bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ezekiel 7
Ezekiel 7
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 8 →
1
Awo Mukama n'aŋŋamba nti:
2
“Ggwe omuntu, Mukama Katonda agamba ensi ya Yisirayeli nti: enkomerero etuuse ku nsi eno yonna.
3
Kaakano enkomerero yo etuuse, era nja kukulaga obusungu bwange, nkusalire omusango nga nsinziira ku ebyo bye wakola, nkubonereze olw'ebyenyinyalwa byonna bye wakola.
4
Sirikusaasira wadde okukukwatirwa ekisa, naye ndikubonereza olw'ebyenyinyalwa byonna bye wakola, olyoke otegeere nga Nze Mukama.”
5
Mukama Katonda agamba nti: “Akabi kajja, era kaddirirwe akabi, kaako katuuse!
6
Enkomerero etuuse, ddala etuuse era ejjiridde ggwe, yiiyo etuuse!
7
Mmwe abatuuze b'omu nsi eno, akabi kaboolekedde. Ekiseera kituuse, olunaku lusembedde, olunaku olw'okubonaabona, sso si olw'okujaganyizaako ku nsozi!
8
“Kaakano nnaatera okukulaga obusungu bwange, nkumalireko ekiruyi kyange, nkusalire omusango okusinziira ku nneeyisa yo, era nkubonereze olw'ebyenyinyalwa byonna bye wakola.
9
Sijja kukusaasira wadde okukukwatirwa ekisa. Nja kukubonereza olw'ebyenyinyalwa bye wakola. Kale mulimanya nga Nze Mukama, era nga Nze mbonereza.”
10
Laba olunaku luuluno lutuuse. Okusalirwa omusango kutuuse. Okukola eby'obukambwe kweyongedde. Okwekulumbaza kuyitiridde.
11
Okukola eby'obukambwe kweyongedde, ne kuviiramu abantu okukola akabi ku balala. Ku byabwe tewaliba kisigalawo, ka bube bungi bwabwe, ka bube bugagga bwabwe, era ku bo tewaliba mulungi wadde waakitiibwa asigalawo.
12
Ekiseera kituuse, olunaku lusembedde, agula aleme kusanyuka, wadde atunda okunakuwala, kubanga Mukama asunguwalidde bonna.
13
Omusuubuzi talisobola kuddamu kufuna by'afiiriddwa ne bw'aliwangaala, kubanga obusungu bwa Mukama butwaliramu bonna, era tewali alinyweza bulamu bwe nga yeesigamye ku kukola bibi.
14
Bafuuye eŋŋombe bonna okwetegeka, naye tewali agenda mu lutalo, kubanga Mukama abasunguwalidde bonna.
15
Waliwo okuttiŋŋana ebweru, n'abali munda bafa endwadde n'enjala. Ali mu ttale alittibwa enjala n'endwadde.
16
Naye n'abo abaliwonawo ne baddukira ku nsozi, baliba nga bukaamukuukulu obutidde mu biwonvu ne buddukayo. Bonna balinakuwala, buli omu ng'anyolwa olw'ebibi bye.
17
Emikono gyabwe giriyongobera, amaviivi gaabwe ne gatekemuka, ne gakubagana.
18
Balyambala ebikutiya ne bakwatibwa ensisi. Balimwa emitwe gyabwe gyonna, ne bawulira ensonyi n'okuswala.
19
Balisuula ffeeza waabwe mu nguudo, beggyeko ne zaabu waabwe ng'ekitagasa, kubanga zaabu ne ffeeza tebiriyinza kubawonya, ku lunaku Mukama lw'aliragirako obusungu bwe. Ensimbi zaabwe tebalizikozesa kwekkusa na kumatira, kubanga ze zaabaviirako okugwa mu bibi.
20
Mukama yazibawa bakolemu ebintu ebiyonjo ebyekitiibwa, naye bo baakolamu bifaananyi ebitasaana, na bintu byabwe ebyenyinyalwa. Mukama kyavudde aleka zibafuukire ekintu ekitali kirongoofu.
21
Mukama agamba nti: “Ndireka abagwira okunyaga ebyobugagga ebyo, n'abamenyi b'amateeka mu nsi eyo okubifuula omugabo gwabwe n'okubyonoona.
22
Siritunulanayo nga boonoona Ekifo kyange Ekitukuvu, era abanyazi baliyingiramu ne bakyonoona, ne bakifuula matongo.
23
“Kola olujegere, kubanga ensi ejjudde emisango gy'obutemu, n'ekibuga kijjudde ebikolwa eby'obukambwe.
24
Kyendiva ndeeta abagwira abasinga obubi, ne beefunira amaka gammwe, era ndikomya okwekuza kw'abalwanyi bammwe ab'amaanyi, n'ebifo byammwe mwe musinziza biryonoonebwa.
25
Okuzikirira kujja, era balinoonya emirembe, naye nga tegiriiwo.
26
Akabi kaliddirira akabi, n'eŋŋambo ne ziddirira eŋŋambo. Balisaba abalanzi okubamanyisa bye bafunidde mu kulabikirwa, naye kabona aliba takyalina mateeka g'ayigiriza bantu, n'abakadde balibulwa amagezi ge bawa abantu.
27
Kabaka alikungubaga, n'abakungu baliggwaamu essuubi. Abantu balikankana olw'okutya. Ndibabonereza okusinziira ku byonna bye baakola. Ndibasalira omusango nga bwe bagusalidde abalala. Olwo balimanya nga Nze Mukama.”
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48