bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ezekiel 17
Ezekiel 17
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 18 →
1
Awo Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti:
2
“Ggwe omuntu, buulira Abayisirayeli olugero luno,
3
bamanye Nze Mukama Afugabyonna kye mbagamba: Empungu ennene, erina ebyoya ebingi ebya langi ennyingi, erina n'ebiwaawaatiro ebinene era ebiwanvu, yajja ku lusozi Lebanooni, n'eggyayo akatabi akasembayo waggulu ku mutwe gw'omuvule.
4
N'ekatwala mu nsi erimu obusuubuzi, n'ekasimba mu kibuga ky'abasuubuzi.
5
Era n'etwala n'akalokwa k'omuzabbibu ogw'omu nsi Yisirayeli, n'ekasimba mu ttaka eggimu awali amazzi amangi agaakayamba okukula.
6
Ne kakwata bulungi, ne kavaamu omuzabbibu ogukulira wansinsi, ne gulanda, ne gwagaagala. Amatabi gaagwo ne gatunula waggulu empungu eyo gy'eri, emirandira ne gisimba wansi mu ttaka. Omuzabbibu ne guleeta amatabi, ne gujjula amakoola.
7
“Waaliwo n'empungu ennene endala, ng'erina ebiwaawaatiro binene n'ebyoya bingi. Awo olwatuuka, omuzabbibu ogwo ne guweta emirandira gyagwo okugiggya mu nnimiro mwe gwasimbibwa, okugizza empungu eyo endala gy'eri. Ne gukyusa n'amatabi gaagwo okugatunuza gy'eri egufukirirenga amazzi,
8
sso nga gwali gusimbiddwa mu ttaka ddungi awali amazzi amangi, gusuule amatabi era gubale ebibala, gubeere nga omuzabbibu omulungi.
9
“Bagambe nti: ‘Mukama Afugabyonna abuuza nti omuzabbibu ogwo guliba bulungi? Empungu eyagusimba terigukuulayo n'emirandira gyagwo, n'esalako ebibala byagwo, n'amatabi gaagwo, amakoola gaagwo gonna amabisi gawotoke? Tekiryetaagisa na maanyi mangi, wadde abantu abangi okugukuulayo n'emirandira gyagwo.
10
Ogwo gw'olaba, bwe gusimbibwa guyinza okudda obulungi? Teguukalire ddala nga gufuuyiddwako empewo z'ebuvanjuba? Gulikalira mu nnimiro mwe gusimbiddwa okukulira.’ ”
11
Era Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti:
12
“Buuza abantu b'eggwanga lino ejjeemu, oba nga bategeera amakulu g'olugero luno. Babuulire nti Kabaka w'e Babilooniya yajja e Yerusaalemu n'awamba Kabaka waayo n'abakungu baayo, n'agenda nabo, n'addayo e Babilooniya.
13
N'atwala omu ku b'olulyo olulangira, n'akola naye endagaano, era n'amulayiza okuba omwesigwa gy'ali. N'aggyayo abantu ab'amaanyi ab'omu nsi eyo,
14
obwakabaka obwo bukkakkane buleme okwegugunga, naye bukuume endagaano busobole okunywera.
15
Kyokka Kabaka wa Buyudaaya n'ajeema, n'atuma ababaka be mu Misiri, okufunayo embalaasi n'eggye eddene. Kabaka oyo aliba bulungi? Omuntu akola ebiri ng'ebyo ayinza okuwona? Ayinza okumenya endagaano, n'atabonerezebwa?”
16
Mukama agamba nti: “Ndayira nti nga bwe ndi omulamu, kabaka oyo alifiira Babilooniya, kubanga yamenya endagaano gye yakola ne Kabaka w'e Babilooniya eyamuteeka ku ntebe y'obwakabaka.
17
Era ne kabaka w'e Misiri, n'eggye lye ery'amaanyi ery'abaserikale be abangi, talisobola kumuyamba mu lutalo, ab'e Babilooniya bwe balituuma ebbibiro, ne bazimba ebigo okuzikiriza abantu bangi.
18
Taliwona kubanga yanyooma ekirayiro ye yennyini kye yakola, n'amenya endagaano ey'okuba omwesigwa, n'akola ebyo byonna.”
19
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Mazima ndayira nti nga bwe ndi omulamu, ndimubonereza olw'okumenya endagaano gye yakola ng'alayira erinnya lyange nti aligituukiriza.
20
Ndimutega ne mmukwasa mu kitimba kyange, ne mmutwala e Babilooniya, ne mmubonerereza eyo, kubanga yagaana, okuba omwesigwa gye ndi.
21
Ab'omu magye ge abadduka, balittirwa mu lutalo, n'abo abalisigalawo balibuna emiwabo. Olwo mulimanya nga nze Mukama.”
22
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Nditwala akatabi akato akasembayo waggulu ku mutwe gw'omuvule, ne nkasimba ku lusozi oluwanvu olugulumivu.
23
Ku lusozi lwa Yisirayeli olusingira ddala obuwanvu kwe ndikasimba, kakule kasuule amatabi era kabale ebibala, kafuuke omuti amakula; ebinyonyi ebya buli ngeri bijje byewogomenga mu kisiikirize ky'amatabi gaagwo.
24
Emiti gyonna egy'omu ttale gimanye nga Nze Mukama mpeta emiti emiwanvu, ne mpanvuya emimpi. Era nkaza omuti omubisi ne ntojjeza omuti omukalu. Nze Mukama, nze njogedde, era kye njogedde, nkikoze.”
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48