bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ezekiel 26
Ezekiel 26
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 27 →
1
Ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi, mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu nga tuli mu buwaŋŋanguse, Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: Mat 11:21-22; Luk 10:13-14
2
“Ggwe omuntu, Tiiro nga bwe kyayogera ku Yerusaalemu nti: ‘Otyo! Yerusaalemu ekyali omulyango gw'obusuubuzi bw'amawanga nga bwe kimenyeddwa ne kifuuka amatongo, nze nzize mu kifo kyakyo, kaakano nja kugaggawala.’
3
Kale Nze Mukama Afugabyonna kyenva ŋŋamba nti ndi mulabe wo ggwe Ekibuga Tiiro, era ng'ennyanja bw'esitula amayengo gaayo, nange ndisitula amawanga mangi, ne gajja ne gakulwanyisa.
4
Galimenya ebigo byo, ne gazikiriza eminaala gyo. Galikukalakatako ettaka, n'osigala lwazi lwereere.
5
Onoobanga kifo abavubi mwe baanika obutimba bwabwe, awo w'oli mu nnyanja. Nze Mukama Afugabyonna, nze njogedde. Amawanga galyefunira omunyago mu Tiiro,
6
era abantu abali mu bubuga bwakyo ku lukalu, balittirwa mu lutalo, Tiiro kiryoke kimanye nga Nze Mukama.”
7
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Ndireeta Nebukadunezzari Kabaka wa Babilooniya, kabaka asinga bakabaka bonna amaanyi, ajje alumbe Tiiro. Aliva ebukiikakkono, ajje n'eggye eddene omuliba embalaasi, n'amagaali, n'abeebagadde embalaasi.
8
Alittira mu lutalo abo ab'omu bubuga obuli ku lukalu. Alikuzimbako ebigo okukuzingiza, akutuumeko ebifunvu eby'okukuwalampirako, akulumbe ng'akutte engabo eŋŋumu ng'ekisenge.
9
Alimenya ebigo byo ng'akozesa ebyuma ebitomera, era alimenyerawo ddala eminaala gyo ng'akozesa ensuuluulu ze.
10
Embalaasi ze eziyinze obungi, zirisitula enfuufu n'ekubikka. Omusinde n'oluyoogaano lw'embalaasi, ne nnamuziga, n'amagaali, birikankanya ebisenge byo ng'ayingira mu miryango gyo, ng'ayita mu miryango gyo nga bwe bayita mu bisenge by'ekibuga ebikubiddwamu ebituli.
11
Alirinnyirira enguudo zo zonna n'ebinuulo by'embalaasi ze, era alittira abantu bo mu lutalo. Empagi zo ez'amaanyi zirisuulibwa wansi.
12
Ebibyo ebyobugagga n'eby'obusuubuzi, balibiwenja yonna gye biri ne babinyaga. Balimenyawo ebisenge byo, ne bazikiriza amayumba go amalungi. Amayinja go, n'embaawo zo, n'ebibyo ebirala byonna bye boonoonye, balibisuula mu nnyanja.
13
Ndikomya amaloboozi g'abayimbira mu ggwe, era ennanga zo teziriddayo kuwulirwa nate.
14
Ndikufuula lwazi olwereere, abavubi kwe banaayanikanga obutimba bwabwe, era toliddamu kuzimbibwa, kubanga nze Mukama Afugabyonna njogedde.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba.
15
Mukama agamba Tiiro nti: “Olowooza ab'okubizinga bwe baliwulira okubwatuka kwo ng'ogwa, n'okusindogoma kw'abafumitiddwa nga batirimbulirwa mu ggwe, tebalikankana?
16
Awo bakabaka bonna ab'ensi eziriraanye ennyanja, baliva ku ntebe zaabwe ez'obwakabaka, ne baggyako eminagiro gyabwe, ne bambulamu ebyambalo byabwe ebiriko amajolobera, nga bakankana, ne batuula wansi ku ttaka nga batintima buli kaseera, nga bawuniikiridde olw'ebikutuuseeko.
17
Balikukungubagira nga bakugamba nti: ‘Ng'ozikiridde ggwe ekibuga ekyabeerangamu abalunnyanja! Nga wayatiikirira! Wali wa maanyi ku nnyanja: ggwe n'abatuuze bo, nga mutiisa abagisaabalako.
18
Kaakano ebizinga bikankana ku lunaku lw'ogwiriddeko, weewaawo ebizinga ebiri mu nnyanja kati byeraliikirivu, nga biraba bw'oggwaawo!’ ”
19
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Bwe ndikufuula ekibuga ekyalekebwa awo ettayo, n'oba ng'ebibuga ebitakyabeeramu bantu, bwe ndikubunduggulako ennyanja, amazzi amangi ne gakubuutikira,
20
kale ndikuserengesa mu bafu abakkirira emagombe, eri abantu ab'emirembe egy'edda. Ndikuteeka ku ntobo y'ensi ekuzimu, mu bifo ebyafuuka edda amatongo, obe wamu n'abafu abali emagombe, olemenga kusengebwangamu, wadde okubalirwanga mu nsi y'abalamu.
21
Ndikutuusa ku nkomerero etiisa, oggweewo, ne bwe balikunoonya batya, oleme kuddayo kulabikako ennaku zonna.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba.
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 27 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48