bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ezekiel 18
Ezekiel 18
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 19 →
1
Mukama era n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti:
2
“Mubadde mutya abagera olugero luno mu nsi ya Yisirayeli nga mugamba nti: ‘Abazadde baalya enkenene ezikambagga, amannyo g'abaana ne ganyenyeera?’
3
Nze Mukama Afugabyonna ndayira nti nga Nze bwe ndi omulamu, mpeze olugero olwo, temuliddayo kulukozesa mu Yisirayeli.
4
Nze nfuga obulamu bwa buli muntu, obw'omuzadde n'obw'omwana. Oyo anaakolanga ekibi ye anaafanga.
5
“Omuntu omulungi ye oyo atuukiriza by'alagirwa okukola.
6
Tasinza bitali Nze Katonda, ab'Eggwanga lya Yisirayeli bye basinza, wadde okuliira ku nsozi ebyo bye babitambirira. Tasigula muka munne, era teyeebaka na mukazi ali mu biseera bye ebya buli mwezi.
7
Talyazaamaanya muntu n'omu, era tabaako gw'anyagako bibye. Omuntu amwewolako amuddiza omusingo gwe. Abayala abawa ebyokulya, n'abali obwereere abawa ebyokwambala.
8
Tawola lwa kufunamu magoba na kwegaggawaza. Takkiriza kukola kibi, era asala emisango gy'abantu mu bwenkanya.
9
Akwata amateeka gange, era atuukiriza bye nalagira. Oyo ye muntu omulungi, era talirema kuba mulamu.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba.
10
“Naye omuntu oyo, omwana we ayinza okuba omwana omunyazi era omutemu,
11
era atatuukiriza by'agwanidde kukola, wabula aliira mu bifo eby'oku nsozi ebyawerebwa, era asigula baka banne.
12
Omwana ayinza okulyazaamaanya abaavu n'abali mu bwetaavu, omuntu amwewolako n'atamuddiza musingo gwe, n'agenda mu masabo, n'asinza ebyo ebitali Nze Katonda, era n'akola ebyenyinyalwa,
13
n'awola ensimbi olw'okufuna amagoba n'okwegaggawaza. Oyo aliba mulamu? Nedda, taliba mulamu. Akoze ebyenyinyalwa ebyo byonna, talirema kufa, nga ye yennyini ye yeereetedde okufa okwo.
14
“Naye ka tugambe nti ow'engeri eyo alina omwana, omwana n'alaba ebibi kitaawe by'akola, wabula n'atya, ye n'atabikola:
15
n'atasinza bitali Nze Katonda, ab'Eggwanga lya Yisirayeli bye basinza, era n'ataliira ku nsozi bye babitambirira; n'atasigula muka munne,
16
wadde okubaako gw'alyazaamaanya; n'atabaako musingo gw'atwala wadde okubaako ky'anyaga olw'amaanyi, kyokka n'agabiranga abayala emmere, n'abali obwereere n'abawanga ebyokwambala.
17
Ne yeewala okuyisa obubi abaavu, era n'atakkiriza kuwola lwa kufuna magoba na kwegaggawaza; n'akwata amateeka gange era n'atuukiriza bye ndagira, oyo talifa lwa bibi bya kitaawe, wabula ddala aliba mulamu.
18
Kitaawe nga bwe yayisa obubi, era n'anyaga bantu banne n'obukambwe, n'akola ebyo ebitali birungi mu banne, oyo alifiira mu bibi bye.
19
“Naye mwebuuza nti: ‘Omwana lwaki tavunaanibwa bibi bya kitaawe?’ Omwana bw'aba ng'akoze ebituufu by'agwanira okukola, era ng'akutte amateeka gange gonna n'agatuukiriza, talirema kuba mulamu.
20
Omuntu akola ebibi ye alifa. Omwana taavunaanibwenga lwa bibi bya muzadde we, n'omuzadde taavunaanibwenga lwa bibi bya mwana we. Omuntu omulungi anaaweebwanga empeera olw'ebirungi by'akola, n'omwonoonyi anaavunaanibwanga olw'ebibi bye.
21
“Naye omuntu omubi bw'anaakyukanga n'alekayo ebibi bye byonna bye yakola, n'akwata amateeka gange gonna, n'akola ebituufu bye ndagira, talifa, mazima aliba mulamu.
22
Ebibi bye byonna bye yakola birimusonyiyibwa, n'aba mulamu, kubanga akoze ebituufu.
23
Mulowooza nga nsanyukira okufa kw'omwonoonyi? Nedda, wabula njagala yeenenye, abe mulamu.” Mukama Katonda bw'atyo bw'agamba.
24
“Kyokka omuntu omulungi bw'akyuka n'alekayo okuba omulungi, n'akola ebibi, era ebyenyinyalwa byonna, abantu ababi bye bakola, aliba mulamu? Nedda, tewali na kimu ku bikolwa bye ebirungi bye yakola, ekirijjukirwa. Alifa olw'obutakuuma bwesigwa, n'olw'ebibi by'akoze.
25
“Naye mmwe mugamba nti: ‘Mukama ky'akola si kya bwenkanya.’ Muwulire mmwe ab'Eggwanga lya Yisirayeli. Kye nkola si kya bwenkanya? Enkola yammwe ye eteri ya bwenkanya.
26
Omuntu omulungi bw'akyuka n'alekayo okuba omulungi, n'akola ebibi, n'afiira mu byo, aba afudde lwa bibi bye by'akoze.
27
Naye omubi bw'akyuka, n'aleka ebibi by'akoze, n'akola ebyo ebituufu ebyalagirwa, aliwonya obulamu bwe,
28
kubanga aba yeerowoozezza n'alekayo ebibi bye byonna by'akoze. N'olwekyo talifa, wabula aliba mulamu.
29
Naye mmwe ab'Eggwanga lya Yisirayeli ne mugamba nti: ‘Mukama ky'akola si kya bwenkanya?’ Yii, mmwe ab'Eggwanga lya Yisirayeli, kye nkola kye kitali kya bwenkanya? Nedda. Enkola eyammwe ye eteri ya bwenkanya.
30
“Kale Nze Mukama Afugabyonna, mbagamba mmwe ab'Eggwanga lya Yisirayeli nti ndisalira buli omu ku mmwe omusango nga nsinziira ku by'akoze. Mukyuke, muve mu bibi byammwe byonna, ebibi byammwe ebyo bireme kubazikiriza.
31
Mweggyeeko ebibi byammwe byonna bye mukoze, mufune omutima omuggya n'omwoyo omuggya. Mmwe ab'Eggwanga lya Yisirayeli, lwaki mwagala okufa?
32
Nze sisanyukira n'omu kufa. Kale mukyuke muve mu bibi byammwe, mube balamu.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48