bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ezekiel 44
Ezekiel 44
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 43
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 45 →
1
Awo omusajja n'anzizaayo mu kkubo eriyita mu mulyango gw'Essinzizo ogw'ebweru, ogutunudde ebuvanjuba. Gwali muggale.
2
Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Omulyango guno gunaabanga muggale.Teguliggulwawo, era tewaliba muntu n'omu aliguyitamu okuyingira, kubanga Nze Mukama, Katonda wa Yisirayeli, nguyiseemu okuyingira, kyegunaavanga gusigala nga muggale.
3
Omulangira ali mu buyinza, ye yekka, kubanga ye kabaka, anaatuulanga mu lukuubo lwagwo, okuliiramu ekijjulo mu maaso gange Nze Mukama. Wabula anaayingiranga ng'ayita mu kasenge k'ovaamu okuyingira mu luggya olw'ebweru, era mu kkubo eryo, mw'anaayitanga okufuluma.”
4
Awo omusajja n'ampisa mu mulyango ogw'omu bukiikakkono, n'antwala mu maaso g'Essinzizo. Bwe natunula, ne ndaba ng'Essinzizo lijjudde ekitangaala ky'ekitiibwa kya Mukama. Ne nneeyala ku ttaka nga nneevuunise.
5
Mukama n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, weetegereze nnyo, otunule olabe, otege amatu owulire ebyo byonna bye nkugamba ku biragiro byonna, ne ku mateeka gonna ag'Essinzizo. Weetegereze nnyo omanye abakkirizibwa okuyingira mu Ssinzizo, n'abo abateekwa okugaanibwa okuyingira mu Kifo Ekitukuvu.
6
“Tegeeza abajeemu abo ab'Eggwanga lya Yisirayeli, nti Nze Mukama Afugabyonna mbagamba nti: ‘Mulekere awo ebyenyinyalwa byonna bye mubadde mukola.
7
Mujaajaamizza Essinzizo lyange nga muyingizaamu abagwira abatali bakomole. Abantu abatakwata mateeka gange bayingira mu Ssinzizo, ng'amasavu n'omusaayi eby'ebitambiro biweebwayo gye ndi. Bwe batyo abantu bange ne bamenya endagaano yange, olw'ebyenyinyalwa byonna bye mukola.
8
Mmwe mwennyini temukuumye bintu byange ebitukuvu mu Kifo kyange Ekitukuvu, naye mubitaddeko bagwira abo, be baba babibakuumira.
9
“ ‘Nze Mukama Afugabyonna, ŋŋamba nti tewaliba mugwira atali mukomole era atakwata mateeka gange, aliyingira mu Kifo kyange Ekitukuvu, wadde omugwira oyo abeera mu bantu bange Abayisirayeli.’
10
“Naye Abaleevi, abanneesambira ddala, Bayisirayeli bannaabwe bwe baawaba ne banvaako ne basinza ebifaananyi bya balubaale, balibonerezebwa olw'ekibi kyabwe.
11
Kyokka banaaweerezanga mu Kifo kyange Ekitukuvu nga balabirira emiryango gy'Essinzizo, era be banattiranga abantu ekiweebwayo ekyokebwa era n'ebitambiro, era banaabeerangawo okuweereza abantu.
12
Naye olw'okuba nga baakulembera abantu mu kusinza ebifaananyi bya balubaale, ne baleetera ab'Eggwanga lya Yisirayeli okwonoona, Nze Mukama Afugabyonna kyenvudde mmalirira okubabonereza olw'ekibi kyabwe.
13
Tebalinsemberera okukola omulimu ogw'obwakabona we ndi, wadde okusemberera ekintu kyonna ku bintu byange ebitukuvu, oba okuyingira mu Kifo Ekitukuvu ennyo. Baliswazibwa olw'ebyenyinyalwa bye baakola.
14
Newaakubadde ebyo biri bwe bityo, naye ndibafuula abakuumi b'Ekifo kyonna Ekitukuvu, abanaakolanga emirimu gyamu gyonna.”
15
“Naye bo bakabona, abo Abaleevi abasibuka mu Zaddooki abaasigala nga balabirira Ekifo kyange Ekitukuvu, Abayisirayeli abalala bonna bwe beewaggula ne banvaako, abo be banansembereranga okumpeereza, era be banajjanga mu maaso gange okuwaayo gye ndi amasavu n'omusaayi eby'ebitambiro.
16
Abo banaayingiranga mu Kifo kyange Ekitukuvu, era banaasembereranga emmeeza yange ne bampeereza, era banaakuumanga bye ndibalagira.
17
Bwe banaayingiranga mu miryango gy'oluggya lw'Essinzizo olwomunda, banaayambalanga ebyambalo ebyeru. Naye tebaayambalenga byambalo byakolebwa mu byoya bya ndiga, bwe banaabanga baweereza mu luggya olwomunda, oba munda mu Ssinzizo.
18
Banaasibanga ebiremba ebyeru ku mitwe gyabwe, era banaayambalanga empale enjeru. Tebaayambalenga kintu na kimu ekituuyanya.
19
Bwe banaabanga bafuluma okugenda mu luggya olw'ebweru eri abantu, banaayambulangamu ebyambalo byabwe bye baweererezaamu, ne babitereka mu bisenge ebitukuvu, ne bambala engoye endala, ebyambalo byabwe ebitukuvu biremenga kukola kabi ku bantu.
20
“Bakabona tebaamwengako nviiri zaabwe kuzimalako, wadde okuzireka okuduumuuka ku mitwe gyabwe, naye banaazisalanga ne balekako ensaamusaamu.
21
Tewaabenga kabona anywa mwenge nga bagenda okuyingira mu luggya olwomunda.
22
Kabona taawasenga nnamwandu, wadde mukazi eyanoba oba eyagobebwa bba, wabula awasenga muwala Muyisirayeli embeerera, oba nnamwandu w'eyali kabona.
23
“Bakabona banaayigirizanga abantu bange enjawulo wakati w'ekitukuvu n'ekitali kitukuvu, n'okwawula ekirongoofu n'ekitali kirongoofu.
24
N'awali enkaayana, bakabona be banaasalanga ensonga, nga bagoberera amateeka gange. Banaakuumanga ennaku zange enkulu, ne Sabbaato zange, nga bagoberera amateeka gange n'ebiragiro byange.
25
“Kabona taasembererenga mufu n'omu kwefuula atali mulongoofu, okuggyako ng'omufu oyo kitaawe, oba nnyina, oba mutabani we, oba muwala we, oba mwannyina ataafumbirwa.
26
Kabona bw'anaamalanga okuggyibwako obutali bulongoofu, anaalindangako ennaku musanvu,
27
n'alyoka ayingira mu luggya lw'Ekifo Ekitukuvu olwomunda. Olwo anaawangayo ekikye ekiweebwayo olw'ebibi, n'alyoka addamu okuweerezanga mu Ssinzizo. Nze Mukama Afugabyonna, njogedde.
28
“Obwakabona, bwe mpadde bakabona, okuba eky'ensikirano. Nze busika bwabwe. Temubawanga butaka mu Yisirayeli, nze butaka bwabwe.
29
Banaalyanga ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, n'ekiweebwayo olw'ebibi, n'ekiweebwayo okuba omutango olw'omusango, era buli kintu ekiwongebwa mu Yisirayeli kinaabanga kyabwe.
30
Ebisinga obulungi ku byonna bye musooka okukungula, ne ku byonna bye muwaayo gye ndi, binaabanga bya bakabona. Era munaawanga bakabona omugaati ogusooka okufumbibwa ku buwunga bw'eŋŋaano bwe mugoye, ne ndyoka mpa amaka gammwe omukisa.
31
Bakabona tebaalyenga nsolo oba nnyonyi efudde yokka, oba etaaguddwa ekisolo oba ekinyonyi.”
← Chapter 43
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 45 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48