bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ezekiel 36
Ezekiel 36
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 35
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 37 →
1
“Era ggwe omuntu, langirira ensozi z'omu Yisirayeli ozigambe nti: ‘Mmwe ensozi za Yisirayeli, muwulire ebyo, Mukama by'agamba,
2
Mukama Afugabyonna agamba nti: Abalabe bo ggwe Yisirayeli bakwewaaniddeko ne bagamba nti: Otyo, kakubye! Kaakano ensozi ezo ez'edda zaffe, tuzeefunidde!’
3
“Kale langa, olangirire ekyo, Nze Mukama Afugabyonna kye ŋŋamba. Abantu ab'amawanga agabeetoolodde baabafuula matongo, ne babanyaga okuva ku njuyi zonna, mufuuke bitundu bya mawanga ago, era ne babanyooma nga babavuma.
4
N'olwekyo muwulire ebyo, Nze Mukama Afugabyonna bye ŋŋamba mmwe ensozi z'omu Yisirayeli, nammwe obusozi, obugga n'obuwonvu bwamu, nammwe ebibuga ebyalekebwawo nga munyaguluddwa era ebisekererwa amawanga amalala, agabyetoolodde.
5
“Nze, Mukama Afugabyonna, njogedde nga nsunguwalidde nnyo ab'amawanga agaliraanyeewo, naddala erya Edomu, abeegabira ensi yange ne bagifuula eyaabwe nga bajjudde essanyu n'obunyoomi olw'okugifuula omunyago!
6
“Kale langa ebifa ku nsi ya Yisirayeli, otegeeze ensozi n'obusozi, obugga n'ebiwonvu, ekyo Nze Mukama Afugabyonna kye ŋŋamba nga nnina obusungu n'obuggya, kubanga byaswazibwa ab'amawanga amalala.
7
Nze Mukama Afugabyonna ndayira, nti mazima ab'amawanga agabeetoolodde be baliswazibwa.
8
Naye mmwe ensozi z'omu Yisirayeli, mulibeerako emiti, ne gisuula amatabi gaagyo, ne gibalira abantu bange Abayisirayeli ebibala, kubanga banaatera okudda.
9
Mumanye nga nze ndi ku ludda lwammwe, era nja kufaayo okulaba nga mulimibwa era nga musigibwamu ensigo.
10
Ndyaza abantu ababeera mu mmwe, Eggwanga lya Yisirayeli lyonna. Ebibuga biribaamu abantu, era buli kifo ekyafuuka amatongo, kirizimbibwa buggya.
11
Omuwendo gw'abantu ababeera mu mmwe era n'ogw'ensolo, ndigwongerako obungi. Abantu baliba bangi n'okusinga abaaliwo mu mmwe edda, era balizaala abaana bangi. Ndibafuula mmwe ensi ebeerekamu, n'okusinga we mwasookera okusengebwamu. Olwo mulimanya nga Nze Mukama.
12
Ndireka abantu bange Abayisirayeli ne bababeeramu, ne muba ensi eyaabwe ku bwabwe, era temuliddayo kubattira baana baabwe.
13
“Nze Mukama Afugabyonna ŋŋamba nti: ‘Abantu bagambe nti ggwe Yisirayeli, oli nsi etta abantu baayo n'efiiriza eggwanga lyayo.’
14
Naye okuva kati toliddayo kutta bantu, wadde okufiiriza eggwanga lyo. Bwe ntyo bwe ŋŋamba nze, Mukama Afugabyonna.
15
Sirikuleka kwongera kuwulira ng'amawanga amalala gakusunga, wadde ng'abantu bakuvuma, era toliddamu kufiiriza ggwanga lyo. Nze Mukama Afugabyonna, njogedde.”
16
Mukama era n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti:
17
“Ggwe omuntu, ab'Eggwanga lya Yisirayeli bwe baali mu nsi yaabwe, baagyonoonera mu ngeri gye beeyisangamu, ne mu bikolwa byabwe. Engeri gye beeyisangamu, nagirabanga nga njama ng'ebiwero ebikozeseddwa omukazi ali mu biseera bye ebya buli mwezi.
18
Nabamalirako obusungu bwange, olw'obutemu bwe baali bakoledde mu nsi eyo, era kubanga baali bagyonoonye nga basinza ebitali Nze Katonda.
19
Nabasalira omusango olw'engeri gye baali beeyisaamu, n'olw'ebikolwa byabwe, ne mbasaasaanya mu mawanga mangi.
20
Mu buli ggwanga gye baagendanga, baavumisanga erinnya lyange ettukuvu, kubanga abantu baaboogerangako nti: ‘Bano bantu ba Lubaale gwe bayita Mukama, kyokka bavudde mu nsi ye!’
21
Ne nnumirwa erinnya lyange ettukuvu, ab'Eggwanga lya Yisirayeli lye baali bavumisizza mu mawanga gye baagenda.
22
“Kale kaakano tegeeza ab'Eggwanga lya Yisirayeli ekyo Nze Mukama Afugabyonna kye ŋŋamba nti: ‘Kye ŋŋenda okukola, sikikola ku lwammwe, mmwe ab'Eggwanga lya Yisirayeli, naye ku lwa linnya lyange ettukuvu, lye muvumisizza mu mawanga gye mwagenda.
23
Ndiraga amawanga erinnya lyange eryekitiibwa bwe liri ettukuvu, mmwe lye mwavumaganyisa mu go. Olwo amawanga ago galimanya nga Nze Mukama. Nze Mukama Afugabyonna, njogedde. Bye ndikolera mmwe, bye birigalaga bwe ndi omutuukirivu.
24
Ndibakuŋŋaanya mmwe, ne mbaggya mu buli nsi ne mu buli ggwanga, ne mbakomyawo mu nsi eyammwe ku bwammwe.
25
Era ndibamansirako amazzi amayonjo, ne muba balongoofu nga mbatukuzza ne mbaggyako obujama bwonna, n'okusinza ebitali Nze Katonda.
26
“ ‘Era ndibawa omutima omuggya, ne nteeka omwoyo omuggya mu mmwe. Ndiggya mu mmwe omutima gwammwe omukakanyavu ng'ejjinja, ne mbateekamu omutima omugonvu era omuwulize.
27
Ndibateekamu omwoyo ogwange era ndifaayo okulaba nga mukuuma amateeka gange gonna, era nga mukola byonna bye mbalagira.
28
Olwo munaabeeranga mu nsi gye nawa bajjajjammwe. Munaabanga bantu bange, nze ne mba Katonda wammwe.
29
Era ndibaggyako buli ekibafuula abatali balongoofu. Ndibasobozesa okweza eŋŋaano n'eba nnyingi, ne mutaddayo kulumbibwa njala.
30
Ndibawa ekyengera, eky'ebibala eby'oku miti n'eby'omu nnimiro, mulemenga kuba na njala ya kubaswaza mu mawanga malala.
31
Olwo munajjukiranga enneeyisa yammwe eteri nnungi n'ebikolwa byammwe ebibi, ne mwetamwa olw'ebibi byammwe n'olw'ebikolwa ebyenyinyalwa bye mwakola.
32
Mmwe ab'Eggwanga lya Yisirayeli, njagala mumanye nti sikola kino ku lwammwe. Njagala mukwatibwe ensonyi, muswale, olw'ebyo bye mwakolanga.’ Nze, Mukama Afugabyonna, njogedde.”
33
Awo Mukama Afugabyonna n'agamba nti: “Bwe ndibatukuza ne mbaggyako ebibi byammwe byonna, ndibaleka ne muddamu okubeeranga mu bibuga byammwe, n'okuzimba obuggya buli kintu ekyafuuka amatongo.
34
Buli eyayitanga ku nnimiro zammwe, yalabanga nga zizise zifuuse nsiko, naye ndibaleka mmwe ne muddamu okuzirima.
35
Buli muntu aligamba nti: ‘Ensi eno eyali erekeddwawo ettayo, efuuse ng'ennimiro y'e Edeni, n'ebibuga ebyali birekeddwawo ne bizika, kati bikoleddwako enkomera, abantu ne babibeeramu!’
36
Kale olwo ab'amawanga agabeetoolodde abaliba basigaddewo, balimanya nga nze, Mukama, nze nzimbye obuggya ebifo ebyamenyebwawo, era nze nsimbye ennimiro ezaalekebwa awo. Nze Mukama nkyogedde, era ndikituukiriza.”
37
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Ndiddamu okukkiriza ab'Eggwanga lya Yisirayeli okunsabanga mbeeko kye mbakolera, era ndireka abantu ba Yisirayeli ne beeyongera okuba abangi ng'eggana ly'endiga.
38
Ebibuga ebyalekebwa awo ne bizika, birijjula abantu, nga Yerusaalemu bwe kyajjulanga endiga ez'okutambira mu mbaga zaakyo ezaalagirwa. Olwo balimanya nga Nze Mukama.”
← Chapter 35
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 37 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48