bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ezekiel 48
Ezekiel 48
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 47
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
1
Gano ge mannya g'Ebika: Daani aligabana ekitundu eky'ensikirano, ekitandikira ku nsalo ey'omu bukiikakkono ku mabbali g'ekkubo ly'e Hetulooni, okutuuka awayingirirwa mu Hamati, n'okweyongerayo e Hazari Enoni, ku nsalo ne Damasiko mu bukiikakkono, ku mabbali ga Hamati okuva ku nsalo ey'ebuvanjuba, okutuuka ku y'ebugwanjuba. Ekika kya Daani ekyo, kirifuna omugabo gumu.
2
Aseri aligabana ekitundu ekiriraanye ensalo ne Daani, okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba, era alifuna omugabo gumu.
3
Nafutaali aligabana ekitundu ekiriraanye ekya Aseri, okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba. Alifuna omugabo gumu.
4
Manasse aligabana ekitundu ekiriraanye ekya Nafutaali, okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba. Alifuna omugabo gumu.
5
Efurayimu aligabana ekitundu ekiriraanye ekya Manasse, okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba. Aligabana omugabo gumu.
6
Rewubeeni aligabana ekitundu ekiriraanye ekya Efurayimu okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba. Alifuna omugabo gumu.
7
Yuda aligabana ekitundu ekiriraanye ekya Rewubeeni, okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba. Alifuna omugabo gumu.
8
Okuliraana n'ekitundu kya Yuda, okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba, we waliba ekitundu kye mulirekawo ekyenjawulo. Obugazi bwakyo buliba kilomita kkumi na bbiri n'ekitundu, okuva mu bukiikakkono okutuuka mu bukiikaddyo, n'obuwanvu bwakyo nga bwenkana obw'emigabo gy'Ebika, okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba. Essinzizo liribeera mu kyo wakati.
9
Ekitundu ekyo kye mulyawulira Mukama, kiriba kilomita kkumi na bbiri n'ekitundu obuwanvu, ne kilomita kkumi obugazi.
10
Bakabona balifuna ekitundu ku ttaka lino eriweereddwayo eri Mukama. Okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba, ekitundu kyabwe kiriba kilomita kkumi na bbiri n'ekitundu, n'okuva ebukiikakkono okutuuka ebukiikaddyo, kilomita ttaano. Ekifo kya Mukama Ekitukuvu kiribeera wakati mu kyo.
11
Ekitundu kino kiriba kya bakabona abaatukuzibwa, era ab'omu lulyo lw'ezzadde lya Zaddooki. Abo be baakuuma bye nalagira, abataawabira wamu na Bayisirayeli balala kukola bibi nga Baleevi bannaabwe bwe baawaba.
12
Ekitundu kye balifuna, kiriggyibwa ku kitundu ky'ensi ekyayawulibwa, era kiriba ekitundu ekitukuvu ennyo. Kiriba kiriraanye n'eky'Abaleevi.
13
Abaleevi nabo baliba n'ekitundu ekyabwe, nga kiriraanye n'ekya bakabona. Nakyo kiriba kilomita kkumi na bbiri n'ekitundu obuwanvu, okuva ebuvanjuba okudda ebugwanjuba, ne kilomita ttaano obugazi, okuva ebukiikakkono okudda ebukiikaddyo. Ekitundu kyonna awamu, ekya bakabona n'eky'Abaleevi, kiriba kilomita kkumi na bbiri obuwanvu, ne kilomita kkumi obugazi.
14
Ekitundu ekyo, kye kitundu ekisinga obulungi mu nsi eyo yonna, era tebaakitundenga, wadde okukiwaanyisaamu ekirala, oba okukifuula eky'omulala, kubanga kyayawulirwa Mukama.
15
Ekitundu ekisigaddewo ekya kilomita ekkumi n'ebbiri n'ekitundu obuwanvu, ne kilomita bbiri n'ekitundu obugazi, kiriba kya kukozesebwanga bantu bonna. Kiriba kya kuzimbamu kibuga, na kukolamu malundiro. Ekibuga kiribeera wakati mu kyo,
16
era kiryenkanankana enjuyi zonna, mita enkumi bbiri mu bibiri mu ataano buli ludda.
17
Ekibuga ekyo, kiryetooloolwa ekibangirizi kya mita kikumi mu abiri mu ttaano enjuyi zonna, ebukiikakkono n'ebukiikaddyo, ebuvanjuba n'ebugwanjuba.
18
Ettaka erisigaddewo okuliraana n'ekitundu ekyawongebwa, obuwanvu bwalyo kilomita ttaano ebuvanjuba, ne kilomita ttaano ebugwanjuba, lye linaalimwangamu emmere eriisa abo abakola emirimu mu kibuga.
19
Linaalimwangamu abo bonna abakola emirimu mu kibuga, abava mu Bika byonna ebya Yisirayeli.
20
N'olwekyo ekitundu kyonna kye mulyawulako, kiriba kya kilomita kkumi na bbiri n'ekitundu ku njuyi zonna, nga kizingiramu ekitundu ekyawongebwa, n'ekitundu eky'okuzimbamu ekibuga.
21
Ekitundu ekisigaddewo ku njuyi zombi, ebuvanjuba n'ebugwanjuba w'ebitundu bino: eky'Essinzizo, n'eky'ettaka lya bakabona, n'ery'Abaleevi, n'ery'ekibuga, ebikiri wakati, kiriba kya kabaka. Ekitundu ekyo ekya kabaka nga kigoberera ensalo ezikyawula ku migabo gy'Ebika, kirimalirayo ddala obuwanvu obwa kilomita ekkumi n'ebbiri n'ekitundu, obuva ku nsalo ey'ebuvanjuba okutuuka ku y'ebugwanjuba. Ekitundu ekyayawulibwa, era n'Ekifo Ekitukuvu kyennyini, biriba wakati wa mugabo gwa kabaka.
22
N'ettaka ly'Abaleevi n'ery'ekibuga, biriba wakati wa mugabo gwa kabaka, nga gwo guli wakati w'omugabo gwa Yuda mu bukiikakkono, n'omugabo gwa Benyamiini mu bukiikaddyo.
23
N'ebika ebirala birigabana bwe biti: Benyamiini aligabana ekitundu ekitandikira ku nsalo ey'omu buvanjuba, ne kikoma ku nsalo ey'omu bugwanjuba. Alifuna omugabo gumu.
24
Simyoni aligabana ekitundu ekiriraanye ekya Benyamiini, okuva ku ludda lw'ebuvanjuba okutuuka ku ludda lw'ebugwanjuba. Alifuna omugabo gumu.
25
Yissakaari aligabana ekitundu ekiriraanye ekya Simyoni, okuva ku ludda olw'ebuvanjuba, okutuuka ku ludda olw'ebugwanjuba. Alifuna omugabo gumu.
26
Zebbulooni aligabana ekitundu ekiriraanye ekya Yissakaari, okuva ku ludda lw'ebuvanjuba, okutuuka ku ludda lw'ebugwanjuba. Alifuna omugabo gumu.
27
Gaadi aligabana ekitundu ekiriraanye ekya Zebbulooni, okuva ku ludda olw'ebuvanjuba, okutuuka ku ludda lw'ebugwanjuba. Alifuna omugabo gumu.
28
“Ku ludda olw'omu bukiikaddyo obw'ekitundu ekirigabanibwa Gaadi, ensalo y'ensi ya Yisirayeli eriva ku Tamari, n'etuuka ku mazzi ag'e Meribati Kadesi, n'egenda n'akagga akali ku nsalo ne Misiri, okutuuka ku Nnyanja Ennene.
29
Eyo ye nsi gye muligabanyaamu nga mukuba kalulu, ne mu giwa Abayisirayeli mu Bika byabwe, ebe obutaka bwabwe, era egyo gye migabo gyabwe.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba.
30
Gino gye giriba emiryango gy'Ekibuga Yerusaalemu: oludda olw'omu bukiikakkono, oluliba olwa mita enkumi bbiri mu bibiri mu ataano obuwanvu,
31
lulibaako emiryango esatu egirituumibwa amannya g'Ebika bya Yisirayeli. Omulyango gwa Rewubeeni, gumu; Omulyango gwa Yuda, gumu; n'Omulyango gwa Leevi, gumu.
32
N'oludda olw'ebuvanjuba, oluliba olwa mita enkumi bbiri mu bibiri mu ataano, lulibaako emiryango esatu: Omulyango gwa Yosefu, gumu; Omulyango gwa Benyamiini, gumu; n'Omulyango gwa Daani; gumu.
33
N'oludda olw'omu bukiikaddyo oluliba olwa mita enkumi bbiri mu bibiri mu ataano, lulibaako emiryango esatu: Omulyango gwa Simyoni, gumu; Omulyango gwa Yissakaari, gumu; n'Omulyango gwa Zebbulooni, gumu.
34
Oludda olw'ebugwanjuba, nalwo oluliba olwa mita enkumi bbiri mu bibiri mu ataano, lulibaako emiryango esatu: Omulyango gwa Gaadi, gumu; Omulyango gwa Aseri, gumu; n'Omulyango gwa Nafutaali, gumu.
35
Obuwanvu bwonna obw'ekisenge ekyetooloola Ekibuga, buliba mita kenda. Era Ekibuga ekyo okuva olwo kinaayitibwanga “Mukama ali omwo.”
← Chapter 47
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48