bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ezekiel 42
Ezekiel 42
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 41
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 43 →
1
Awo omusajja n'antwala mu luggya olw'ebweru okwolekera obukiikakkono, n'annyingiza mu nnyumba eyali eyolekera olukuubo, era ng'etunudde mu kizimbe ekirala ku ludda olw'ebukiikakkono bw'Essinzizo.
2
Ennyumba eyo yali ya mita amakumi ataano obuwanvu ku ludda olw'omu bukiikakkono, ne mita amakumi abiri mu ttaano obugazi.
3
Ku ludda olumu, yali etunudde mu luggya lw'Essinzizo olwomunda, olwa mita ekkumi obugazi. Ku ludda olulala, yali eyolekedde amayinja amaaliire ag'oluggya lw'Essinzizo olw'ebweru. Yali ezimbiddwa ku myaliiro esatu egya kalina, ng'ogwa wansi gwe gusinga obugazi gunnewaagwo ogwa waggulu.
4
Mu nnyumba, mwalimu olukuubo lwa mita ttaano obugazi, ne mita amakumi ataano obuwanvu, nga n'emiryango gyolekedde obukiikakkono.
5
Obusenge obw'omu kalina eya waggulu, bwali bufunda okusinga obwa wansi waabwo, kubanga okuva wansi okudda waggulu, ebbalaza zaagendanga zeeyongera okugaziwa, n'okusala ku bugazi bw'obusenge ku buli kalina.
6
Obusenge obw'omu kalina zino, tebwalina mpagi zibuwanirira ng'ebisenge eby'omu bizimbe ebirala eby'omu luggya, akasenge aka waggulu kyekaavanga kafunzibwa okusinga kannewaako kwe kaazimbirwa ak'omu kalina eya wansi.
7
Mu maaso g'obusenge obwo, waaliyo ekisenge kya mita amakumi ataano obuwanvu, nga kibuliraanye okwolekera oluggya olw'ebweru.
8
Obuwanvu bw'ennyumba ezaaliko obusenge mu luggya olw'ebweru, bwali mita abiri mu ttaano, ate obw'ezo ezaali mu maaso g'Essinzizo bwali mita amakumi ataano.
9
Era wansi w'ennyumba ezo, we waali awayingirirwa ku ludda olw'ebuvanjuba, ng'oziyingira okuva mu luggya olw'ebweru.
10
Ku ludda olw'ebuvanjuba, mu maaso g'oluggya n'ekisenge ky'ebweru eky'ekizimbe kyalwo, nawo waaliwo olubu lw'obusenge.
11
Mu maaso gaabwo waaliwo, olukuubo ng'olwali mu maaso g'obusenge obutunudde ebukiikakkono. Obuwanvu n'obugazi bwalwo, emiryango n'enzigi awafulumirwa, byali bye bimu ddala nga bwe byali
12
ebukiikaddyo. Era olukuubo we lutandikira mu maaso g'ekisenge eky'ebweru ng'ova ebuvanjuba, waaliwo oluggi.
13
Awo omusajja n'aŋŋamba nti: “Amayumba ago gombi mu bukiikakkono, ne mu bukiikaddyo agatunudde mu luggya, mayumba matukuvu. Bakabona abatuuka awali Mukama, mu go mwe banaaliiranga ku bitukuvu ennyo ebimuwongerwa. Amayumba ago, kifo kitukuvu, era mwe banaaterekanga ebitukuvu ennyo, awamu n'ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke, n'ebiweebwayo olw'ebibi, n'ebiweebwayo ng'omutango olw'omusango.
14
Bakabona bwe banaayingiranga mu Kifo Ekitukuvu, bwe banaabanga bakivaamu okuyingira mu luggya olw'ebweru, ebyambalo ebitukuvu bye babadde baweererezaamu, banaabirekanga mu busenge obwo, ne bambala engoye endala, ne balyoka basemberera ekifo abantu abalala mwe bakukuŋŋaanira.”
15
Bwe yamala okupima munda w'Essinzizo, n'anfulumya ng'ayita mu mulyango ogw'ebuvanjuba, n'alyoka alipima ebweru enjuyi zonna.
16
N'apima oludda olw'ebuvanjuba ng'akozesa olumuli olupima, ne ziwera mita ebikumi bibiri mu ataano. N'apima enjuyi zonna.
17
N'apima oludda olw'ebukiikakkono mita ebikumi bibiri mu ataano,
18
n'oludda olw'ebukiikaddyo, mita ebikumi bibiri mu ataano.
19
N'akyukira oludda olw'ebugwanjuba, n'apima mita ebikumi bibiri mu ataano.
20
Yapima Essinzizo enjuyi zonna ennya. Lyalina ekisenge ekiribugiriza enjuyi zonna, obuwanvu mita ebikumi bibiri mu ataano, n'obugazi mita ebikumi bibiri mu ataano, okwawula ebitukuvu n'ebitali bitukuvu.
← Chapter 41
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 43 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48