bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ezekiel 12
Ezekiel 12
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 13 →
1
Era Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti:
2
“Ggwe omuntu, obeera mu bantu abajeemu. Balina amaaso, naye tebalaba. Balina amatu naye tebawulira, kubanga bajeemu.
3
“Kale kaakano, ggwe omuntu, siba omugugu, ng'omuntu adduka okunoonya obubudamo gwe yandisibye, osituke osenguke misana ng'abantu balaba. Osenguke mu kifo kyo, odde mu kifo ekirala, nga balaba. Oboolyawo banaabaako kye balabukamu, newaakubadde nga bajeemu.
4
Era emisana nga balaba, siba ebintu, ng'omuntu adduka okunoonya obubudamo, ositule oveeyo akawungeezi nga balaba, ogende ng'abantu bwe bava ewaabwe okugenda mu buwaŋŋanguse.
5
Kuba ekituli mu kisenge, oyiseemu ebintu byo nga balaba.
6
Bisitulire ku kibegabega kyo nga bakulaba, obifulumye ekizikiza nga kikutte era nga weebisse ku maaso, nga tolaba gy'olaga, kubanga nkutaddewo obe akabonero akalabula Abayisirayeli.”
7
Awo ne nkola nga Mukama bwe yandagira. Ku olwo, naggyamu ebintu byange, ne nsiba omugugu ng'omuntu agenda mu buwaŋŋanguse. Akawungeezi ako, nze nzennyini ne nkuba ekituli mu kisenge, ne nfulumya ebintu byange ng'obudde bukwata, ne mbisitulira ku kibegabega kyange ng'abantu balaba.
8
Awo enkeera Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti:
9
“Ggwe omuntu, Abayisirayeli abajeemu, tebakubuuzizza nti: ‘Okola ki?’
10
Bategeeze ekyo Nze Mukama Afugabyonna kye ŋŋamba nti: ‘Obubaka buno bwa kabaka afuga mu Yerusaalemu, era bwa Bayisirayeli bonna abali mu Yerusaalemu omwo.’
11
Bategeeze nti ky'okoze, ke kabonero k'ekyo ekigenda okubatuukako: baligobebwa ewaabwe, ne bagenda mu buwaŋŋanguse.
12
Ne kabaka afuga mu bo alisitulira omugugu gwe ku kibegabega mu kizikiza, n'afuluma. Balikuba ekituli mu kisenge okuyisaamu ebintu okubifulumya. Kabaka alyebikka ku maaso n'atalaba kkubo ly'akwata kugenda.
13
Era ndimutega ne mmukwasa mu kitimba kyange. Ndimutwala e Babilooni, mu nsi y'Abakaludaaya, gy'alifiira nga talabye kibuga ekyo.
14
Ndisaasaanyiza buli ludda abo bonna abamwetoolodde okumuyamba, n'abagoberezi be bonna, era nditeekawo abantu ababawondera okubatta.
15
“Bwe ndibasaasaanyiza mu mawanga amalala ne mbabunya mu nsi nnyingi, balimanya nga Nze Mukama.
16
Naye ndirekawo abamu ku bo abatonotono, abaliwona okuttibwa mu lutalo, n'okuttibwa enjala, n'endwadde, balyoke bategeere, nga bali eyo mu mawanga, nga bye baakola byali byenyinyalwa, era bamanye nga Nze Mukama.”
17
Era Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti:
18
“Ggwe omuntu, emmere yo girye ng'okankana, n'amazzi oganywe ng'ojugumira, era nga weeraliikirira,
19
ogambe abantu ab'omu nsi eno nti: ‘Mukama Afugabyonna agamba abo abali mu Yerusaalemu, mu nsi ya Yisirayeli nti balirya emmere nga beeraliikirira, era balinywa amazzi nga bali mu kutya. Ensi yaabwe eriggyibwamu byonna ebirimu, kubanga bonna abagibeeramu bakoze ebitasaana.
20
N'ebibuga ebirimu abantu kaakano birizikirizibwa, ensi n'efuulibwa amatongo. Olwo balimanya nga Nze Mukama.’ ”
21
Awo Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti:
22
“Ggwe omuntu, lugero ki luno lwe mulina mu nsi ya Yisirayeli lwe mugera nti: ‘Ebiseera biyita, naye ebiragibwa mu kulabikirwa ne bitatuukirira.’
23
Kale kaakano bategeeze nti Nze Mukama Afugabyonna ndikomya olugero olwo. Tebaliddayo kulukozesa mu Yisirayeli. Naye bagambe nti: ‘Ennaku zinaatera okutuuka, ekyalagibwa mu kulabikirwa kituukirizibwe.
24
Kubanga mu Yisirayeli tewaliddayo kubaawo kulabikirwa okw'obwereere, wadde obulanzi obw'okubuzaabuza.
25
Nze Mukama, nze nnaayogeranga, era kye ŋŋamba, kinaatuukirizibwanga. Wanaabanga tewakyaliwo kulwa, naye mu kiseera kyammwe, bajeemu mmwe, kye njogera ndikituukiriza.’ Bwe ntyo bwe ŋŋambye, Nze Mukama Afugabyonna.”
26
Era Mukama n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti:
27
“Ggwe omuntu, laba, ab'omu nsi ya Yisirayeli bagamba nti by'olaba mu kulabikirwa si bya kutuukirira mu nnaku zino, era ne by'olanga bya mu biseera ebikyali ewala.
28
Kale bagambe nti Nze Mukama Afugabyonna ŋŋamba nti: ‘Mu bye njogedde, tewali kinaayongera kulwawo, naye buli kye njogera, kijja kutuukirira. Bwe ntyo, Nze Mukama, Katonda, bwe ŋŋambye.’ ”
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48