunda, waaliwo ennyumba z'abayimbi, ku mabbali g'omulyango ogw'omu bukiikakkono, nga zitunuulidde ebukiikaddyo. Era waaliwo ennyumba emu ku mabbali g'omulyango ogw'omu buvanjuba, ng'etunuulidde ebukiikakkono.
45
Omusajja n'aŋŋamba nti: “Ennyumba eno etunuulidde obukiikaddyo, ya bakabona abakola emirimu egy'omu Ssinzizo.
46
N'ennyumba etunuulidde obukiikakkono, ya bakabona abakola emirimu ku alutaari. Abo be basibuka mu Zaddooki, bokka ku b'omu Kika kya Leevi abakkirizibwa okusemberera Mukama okumuweereza.”
47
Awo omusajja n'apima oluggya olwomunda ne luba nga lwenkana obuwanvu n'obugazi, mita amakumi ataano. Alutaari yali mu maaso g'Essinzizo.
48
Awo n'antwala mu kasenge k'ovaamu okuyingira mu Ssinzizo. N'apima omwango gw'omulyango gw'akasenge ako, ne guba mita bbiri n'ekitundu obuwanvu oludda olumu, ne mita bbiri n'ekitundu oludda olulala, n'obugazi mita emu n'ekitundu oludda olumu ne mita emu n'ekitundu oludda olulala.
49
Obuwanvu bw'akasenge ako k'ovaamu okuyingira mu Ssinzizo, bwali mita kkumi, n'obugazi bwako, mita ttaano n'ekitundu. Waaliwo amadaala agalinnyibwako okutuuka ku mulyango ogwo, n'empagi bbiri okuliraana emyango, empagi emu ku buli ludda.
← Chapter 39
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 41 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48