bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ezekiel 43
Ezekiel 43
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 42
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 44 →
1
Awo oluvannyuma omusajja n'antwala ku mulyango ogwo ogutunudde ebuvanjuba.
2
Ne ndaba ekitangaala ky'ekitiibwa kya Katonda wa Yisirayeli, ne nkiraba nga kijja nga kiva ebuvanjuba. Eddoboozi lya Katonda lyali ng'okuwuuma kw'amazzi amangi, ensi n'emasamasa olw'ekitiibwa kye.
3
Okulabikirwa kuno, kwali ng'okwo kwe nafuna, Katonda lwe yajja okuzikiriza Ekibuga Yerusaalemu, era nga kwe nafuna bwe nali ku lubalama lw'Omugga Kebari. Awo ne ngwa wansi, nga nneevuunise ku ttaka.
4
Ekitangaala ky'ekitiibwa kya Mukama ne kiyingira mu Ssinzizo, nga kiyita mu Mulyango gw'Ebuvanjuba.
5
Ne wabaawo omwoyo ogwansitula, ne gundeeta mu luggya olwomunda, ne ndaba ekitangaala ky'ekitiibwa kya Mukama. Kyali kijjuzizza Essinzizo.
6
Awo ne mpulira ayogera nange, ng'asinziira mu Ssinzizo. Mu kiseera ekyo, oli yali ayimiridde ku mabbali gange.
7
Awo eyayogera n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, kino kye kifo ky'entebe yange ey'obwakabaka, era kye kifo we sigenda kuseguka. Wano we nnaabeeranga mu Bayisirayeli emirembe gyonna. N'ab'Eggwanga lya Yisirayeli, wamu ne bakabaka baabwe, tebaliddamu kuvumaganya linnya lyange ettukuvu, nga banvaako okusinza ebyo ebitali Nze Katonda, oba nga bakolera emirambo gya bakabaka baabwe ebijjukizo ebigulumivu.
8
Baazimba embiri zaabwe, nga bateeka omulyango gwabwe n'omufuubeeto gwabwe ku mabbali g'omulyango gwange n'ag'omufubeeto gwange, nga kisenge busenge kye kyawula nze nabo, ne bavumaganya erinnya lyange ettukuvu olw'ebyenyinyalwa bye baakola, kyennava nsunguwala ne mbazikiriza.
9
Kale kaakano balekere awo obutaba beesigwa, bakomye okusinza ebirala ebitali Nze Katonda, era baggyewo ebijjukizo by'emirambo gya bakabaka baabwe. Olwo nnaabeeranga mu bo emirembe gyonna.”
10
Era n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, laga ab'Eggwanga lya Yisirayeli Essinzizo balabe, endabika n'entereeza yaalyo, balyoke bakwatibwe ensonyi olw'ebikolwa byabwe ebibi.
11
Bwe banaakwatibwa ensonyi olwa byonna bye bakoze, obannyonnyole enkola y'Essinzizo n'enfaanana yaalyo, awayingirirwa n'awafulumirwa, n'ekifaananyi kyalyo kyonna, n'amateeka gonna n'ebiragiro byonna ebiriteekeddwako. Obibawandiikire byonna babirabe, balyoke bamanye Essinzizo lyonna nga bwe litegekeddwa, n'ebiragiro byalyo byonna, era babituukirizenga.
12
Lino lye tteeka ly'Essinzizo: ekifo kyonna ekiryetoolodde ku ntikko y'olusozi, kiriba kifo kitukuvu nnyo. Eryo lye tteeka ly'Essinzizo.”
13
Bino bye bipimo by'alutaari, ng'ekipimo kyekimu ekikozesebwa okupima Essinzizo. Okwetooloola entobo yaayo yonna, wa kubaawo olusalosalo lwa sentimita amakumi ataano okukka wansi, ne sentimita amakumi ataano obugazi, nga waggulu luliko omugo gwa sentimita abiri mu ttaano obugulumivu okwetooloola.
14
Ekitundu ekyawansi, okuva ku ntobo okutuuka ku mugo ogwa wansi, walibaawo mita emu obugulumivu ne sentimita amakumi ataano obugazi, n'okuva ku mugo omutono okutuuka ku mugo omunene, walibaawo mita bbiri obugulumivu, ne sentimita amakumi ataano obugazi.
15
Ekitundu kino eky'alutaari ekyawaggulu, kiriba kya mita bbiri obuwanvu. Okuva awo, alutaari eriba n'amayembe ana agambuka waggulu.
16
Ekitundu ky'alutaari ekisembayo waggulu, kiriba kyenkanankana ku njuyi zaakyo ennya, mita mukaaga mukaaga obuwanvu n'obugazi.
17
Ekitundu ky'alutaari eky'omu masekkati, nakyo kiriba kyenkanankana ku njuyi zaakyo ennya, mita musanvu ku buli ludda, nga kirina omugo ogw'ebweru gwa sentimita amakumi abiri mu ttaano obugulumivu, nga lwo olusalosalo wansi ku ntobo, lwa sentimita amakumi ataano obugazi. Amadaala agambuka ku alutaari eyo, galiba ku ludda lwayo olw'ebuvanjuba.
18
Omusajja n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, Mukama Afugabyonna, agamba nti: ‘Bino bye biragiro ebirigobererwa, bwe balikola alutaari okuweerangayo ku yo ebiweebwayo ebyokebwa, n'okumansirangako omusaayi.
19
Bakabona Abaleevi ab'omu zzadde lya Zaddooki abatuuka we ndi okumpeereza Nze Mukama Afugabyonna, olibawa ente envubuka, ebe ekiweebwayo olw'ebibi.
20
Olitoola ku musaayi gwayo, n'oguteeka ku mayembe ga alutaari eyo ana, ne ku nsonda ennya ez'omugo gwayo, ne ku mugo ogugyetooloola. Bw'otyo bw'oligirongoosa, n'ogitukuza.
21
Era olitwala ente ennume ey'ekiweebwayo olw'ebibi, n'ogyokera mu kifo eky'omu kibangirizi ekyalagibwa eky'Essinzizo, ebweru w'Essinzizo.
22
Ku lunaku oluddirira, oliwaayo embuzi ennume eteriiko kamogo, n'eba ekiweebwayo olw'ebibi, ne bakozesa omusaayi gwayo okutukuza alutaari, nga bwe baakozesa ogw'ente.
23
Bw'olimala okutukuza alutaari, n'olyoka owaayo ente envubuka eteriiko kamogo, n'endiga ennume era eteriiko kamogo, eggyiddwa mu ggana,
24
n'ozireeta mu maaso gange, Nze Mukama, bakabona ne bazimansaako omunnyo ne bazookya, zibe ekiweebwayo gye ndi Nze Mukama, ekyokebwa.
25
Okumala ennaku musanvu, onootegekanga buli lunaku embuzi ey'ekiweebwayo olw'ebibi, era banaategekanga ente envubuka, n'endiga ennume ezitaliiko kamogo, ze baggye mu ggana.
26
Balimala ennaku musanvu nga bagogola alutaari, bagitukuze, bagiwonge.
27
Ennaku omusanvu bwe ziriggwaako, okuva ku lunaku olw'omunaana n'okweyongerayo, bakabona banaaweerangayo ku alutaari eyo ebiweebwayo byammwe ebyokebwa, n'ebiweebwayo olw'okutabagana. Olwo ndikkiriza okubaaniriza mwenna. Nze, Mukama Afugabyonna, njogedde.’ ”
← Chapter 42
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 44 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48