bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ezekiel 20
Ezekiel 20
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 21 →
1
Awo olwatuuka, ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogwokutaano, mu mwaka ogw'omusanvu nga tuli mu buwaŋŋanguse, abamu ku bakulembeze b'Abayisirayeli ne bajja okwebuuza ku Mukama, ne batuula mu maaso gange.
2
Awo Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti:
3
“Ggwe omuntu, yogera n'abakulembeze b'Abayisirayeli obategeeze nti Nze Mukama Afugabyonna ŋŋamba nti: ‘Muzze okunneebuuzaako? Nze Mukama Afugabyonna ndayira nti nga bwe ndi omulamu, sijja kubakkiriza mmwe kunneebuuzaako. Nze Mukama Afugabyonna, bwe ntyo bwe ŋŋamba.’
4
“Onoobasalira omusango, ggwe omuntu? Kale bajjukize ebyenyinyalwa, bajjajjaabwe bye baakola.
5
Bategeeze nti Nze Mukama Afugabyonna mbagamba nti bwe neeroboza Yisirayeli, nalayirira ab'Eggwanga lya Yakobo eryo. Nabeemanyisiza mu nsi y'e Misiri, ne mbagamba nti nze Mukama, Katonda wammwe.
6
Ku olwo, lwe nabalayirira okubaggya mu nsi y'e Misiri okubatwala mu nsi gye nali mbategekedde, engimu era engagga, esinga ensi endala zonna ekitiibwa.
7
Nabagamba basuule ebintu ebyenyinyalwa ebibasikiriza, era baleme kwejaajaamya na bifaananyi bya balubaale b'e Misiri, kubanga Nze Mukama, Nze Katonda waabwe.
8
Naye ne banjeemera, ne bagaana okuwulira bye mbagamba, ne batasuula bintu ebyenyinyalwa ebibasikiriza, wadde okuleka ebifaananyi bya balubaale b'e Misiri. Kale ne nteekateeka okubamalirako obusungu bwange eyo mu nsi y'e Misiri.
9
Naye ne sikola ekyo, kubanga kyandivumaganyizza erinnya lyange mu mawanga mwe baali, mwe nabamanyisiza nti nja kubaggya mu nsi y'e Misiri.
10
“Awo ne mbaggya mu nsi y'e Misiri, ne mbatwala mu ddungu.
11
Ne mbawa ebiragiro byange, ne mbayigiriza amateeka gange, omuntu nga bw'agatuukiriza, gamuwa obulamu.
12
Era nabateerawo okumanya Sabbaato, kabe akabonero k'endagaano wakati wange nabo, balyoke bamanye nga nze Mukama abatukuza.
13
Naye ab'Eggwanga lya Yisirayeli ne banjeemera ne mu ddungu. Ne bamenya amateeka gange, ne bagaana okukola bye ndagira, ebiwa obulamu ababituukiriza. Ne boonoona nnyo Sabbaato gye nabateerawo. Kale ne nteekateeka okubamalirako obusungu bwange mu ddungu okubamalawo.
14
Naye ne nkola ekigwanira erinnya lyange, lireme okuvumaganibwa mu mawanga agaalaba bwe mbaggya mu Misiri.
15
Ne mbalayirira mu ddungu nga sigenda kubatwala mu nsi gye nali mbawadde, engimu era engagga, esinga ensi endala zonna ekitiibwa,
16
kubanga baagaana ebiragiro byange, ne batakwata mateeka gange, ne boonoonanga Sabbaato gye nabateerawo, ng'omutima bagumalidde ku bifaananyi bya balubaale.
17
“Naye ne mbakwatirwa ekisa ne sibazikiririza mu ddungu kubamalirawo ddala.
18
Awo ne ŋŋambira abaana baabwe mu ddungu nti: Temukolera ku mateeka bajjajjammwe ge baateekawo, temukwata mpisa zaabwe, era temweyonoona nga musinza ebifaananyi bya balubaale bye baasinzanga.
19
Nze Mukama Katonda wammwe, mukwatenga amateeka gange, mukolenga bye ndagira.
20
Olwa Sabbaato mulukuumenga nga lunaku lutukuvu, lubenga akabonero akalaga endagaano gye nakola nammwe, era lubajjukizenga nga Nze Mukama Katonda wammwe.
21
“Naye n'abaana ne banjeemera. Ne batakwata mateeka gange, era ne batakola bye mbalagira, ebiwa obulamu omuntu abikola. Baayonoonanga Sabbaato gye nabateerawo. Kale ne ŋŋamba okubamalirako obusungu bwange mbasaanyeewo nga bali mu ddungu.
22
Naye ne sikikola, nneme okuvumaganya erinnya lyange mu mawanga agaalaba nga bwe nabaggya mu Misiri.
23
Ne nziramu okubalayirira mu ddungu nga ndibasaasaanya mu mawanga, mbabunye mu nsi nnyingi,
24
kubanga baali tebakoze bye mbalagira, nga bagaanye amateeka gange, era nga bajaajaamizza Sabbaato gye nabateerawo, era ng'omutima bagumalidde ku bifaananyi bya balubaale, bajjajjaabwe bye baasinzanga.
25
“Awo ne mbaleka bagoberere amateeka agatali malungi, n'ebiragiro mwe batagenda kufunira bulamu.
26
Ne mbaleka beejaajaamye nga bawaayo ebirabo eri ebifaananyi bya balubaale, kubanga baatambiranga abaana baabwe abaggulanda nga babookya, ndyoke mbabonereze mbalage nga Nze Mukama.
27
“Kale kaakano, ggwe omuntu, yogera n'ab'Eggwanga lya Yisirayeli, obategeeze Nze Mukama Afugabyonna kye mbagamba, nti era eno ye emu ku ngeri bajjajjammwe mwe banvumiranga, nga bagaana okuba abeesigwa.
28
Kubanga bwe nabaleeta mu nsi gye nneerayirira okubawa, ne balaba obusozi obuwanvu n'emiti emiziyivu, ne baweeranga eyo ebitambiro byabwe. Ne bansunguwaza olw'ebyo bye baaweerangayo, n'ebyakaloosa bye baayoterezangayo, n'ebiweebwayo ebyokunywa bye baayiwangayo.
29
Ne mbabuuza nti: ‘Kifo ki ekyo ekigulumivu gye mugenda bulijjo okusinziza?’ Okuva olwo ne kiyitibwanga Ekifo Ekigulumivu kye Basinzizaamu.
30
Kale kaakano tegeeza ab'Eggwanga lya Yisirayeli, nze Mukama Katonda kye mbagamba nti: ‘Nammwe mwagala kweyonoona nga bajjajjammwe, nga mugoberera emize gyabwe egy'obutaba beesigwa?
31
Bwe muwaayo ebirabo byammwe, ne mutambira abaana bammwe be mwokya, nammwe mwejaajaamya olw'okusinza ebifaananyi bya balubaale. Kale mmwe ab'eggwanga lya Yisirayeli, olwo nnyinza ntya okubakkiriza munneebuuzeeko? Nze Mukama Katonda ndayira nti nga bwe ndi omulamu, sijja kubakkiriza kunneebuuzaako.
32
N'ekyo kye mulowooza ne mugamba nti munaabeera ng'ab'amawanga amalala, ng'abantu ab'omu nsi endala, ne musinza emiti n'amayinja, tekijja kubaawo n'akatono.’ ”
33
Mukama Katonda agamba nti: “Nze ndayira nti nga bwe ndi omulamu, mazima ndiba Kabaka wammwe, mbafugenga n'obuyinza obungi, n'amaanyi era n'obusungu,
34
Ndikozesa obuyinza bwange obungi n'amaanyi era n'obusungu, ne mbaggya mu mawanga, era ne mbakomyawo okuva mu nsi ezo mwe mwasaasaanyizibwa.
35
Ndibateeka mu ddungu ly'eyo mu mawanga, mbawozese nga nze nammwe tutunuuliganye maaso ku maaso.
36
Ndibawozesa nga bwe nawozesa bajjajjammwe mu ddungu ly'ensi y'e Misiri.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba.
37
“Ndibayisa wansi w'omuggo ne mbabala n'obwegendereza, ne mbayingiza mu ndagaano gye muteekwa okukuuma.
38
Ndibamaliramu ddala abajeemu, n'abo abakola ebibi ne bannyiiza. Abo ndibaggya mu nsi ze balimu kaakano, naye siribaleeta mu nsi ya Yisirayeli. Olwo mulimanya nga Nze Mukama.”
39
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Kale kaakano mmwe Abayisirayeli oba nga temukkiriza kumpulira, buli omu ku mmwe agende abe muweereza w'ebifaananyi bya balubaale by'alina. Naye temuddangamu kujaajaamya linnya lyange ettukuvu nga mumpa ebirabo byammwe, ate ng'erudda musinza ebifaananyi bya balubaale bye mulina.
40
Ku lusozi lwange olutukuvu, olusozi olwo entikko ya Yisirayeli, mwenna mwenna ab'Eggwanga lya Yisirayeli we mufa mwenkana, kwe mulinsinziza mu nsi eyo, Nze Mukama Afugabyonna. Eyo gye ndibasiimira, era ne mbasalira ebiweebwayo bye munandeetera, n'ebibala byammwe ebisooka okukungulwa era n'ebitone byammwe byonna bye mumpongera.
41
Bwe ndimala okubakuŋŋaanya okubaggya mu mawanga ne mbakomyawo okuva mu nsi ezo mwe mwasaasaanyizibwa, ndisiima ebitambiro byammwe ebyokebwa, era muliraga amawanga nga bwe ndi omutuukirivu.
42
“Bwe ndibatuusa mu Yisirayeli, ensi gye nneerayirira okuwa bajjajjammwe, mulimanya nga Nze Mukama.
43
Olwo mulijjukira emize gyammwe, n'ebikolwa byammwe byonna ebyenyinyalwa bye mwejaajaamyamu, era mulyetamwa mmwe mwennyini olw'ebibi byammwe byonna bye mwakola.
44
Bwe ndimala okubayisa mu ngeri eweesa erinnya lyange ekitiibwa, sso si mu ngeri egwanira enneeyisa yammwe embi, n'ebikolwa byammwe ebikyamu, mmwe ab'Eggwanga lya Yisirayeli, mulimanya nga Nze Mukama.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba.
45
Awo Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti:
46
“Ggwe omuntu, tunula ebukiikaddyo olaamirize ebirituuka ku bantu baayo, olange ebirituuka ku kibira ky'omu bukiikaddyo.
47
Gamba ekibira eky'omu bukiikaddyo kiwulire, Nze Mukama kye ŋŋamba. Nze Mukama Afugabyonna ŋŋamba nti: ‘Laba, ndikuma omuliro mu ggwe, ne gwokya buli muti oguli mu ggwe, omubisi n'omukalu. Ennimi z'omuliro ogwo, tewaliba kiyinza kuzizikiza. Guliranda okuva ebukiikaddyo, okutuuka ebukiikakkono, gwokye buli omu.
48
Abantu bonna baliraba nga Nze Mukama, nze ngukumye. Tewali kiriyinza kuguzikiza.’ ”
49
Awo ne ŋŋamba nti: “Ayi Mukama Afugabyonna, banjogerako nti: ‘Ono ayogerera mu ngero!’ ”
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48