bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ezekiel 32
Ezekiel 32
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 33 →
1
Awo olwatuuka, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'ekkumi n'ebiri, mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri nga tuli mu buwaŋŋanguse, Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti:
2
“Ggwe omuntu, tandika okukungubagira kabaka wa Misiri, omugambe nti: ‘Weeyisa ng'empologoma envubuka mu mawanga naye oli ggoonya ali mu nnyanja. Otabangula amazzi n'ebigere byo, n'osiikuula emigga.’ ”
3
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Ab'amawanga amangi bwe balikuŋŋaana, ndikutega ne nkukwasa mu katimba kange. Balikusikayo ne bakuleeta ku lukalu.
4
Ndikusuula ettale ne nkuleka awo ne ndeeta ebinyonyi n'ebisolo eby'oku nsi bikweriire.
5
Ku nsozi, kwe nditeeka ennyama yo, ebiwonvu mbijjuze amagumba go.
6
Ndiyiwa omusaayi gwo mu nsi gwanjaale ku nsozi, era gujjuze emigga.
7
Bwe ndiba nkusaanyaawo, ndibikka ekifu ku ggulu, ne nziyiza emmunyeenye okwaka. Enjuba ndigibikkako ekire, n'omwezi ne gutaleeta kitangaala. Kub 6:12-13; 8:12
8
Ebyaka byonna eby'oku ggulu ebyakira waggulu wo, ndibizikiriza, ensi yo ngireke mu kizikiza.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba.
9
“Ndyeraliikiriza amawanga mangi, bwe ndituusa amawulire ag'okuzikirizibwa kwo mu nsi z'otowuliranganako.
10
Kye nkutuusizzaako, kirisamaaliriza amawanga mangi, ne bakabaka baago balikankana olw'okutya, bwe ndigalula ekitala kyange mu maaso gaabwe. Ku lunaku lw'oligwirako, abantu bonna balikankana, olw'okutiiririra obulamu bwabwe.”
11
Mukama Afugabyonna, agamba kabaka wa Misiri nti: “Ekitala kya Kabaka wa Babilooniya kirikutuukako ggwe.
12
Ndireka abaserikale ab'amaanyi ab'omu mawanga agasingayo obukambwe, ne batta abantu bo bonna. Abantu bo n'ebintu byo ebikweyagaza, balibizikiriza byonna.
13
Ndizikiriza ensolo zo zonna buli awali amazzi amangi. Tewaliba kigere kya bantu wadde ebinuulo by'ensolo ebiriddamu okugatabangula.
14
Ndireka amazzi gaabwe ne gateeka emigga gyabwe ne gikulukutiramu amazzi amayonjo. Nze Mukama Afugabyonna, njogedde.
15
Bwe ndifuula Misiri amatongo agazise, ne nzikiriza bonna abagirimu, olwo balimanya nga Nze Mukama.
16
Luno lwe luyimba lwe baliyimba okukungubaga. Abakazi mu mawanga banaaluyimbanga okukungubagira Misiri, n'abantu baayo bonna. Nze Mukama Afugabyonna, njogedde.”
17
Ku lunaku lw'omwezi olw'ekkumi n'ettaano, mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri nga tuli mu buwaŋŋanguse, Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti:
18
“Ggwe omuntu, kungubagira nnamungi w'abantu b'e Misiri n'ab'ensi endala ez'amaanyi, obasuule emagombe wamu n'abo abakka mu bunnya.
19
Obagambe nti: ‘Ani gwe musinga mmwe obulungi mu ndabika? Muserengete muteekebwe wamu n'abatali bakomole.’
20
Abantu b'e Misiri balifiira wamu n'abo abattirwa mu ntalo, abantu baayo abangi basanjagibwe n'ekitala.
21
Abazira ennyo ab'amaanyi n'abaalwanira ku ludda lwa Misiri, balyaniriza Abamisiri emagombe nga bagamba nti: ‘Abatali bakomole abattirwa mu lutalo, baabano baserengese, basirise, bagalamidde wano.’
22
Assiriya ali eyo n'abafu be bonna. Amalaalo gaabwe gamwetoolodde. Bonna battibwa, baafiira mu lutalo.
23
Amalaalo gaabwe gateekeddwa awakomererayo ku ntobo y'emagombe. Abaserikale be baziikiddwa okwetooloola amalaalo ge. Bonna bafudde, battiddwa mu lutalo. Bwe baali bakyali balamu baaleetanga entiisa ku nsi.
24
“Elamu ali eyo n'abaserikale be bonna, okwetooloola amalaalo ge. Bonna baafa nga battiddwa mu lutalo. Bakkirira emagombe nga si bakomole. Bwe baali bakyali balamu, baaleetanga entiisa ku nsi, naye kaakano bali mu nsonyi wamu n'abo abakkiridde mu bunnya.
25
Elamu bamwalidde ekitanda wakati mu abo abattiddwa; ali wamu n'ababe bonna ng'amalaalo gaabwe gamwetoolodde. Bonna battiddwa mu lutalo nga si bakomole. Bwe baali bakyali balamu, baaleetanga entiisa ku nsi, naye kaakano bali mu nsonyi wamu n'abo abakkiridde mu bunnya. Ateekeddwa wakati mu abo abattiddwa.
26
“Ensi Meseki ne Tubali ziri eyo, nga zeetooloddwa amalaalo g'abaserikale baazo. Bonna abo abatali bakomole battiddwa mu lutalo, naye bwe baali bakyali balamu baaleetanga entiisa ku nsi.
27
Tebaaziikibwa wamu na bazira abaafa nga si bakomole, abakkirira emagombe nga balina ebyokulwanyisa byabwe, era ng'ebitala byabwe biteekeddwa emitwetwe waabwe, n'engabo zaabwe nga ziteekeddwa ku magumba gaabwe. Abazira abo baali ba maanyi, nga batiisa abantu ku nsi
28
“Kale naawe Misiri olibetenterwa wamu n'abatali bakomole abattirwa mu lutalo.
29
“Edomu ali eyo ne bakabaka be n'abakungu be. Baali batabaazi ba maanyi, naye kaakano bali magombe wamu n'abatali bakomole abattirwa mu lutalo.
30
“Abakungu b'omu bukiikakkono bonna bali eyo, n'Abasidoni bonna. Baserengeseeyo n'abo abattiddwa. Newaakubadde baatiisanga abantu olw'amaanyi gaabwe, kaakano bali mu nsonyi era bafudde nga si bakomole. Bali wamu n'abo abattibwa mu ntalo. Bali mu nsonyi wamu n'abo abakka mu bunnya.
31
“Kabaka wa Misiri bw'alibalaba, alyerabira ennaku y'abantu be abaafa.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba.
32
“Nateekawo kabaka wa Misiri okutiisa abantu ku nsi. Kyokka ye n'abaserikale be bonna, balittibwa ne bagalamizibwa wamu ne bonna abatali bakomole, abattibwa mu lutalo.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba.
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 33 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48