bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ezekiel 23
Ezekiel 23
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 24 →
1
Mukama era n'ayogera nange, n'agamba nti:
2
“Ggwe omuntu, waaliwo abakazi babiri abazaalibwa nnyaabwe omu.
3
Bwe baali bakyali bato nga bali e Misiri, ne bakola obwamalaaya, ne bakoma okuba embeerera.
4
Amannya gaabwe, omukulu yali ayitibwa Ohola, ne muto we ng'ayitibwa Oholiba. Bombi nabawasa, ne banzaalira abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. Ng'amannya gaabwe bwe gali, Ohola ye Samariya, Oholiba ye Yerusaalemu.
5
Newaakubadde Ohola yali mukazi wange, yakola obwamalaaya, ne yeerigomba ne baganzi be Abassiriya baliraanwa be.
6
Baali batabaazi abambala ebya kakobe, abakungu era ab'amadaala agaawaggulu mu magye, bonna abavubuka abalabika obulungi, abeebagala embalaasi.
7
Bw'atyo n'akola obwamalaaya n'abasajja Abassiriya, bonna abasinga okwegombebwa. Okubasuusuuta ne kumuleetera okweyonoona ng'asinza ebifaananyi byonna ebya balubaale baabwe.
8
Teyalekayo bwamalaaya bwe, bwe yatandika ng'ali e Misiri, gye yeebakira n'abasajja ng'akyali muto, n'afiirwa obubeererevu bwe.
9
Kyennava mmuwaayo mu mikono gya baganzi be Abassiriya be yeerigombanga nabo.
10
Baamwambula ne bamuleka bwereere ne batwala batabani be ne bawala be, ye ne bamutta n'ekitala. Bwe yamala okusalirwa omusango okumusinga, n'afuuka emboozi y'abakazi nga bageya abakoze eby'obuwemu.
11
“Newaakubadde muganda we Oholiba ekyo yakiraba, kyokka Oholiba oyo, n'ayitiriza nnyo okukyama mu kwerigomba kwe, ne mu bwamalaaya bwe n'okusinga muganda we.
12
Naye yasuusuuta Abassiriya baliraanwa be, abakungu, n'abakulu mu magye, abaayambalanga engoye ezinekaaneka ennyo, abeebagala embalaasi, bonna abavubuka abalabika obulungi.
13
Ne ndaba ng'agwagwawadde. Bombi baakwata ekkubo limu.
14
“Oholiba ne yeeyongera mu bwamalaaya bwe, kubanga yalaba ebifaananyi by'abasajja Abakaludaaya abasiigiddwa mu langi emmyufu ku kisenge,
15
nga beesibye enkoba mu biwato, nga bagaziyizza ebitambaala byabwe ku mitwe, ng'ennyambala y'abakungu b'e Babilooni mu nsi y'Abakaludaaya mwe baazaalibwa, bw'eri.
16
Olwabalaba, n'abasuusuuta, n'abatumira ababaka mu Babilooniya.
17
Abababilooni ne bajja ne beebaka naye mu kitanda kye, ne bakola naye obwamalaaya. Bwe baamala okumwonoona, n'abatamwa.
18
Bwe yeeyongera okukola obwamalaaya mu lwatu, ne yeeyambulanga awatakyali nsonyi, ne mmutamwa nga bwe natamwa muganda we.
19
Ne yeeyongerera ddala okukola obwamalaaya, nga bwe yabukolanga nga muwala muto e Misiri.
20
N'asuusuuta baganzi be abalulunkanira okwebaka n'abakazi ng'endogoyi, n'embalaasi ennume bwe zirina omulugube gw'okulinnyira enkazi.
21
Bw'otyo Oholiba n'ottukiza obukaba bwo bwe walina e Misiri, abasajja baayo bwe baakutigaatiga amabeere go n'ofiirwa obubeererevu bwo.
22
“Kale ggwe Oholiba, kino Nze Mukama Afugabyonna, kye nkugamba: ndisitula ne ndeeta baganzi bo abo b'otamiddwa, ne bakulumba ku njuyi zonna.
23
Ndireeta Abababilooni n'Abakaludaaya bonna, abasajja abava e Pekodi, n'e Sowa, n'e Kowa, n'Abassiriya bonna. Ndikuŋŋaanya abavubuka abo bonna abalabika obulungi, abakungu n'abakulu mu magye abalangira n'abasajja ab'ettutumu bonna nga beebagadde embalaasi.
24
Balikulumba nga babagalidde ebyokulwanyisa nga bava mu bukiikakkono nga balina amagaali agasikibwa embalaasi n'amalala ge bawalulira ku zinnamuziga, n'eggye eddene erivudde mu mawanga. Balijja balina enkuufiira n'engatto ennene n'entono, eby'okwetaasa. Balikutaayiza ku buli ludda. Ndikuwaayo mu mikono gyabwe, ne bakusalira omusango nga bakolera ku mateeka gaabwe.
25
Okukulaga bwe nkusunguwalidde, ndibaleka ne bakumalirako ekiruyi kyabwe. Balikusalako ennyindo n'amatu, ne batta abaana bo. Ddala balitwala batabani bo ne bawala bo ne babookya omuliro.
26
Balikwambulamu ebyambalo byo, ne bakuggyako amajolobera go agakuwoomya.
27
Bwe ntyo bwe ndimalawo obukaba bwo, n'obwamalaaya bwo bwe wava nabwo e Misiri. Toliddamu kutunuulira bifaananyi bya balubaale b'e Misiri, wadde okuddamu okujjukira Misiri.”
28
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Ndikuwaayo mu mikono gy'abantu b'okyaye era b'otamiddwa.
29
Era nga bwe bakukyaye, balikuggyako ebibyo byonna bye wateganira, balikwambula ne bakuleka ng'oli bwereere, ng'ebikolwa byo eby'obwenzi n'eby'obwamalaaya byanikiddwa. Obukaba bwo n'obwenzi n'obwamalaaya bwo,
30
bwe bukutuusizza ku ebyo kubanga wayenda n'amawanga, ne weeyonoona ng'osinza ebifaananyi bya balubaale baago.
31
Wagoberera emize gya muganda wo, kyendiva nkuwa ekibonerezo ng'ekikye.”
32
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Olinywa ku kikopo kya muganda wo eky'okubonaabona, ekiwanvu era ekinene. Olisekererwa n'okudaalirwa. Ekikopo ekyo kijjuvu.
33
Kirikujjuza obutamiivu n'obuyinike. Ekikopo kya muganda wo Samariya, kye kikopo eky'ekikangabwa n'okwabulirwa.
34
Olikinywa kyonna n'okikaliza, n'ebibajjo byakyo ebyatise n'obyeyaguza amabeere. Nze Mukama Afugabyonna, Nze njogedde.”
35
Mukama Afugabyonna, agamba nti: “Nga bw'onneerabidde n'onkuba amabega, kale ojja kubonaabona olw'obukaba bwo n'obwamalaaya bwo.”
36
Mukama era n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, onoosala omusango gwa Ohola ne Oholiba? Kale bategeeze ebyenyinyalwa bye baakola.
37
Baayenda era ne batemula. Baayenda n'ebifaananyi bya balubaale. Baatemula batabani baabwe be banzaalira. Baabookya babe ebitambiro bye bagabula balubaale baabwe okulya.
38
Era bankoze na kino: ku lunaku lwe lumu bajaajaamizza Ekifo kyange Ekitukuvu, era boonoonye Sabbaato gye nateekawo.
39
“Bwe baamala okutta abaana baabwe ne babatambirira ebifaananyi bya balubaale, ne bajja ku lunaku olwo mu Kifo kyange Ekitukuvu ne bakijaajaamya!
40
“Emirundi n'emirundi baatuma ababaka okuyita abasajja abava ewala, ne bajja. Abakazi bombi abooluganda, ne banaaba ne beenyiriza, era ne beewoomya n'ebyobuyonjo
41
ne batuula ku kitanda ekyekitiibwa, emmeeza ng'etegekeddwa mu maaso gaakyo, kwe batadde obubaane n'omuzigo gw'emizayiti bye nabawa.
42
Eddoboozi ly'ekibinja ky'abantu abali mu ddembe lyabwe, ne liwulirwa, abasajja abakopi omuli n'abatamiivu, ne baleetebwa okuva mu ddungu. Ne bateeka obukomo ku mikono gy'abakazi abo bombi, n'engule ennungi ku mitwe gyabwe.
43
Ne ŋŋamba nti: ‘Abakaddiye banaayenda, ne bakola obwamalaaya n'abasajja ng'abo?’ Ne njogera ku oyo eyali akaddiyidde mu bwenzi nti: ‘Kaakano nabo banaakola naye obwamalaaya?’
44
Kyokka ne bagenda emirundi n'emirundi eri bamalaaya bano, Ohola ne Oholiba, abakazi abagwenyufu.
45
Abantu ab'empisa ennungi, be balibasalira ogw'obwenzi n'ogw'obutemu ne gibasinga, kubanga benzi era batemu.”
46
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Ndibasindikira ogubinja gw'abantu ne nguleka ne gubayuuguumya era ne gubanyagulula.
47
Kale ogubinja ogwo gulibakuba amayinja, ne gubafumita n'ebitala. Gulitta abaana baabwe abalenzi n'abawala, ne gwokya ennyumba zaabwe omuliro.
48
Bwe ntyo bwe ndikomya obugwenyufu mu nsi eno, okulabula abakazi bonna obutakolanga bya bwenzi nga mmwe.
49
Era mmwe abakazi ababiri, mulibonerezebwa olw'obukaba bwammwe, n'okusinza ebifaananyi bya balubaale. Kale olwo mulimanya nga Nze Mukama, Katonda.”
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48