bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ezekiel 41
Ezekiel 41
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 40
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 42 →
1
Awo omusajja n'antwala mu Ssinzizo, n'apima emyango gy'omulyango, ne giba mita ssatu ku ludda olumu, ne mita ssatu ku ludda olulala. Obwo bwe bwali obugazi bw'emyango.
2
Omulyango gwennyini, gwali mita ttaano obugazi. Ekibajjo ekimu eky'oluggi, kyali mita bbiri n'ekitundu, n'ekirala mita bbiri n'ekitundu. N'apima Essinzizo lyennyini, ne liba mita amakumi abiri obuwanvu, ne mita kkumi obugazi.
3
Awo n'ayingira mu kisenge ekyomunda ddala, n'apima emyango gy'omulyango, ne giba mita emu obugazi, n'obugazi bw'omulyango ne buba mita ssatu, n'ebisenge eby'ebbali n'ebbali mita ssatu n'ekitundu.
4
N'apima ekisenge ekyo kyennyini ekyomunda ddala. Kyali mita kkumi ku kkumi obuwanvu n'obugazi. Ekisenge kino kye kyali kisemberayo ddala munda mu Ssinzizo. Awo n'aŋŋamba nti: “Kino kye kifo ekitukuvu ennyo.”
5
Awo omusajja n'apima obunene bw'omubiri gw'ekisenge ky'ekizimbe ky'Essinzizo. Kyali kya mita ssatu. Ku mbiriizi z'ekisenge ekyo okwetooloola Essinzizo lyonna, baali bazimbiddeko obusenge, nga buli kamu ka mita bbiri obugazi.
6
Obusenge obwo obw'oku mbiriizi z'Essinzizo, bwali bwa kalina ssatu, nga buli mwaliiro gwa kalina, guliko obusenge amakumi asatu. Bwayingira mu kisenge eky'ennyumba ey'obusenge obwo obw'omu mbiriizi enjuyi zonna, bukwate omwo, naye buleme kukwata mu kisenge eky'Essinzizo.
7
Okwetooloola Essinzizo lyonna, akasenge k'omu mbiriizi zaalyo ak'omu kalina emu, kaabanga kagazi okusinga kannewaako ak'omu kalina eddirira wansi, kubanga okwetooloola Essinzizo, ekisenge kyalyo kyagendanga kifunda okudda waggulu. Obugazi bw'obusenge kyebwavanga bweyongera, ng'odda waggulu. Bwe batyo baalinnyanga okuva mu kalina eya wansi okutuuka mu ya waggulu, nga bayita mu kalina eya wakati.
8
Era ne ndaba ng'Essinzizo lyali ku kigulumu enjuyi zonna. Emisingi gy'ennyumba eya kalina ey'omu mbiriizi, gyali olumuli lulamba olwa mita ssatu obuwanvu.
9
Obugazi bw'ekisenge eky'ebweru w'ennyumba eya kalina ey'omu mbiriizi z'Essinzizo bwali mita bbiri n'ekitundu, era wakati w'ennyumba ey'obusenge obw'omu mbiriizi z'Essinzizo,
10
n'amayumba ag'omu luggya, waaliwo olukuubo lwa mita kkumi obugazi okwetooloola Essinzizo enjuyi zonna.
11
Ennyumba ey'obusenge obw'omu mbiriizi z'Essinzizo, yaggulirwanga mu lukuubo olwo, oluggi olumu nga lutunudde mu bukiikakkono, n'oluggi olulala mu bukiikaddyo, n'olukuubo olwo olwasigalawo lwali lwa mita bbiri n'ekitundu enjuyi zonna.
12
Ekizimbe ekyali kitunudde mu lukuubo olwo ku ludda olw'ebugwanjuba, kyali kya mita amakumi ana mu ttaano obuwanvu, ne mita asatu mu ttaano obugazi, n'ebisenge byakyo nga birina omubiri gwa mita bbiri n'ekitundu obunene enjuyi zonna.
13
Awo omusajja n'apima ekizimbe kyonna eky'Essinzizo. Kyali mita amakumi ataano obuwanvu. N'apima n'okuva emabega w'ekizimbe ky'Essinzizo, okutuukira ddala ekizimbe eky'omu bugwanjuba we kikoma. Obuwanvu bwawo nabwo bwali mita amakumi ataano.
14
Obukiika obw'omu maaso g'Essinzizo ku ludda olw'ebuvanjuba, wamu n'enkuubo ku njuyi zombi, ez'Essinzizo, nabwo bwali mita amakumi ataano.
15
N'apima n'obuwanvu bw'ekizimbe ekitunudde mu lukuubo olw'emmanju w'Essinzizo wamu n'ebisenge byakyo erudda n'erudda. Nabwo bwali mita amakumi ataano. Akasenge k'ovaamu okuyingira mu Ssinzizo, n'ekisenge ekinene kyennyini eky'Essinzizo, era n'Ekifo Ekitukuvu Ennyo
16
byali bibikkiddwako embaawo ku bisenge, okuva wansi okutuuka ku madirisa. Amadirisa ago gaali gabikkiddwako.
17
Ebisenge byonna eby'enjuyi zonna, ebyomunda n'ebweru w'Essinzizo, okutuuka ku bbanga eryali waggulu w'enzigi,
18
byali byoleddwako ebifaananyi by'enkindu n'eby'abakerubi, buli lukindu nga luli wakati w'omukerubi n'omukerubi, ate nga buli kerubi alina obwenyi bubiri:
19
obwenyi obw'omuntu obutunuulidde olukindu ku ludda olumu, n'obwenyi obw'empologoma obutunuulidde olukindu ku ludda olulala. Bwe bityo bwe byakolebwa okubuna ebisenge by'Essinzizo byonna ku njuyi zonna,
20
okuva wansi okutuuka waggulu w'enzigi. Ebifaananyi bya bakerubi n'eby'enkindu, byayolebwa ku bisenge.
21
Emyango gy'emiryango gy'ekisenge ekinene kyennyini eky'Essinzizo, gyali gyenkanankana enjuyi zonna. Mu maaso g'ekisenge ekyo waaliwo ekintu ekifaanana nga
22
alutaari ey'embaawo. Kyali kya mita emu n'ekitundu obugulumivu, ne mita emu obugazi. Ensonda zaakyo, n'empagi zaakyo n'ebisenge byakyo byali bya mbaawo. Omusajja n'aŋŋamba nti: “Eno ye mmeeza eri mu maaso ga Mukama.”
23
Waaliwo oluggi oluyingira mu kisenge ekinene kyennyini eky'Essinzizo, n'oluggi oluyingira mu Kifo Ekitukuvu ennyo.
24
Enzigi ezo zaali za biwayi bibiri buli lumu, ebyewuubanga nga zeggula.
25
Era ku nzigi ezo ez'Essinzizo, kwayolebwako ebifaananyi bya bakerubi n'eby'enkindu, ng'ebyayolebwa ku bisenge. Era ebweru ku bwenyi bw'akasenge k'ovaamu okuyingira mu luggya, kwabikkibwako embaawo ez'omubiri omunene.
26
Ebisenge by'akasenge ako eby'erudda n'erudda, byalina amadirisa agataggulwa, agaliko ebifaananyi by'enkindu. Obusenge obwazimbibwa mu mbiriizi z'Essinzizo, bwe bwali bwe butyo n'embaawo ez'omubiri omunene.
← Chapter 40
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 42 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48