bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ezekiel 45
Ezekiel 45
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 44
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 46 →
1
Bwe muliba mugabana ensi nga muyita mu kukuba obululu, muwangayo ekitundu, ne mukiwongera Mukama, ne kiba kikye kitukuvu. Kiriba kya kilomita kkumi na bbiri n'ekitundu obuwanvu, ne kilomita ttaano obugazi. Ekitundu ekyo kyonna, kiriba kitukuvu yonna gye kikoma.
2
Ku kyo, muliggyako ekibangirizi eky'okuzimbamu Ekifo Ekitukuvu, kya mita ebikumi bibiri mu ataano okwenkanankana mu njuyi zonna, obuwanvu n'obugazi, n'oluggya lwakyo, lwa mita amakumi abiri mu ttaano ku njuyi zonna.
3
Kale ekyo kye kitundu ky'olipima nga kya kilomita kkumi na bbiri n'ekitundu obuwanvu, ne kilomita ttano obugazi. Mu kyo, mwe mulibeera Essinzizo, Ekifo Ekitukuvu ennyo.
4
Kiriba kitundu kitukuvu, nga kya bakabona abaweereza Mukama mu Kifo Ekitukuvu. Kiribaamu ennyumba zaabwe, era n'ekifo ekitukuvu eky'Essinzizo.
5
Ekitundu ekirala ekisigalawo, ekya kilomita ekkumi n'ebbiri n'ekitundu, kiriba kya Baleevi abaweereza mu Ssinzizo, kibe kyabwe okuzimbamu ennyumba zaabwe amakumi abiri.
6
Okuliraana n'ekifo ekyo ekitukuvu, muliteekawo ekitundu ekirala kya kilomita kkumi na bbiri n'ekitundu obuwanvu, ne kilomita bbiri n'ekitundu obugazi, zibe za kibuga eky'Eggwanga lyonna erya Yisirayeli.
7
Ne Kabaka aliweebwa ettaka eriri mu mbiriizi z'ettaka ery'ekitundu ekitukuvu n'ez'ettaka ery'ekibuga, ku njuyi zombi ebugwanjuba n'ebuvanjuba, ng'obuwanvu bwalyo bwenkanankana n'obuwanvu bw'ogumu ku migabo gy'Ebika, era nga liva ku nsalo y'ebugwanjuba ey'ensi Yisirayeli.
8
Ogwo gwe guliba omugabo gw'ettaka ogwa Kabaka mu nsi ya Yisirayeli, bakabaka balemenga kwongera kunyigiriza bantu bange, naye baleke ab'Eggwanga lya Yisirayeli okugabana ensi eyo mu bika byabwe.
9
Mukama Afugabyonna n'agamba nti: “Mmwe abafuzi mu Yisirayeli, mulekere awo obukambwe n'obunyazi, mukole eby'amazima n'obwenkanya. Mukomye okugobanga abantu bange mu bibanja byabwe. Nze Mukama Afugabyonna nze mbagamba.
10
“Mukozesenga minzaani n'ebipimo byonna ebirala nga bituufu.
11
“Efa epima ebintu ebikalu, ebe nga yenkana ne baati epima eby'amazzi, nga homeri kye kipimo ekikulu ekyawamu. Efa ne baati, buli emu ebengamu kimu kya kkumi ekya homeri,
12
“Sekeli yenkanenga ggeera amakumi abiri, ate sekeli enkaaga zenkanenga mina yammwe emu.
13
“Kino kye munaagobereranga nga muwaayo ebitone: munaawangayo kimu eky'omukaaga ekya efa ku buli homeri ey'eŋŋaano, ne ku buli homeri eya bbaale.
14
Ku muzigo ogw'emizayiti, munaawangayo kimu eky'ekkumi ekya baati ku buli koori. Koori kyekimu ne homeri, nayo ebaamu baati kkumi.
15
Endiga ento emu, ye eneggyibwanga mu bikumi ebibiri, ku malundiro amagimu aga Yisirayeli. Munaawangayo ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, n'ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba, era n'ekiweebwayo olw'emirembe, ne mwesabira ekisonyiwo eky'ebibi byammwe. Nze Mukama Afugabyonna, Nze nkiragidde.
16
“Abantu bonna ab'omu nsi ya Yisirayeli, banaaleetanga ekiweebwayo ekyo eri kabaka wa Yisirayeli.
17
Era kabaka oyo ye anaawanga ebiweebwayo ebyokebwa nga biramba, n'ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke, n'ebiweebwayo eby'ebyokunywa ku mbaga ez'okuboneka kw'omwezi, ne ku Sabbaato, ne ku nnaku enkulu endala, ne ku mbaga zonna ezaalagirwa, ez'Eggwanga lya Yisirayeli. Ye anaategekanga ekiweebwayo olw'ekibi, n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, n'ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba, n'ebiweebwayo olw'okutabagana, okusabira ab'Eggwanga lya Yisirayeli ekisonyiwo ky'ebibi byabwe.”
18
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Ku lunaku olusooka mu mwezi ogw'olubereberye, munaatambiranga ente envubuka eteriiko kamogo, ne mutukuza Essinzizo.
19
Kabona anaatoolanga ku musaayi ogwo ogw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'agusiiga ku myango gy'enzigi z'Essinzizo, ne ku nsonda ennya ez'omugo gwa alutaari, ne ku myango gy'omulyango ogw'oluggya olwomunda.
20
Ku lunaku olw'omusanvu olw'omwezi, onookolanga bw'otyo olwa buli omu akoze ekibi nga tagenderedde, oba nga kivudde mu butamanya. Bwe mutyo bwe munaakuumanga Essinzizo nga ttukuvu.
21
“Ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi ogw'olubereberye, munaatandikanga Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, embaga ey'ennaku omusanvu. Mu nnaku ezo omusanvu, munaalyanga migaati egitazimbulukusiddwa.
22
Ku lunaku olw'embaga eyo olusooka, kabaka anaategekanga ku lulwe ne ku lw'abantu bonna, ente ebe ekiweebwayo olw'ekibi.
23
Ne mu nnaku omusanvu ez'embaga, buli lunaku anaawangayo eri Mukama ente musanvu, n'endiga ennume musanvu ezitaliiko kamogo, ne zookebwa nga nnamba. Era buli lunaku anaawangayo embuzi ennume, ebe ekiweebwayo olw'ebibi.
24
Alitegekerako n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, efa emu ku buli nte ne ku buli ndiga ennume, ne yini emu ey'omuzigo gw'emizayiti ku buli efa.
25
“Ku mbaga ey'Ensiisira, etandika ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omusanvu, kabaka era anaakolanga bw'atyo, anaawangayo buli lunaku mu nnaku omusanvu, ekiweebwayo olw'ekibi, n'ebiweebwayo ebyokebwa nga biramba, n'ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke, n'eby'omuzigo ogw'emizayiti.”
← Chapter 44
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 46 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48