bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ezekiel 16
Ezekiel 16
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 17 →
1
Awo Mukama era n'ayogera nange, n'agamba nti:
2
“Ggwe omuntu, manyisa Yerusaalemu ebyenyinyalwa bye kikola,
3
okigambe nti: ‘Mukama Afugabyonna akugamba ggwe Yerusaalemu nti wazaalibwa era osibuka mu nsi y'e Kanaani. Kitaawo yali Mwamori, ne nnyoko yali Muhiiti.
4
Bwe wazaalibwa, tewasalibwa kalira, era tewanaazibwa na mazzi kukutukuza. Tebaakusiiga munnyo, wadde okukubikkako obugoye.
5
Tewali yakukwatirwa kisa kukukolako wadde ekimu ku ebyo byonna. Bwe wazaalibwa tewali yakwagala. Wasuulibwa bweru mu ttale.
6
“ ‘Nze bwe nali mpitawo, ne nkulaba ng'osambagalira mu musaayi gwo. Ng'okyali mu musaayi gwo ogwo, ne nkugamba nti sijja kukuleka kufa, ba mulamu.
7
Ne nkulabirira n'okula ng'ekimera eky'omu nnimiro. N'osuumuka, n'okulira ddala n'ofuuka muwala mukulu, omuyonjo ennyo. N'osuna amabeere, n'okuza enviiri, naye ng'oli bwereere, toyambadde.
8
“ ‘Era bwe nali nga mpitawo ne nkulaba ng'otuusizza ekiseera eky'okwogerezebwamu, ne nkubikkako omunagiro gwange oleme kusigala ng'oli bwereere. Weewaawo nakola naawe endagaano ey'okufumbiriganwa, n'ofuuka wange.’ ” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba.
9
“Awo ne nkunaaza n'amazzi, ne nkumalirako ddala omusaayi gwo, ne nkusiiga omuzigo,
10
ne nkwambaza engoye ezirukiddwa obulungi, ne nkunaanika engatto ez'amaliba agasinga obulungi, ne nkubikkirira olugoye olw'ebbeeyi, ne nkusiba ekitambaala ekirungi ennyo.
11
Ne nkwambaza amatiribona agakuwoomya: obukomo ku mikono, n'omukuufu mu bulago.
12
Ne nkuteekako empeta ey'oku nnyindo, n'eby'oku matu ne nkutikkira n'engule ennungi ku mutwe.
13
Bwe wamala okuweebwa ebikuwoomesa ebya zaabu ne ffeeza, n'ebyambalo byo eby'engoye ezisingirayo ddala obulungi, n'olyanga emmere esinga obulungi, okuli n'omubisi gw'enjuki, n'omuzigo ogw'emizayiti, leero n'olungiwa n'okamala, n'onyirira nga muka kabaka.
14
N'oba wa ttutumu mu mawanga gonna olw'obulungi bw'endabika yo, obwali busukkiridde olw'ebyo bye nakukolako.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba.
15
“Naye ggwe weeyinula obulungi bwo n'ettutumu lyo, n'okola obwamalaaya, n'okabawaliranga ku buli muntu ayitawo.
16
Watoola ku byambalo byo, okutimba ebifo byo ebigulumivu eby'okusinzizaamu, bw'otyo n'okolerayo obwamalaaya mu ngeri etebangawo era eteriddamu kubaawo ng'osinza ebyo byonna, ebitali Nze Katonda.
17
Waddira ebirungi eby'okwewoomya ebya zaabu n'ebya ffeeza bye nakuwa, ne weekoleramu ebifaananyi eby'abasajja, n'ogenda nabyo n'obisinza, nze kye mbala nti wayenda nabyo.
18
N'otwala engoye ezirukiddwa obulungi, ze nakuwa, n'obikka ebifaananyi ebyo, n'obitonera n'omuzigo n'obubaane bwange.
19
Ebyokulya bye nakuwa okulyangako: obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, omuzigo ogw'emizayiti, n'omubisi gw'enjuki, wabitoola obiwengayo bibe ekiweebwayo ebiwunyira ebifaananyi ebyo akaloosa.” Mukama Katonda bw'agamba bw'atyo.
20
“ ‘Era watoola abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala be wanzaalira, n'obawaayo babe ebitambiro eri ebifaananyi ebyo. Obutali bwesigwa bwo obwo walaba nga kintu kitono,
21
olyoke ogatteko n'okutta abaana bange ng'obayisa mu muliro okubatambirira ebifaananyi ebyo?
22
Mu kukola ebyenyinyalwa n'eby'obwamalaaya bwo, ebyo byonna, tewajjukira nnaku za mu buto bwo, bwe wali obwereere, nga tewali k'obikkiddwako, era ng'osambagalira mu musaayi gwo.’ ”
23
Mukama Katonda agamba nti: “Zikusanze, zikusanze! Bwe wamala okukola ebibi ebyo byonna,
24
n'oyongerako n'okwezimbira ku mabbali ga buli luguudo, ebifo ebigulumivu eby'okusinzizaamu ebitali Nze Katonda, n'okukoleramu obwamalaaya.
25
Ozimbye ebifo ebyo buli luguudo we lutandikira, n'ojaajaamiza omwo obulungi bwo, amagulu go n'oganjululiza buli ayitawo, ne weeyongera okuba malaaya.
26
Era oyenze ne ku Bamisiri baliraanwa bo abalina amaddu g'omubiri amangi, ne weeyongera mu bwamalaaya, okunsunguwaza.
27
“Kale kaakano ngolodde omukono gwange okukubonereza, era nkendeezezza ku mugabo gwo, ne nkuwaayo eri abakukyawa bakukoleko kye baagala, be Bafilistiya abo, abakwatibwa ensonyi olw'ebikolwa byo eby'obukaba.
28
“Oyenze ne ku Bassiriya, kubanga toyinza kumatira. Ddala oyenze ku bo, naye era nabo ne batakumatiza.
29
Ne weeyongera okukola obwamalaaya mu Bukaludaaya, ensi y'abasuubuzi, era n'osigala nga tomatidde.”
30
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Omutima gwo nga mukaba nnyo, n'okola ebyo byonna ebikolebwa omukazi malaaya kaggwensonyi!
31
Kubanga ozimba buli luguudo we lutandikira ebifo ebigulumivu eby'okusinzizaamu ebitali Nze Katonda, okoleremu obwamalaaya. Sso nno nga tonoonya nsimbi ng'omukazi malaaya eyeetunda.
32
Oli mukazi mwenzi, alekerera okwagala bba, n'ayenda ku basajja abalala.
33
Mu nkola eyaabulijjo, abasajja be bawa bamalaaya ebirabo, naye ggwe, ggwe owa baganzi bo bonna ebirabo, n'obagulirira olw'obwenzi bwo, bajje gy'oli okuva mu njuyi zonna.
34
Oli wanjawulo ku bakazi abalala abenzi, kabanga tewali akuwaliriza ggwe okwenda, wabula ggwe ogulirira abasajja, sso si bo kukusasula, kyova obeera malaaya owenjawulo!”
35
Kale ggwe Yerusaalemu omwenzi, wulira Mukama ky'agamba.
36
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Weeyambulamu engoye era olw'obwenzi bwo ne weewa baganzi bo, n'ebifaananyi ebyenyinyalwa by'osinza era bye watambirira abaana bo.
37
Olw'ebyo, ndikuŋŋaanya baganzi bo bonna be wasanyuka nabo, abo bonna be wayagala, wamu n'abo bonna be wakyawa. Ndikwambulamu engoye zo bakulabe ng'oli bwereere.
38
Ndikusalira omusango gwe basalira abakazi aboonoona obufumbo, ne batta n'abantu, ne nkuwa ekibonerezo eky'okuttibwa, nga nzijudde obusungu n'ekiruyi.
39
Ndikuwaayo mu mikono gyabwe, era balimenya amayumba go agagulumidde, balimenyaamenya ebifo byo ebigulumivu by'osinzizaamu ebitali Nze Katonda. Balikwambulamu engoye zo, ne banyaga eby'okwewoomya by'olina ebirungi, ne bakuleka ng'oli bwereere, toliiko k'obikkiddwako.
40
“Balireeta ebbiina ly'abantu ne likukuba amayinja, ne bakufumitira ddala n'ebitala byabwe.
41
Balyokya amayumba go omuliro, ne bakubonereza ng'abakazi bangi balaba. Ndikulesaayo obwenzi, n'olekera awo n'okusasula baganzi bo omusaala.
42
Bwe ntyo bwe ndikumalirako ekiruyi kyange kye mpulira olw'okukububira, ne ntereera, ne siddamu kukusunguwalira.
43
Olw'okwerabira bye nakukolera mu buto bwo, n'onnyiiza mu bino byonna, kyendiva mbikuvunaana. Wakola bubi nnyo okugatta obwenzi ku byenyinyalwa byonna bye wakola!” Ebyo Mukama Afugabyonna ye abyogera.
44
Mukama agamba nti: “Abantu balikugerako olugero luno, ggwe Yerusaalemu nti: ‘Omuwala ne nnyina be bamu.’
45
Ddala oli muwala wa nnyoko, eyatamwa bba n'abaana be. Era oli nga baganda bo, abaakyawa babbaabwe n'abaana baabwe. Nnyammwe yali Muhiiti, ne kitammwe yali Mwamori.
46
Mukulu wo ye Samariya akuli mu bukiikakkono, wamu n'obubuga bwe. Muto wo akuli mu bukiikaddyo n'obubuga bwe, ye Sodoma.
47
Tekyakumala okweyisa nga bo, n'okukola ebyenyinyalwa nga bo, naye mu kaseera mpawekaaga, wayonooneka okusinga bo mu byonna by'okola.”
48
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Ndayira nti nga bwe ndi omulamu, muganda wo Sodoma n'obubuga bwe, tebaakola nga ggwe n'obubuga bwo bye mukoze.
49
Muganda wo Sodoma n'obubuga bwe, ekibi abaamu kye baakola kyali kya kwekulumbaza kubanga baalina emmere nnyingi, n'emirembe nga beebaka ne beegolola, naye ne batafa ku baavu n'abali mu bwetaavu.
50
Era baalina olwetumbu ne bakola bye nkyawa, kyennava mbasaanyaawo nga ndabye ebyo.
51
“N'ab'e Samariya tebaakola wadde ekimu ekyokubiri eky'ebibi byo. Okoze ebyenyinyalwa bingi okusinga bye baali bakoze. Ebibi byonna bye wakola bw'obigeraageranya n'ebya baganda bo, bo balabika ng'abatalina musango.
52
Kaakano ojja kugumira ensonyi zo. Ebibi byo byenyinyalwa okusinga ebya baganda bo, ne balabika nga balungi okukusinga. Kaakati swala ofe ensonyi, kubanga olaze nti bo baganda bo balungi.”
53
Mukama n'agamba Yerusaalemu nti: “Ndikomyawo abantu baabwe okuva mu buwaŋŋanguse: aba Sodoma n'obubuga bwakyo, n'aba Samariya n'obubuga bwakyo. N'ababo ndibakomyawo wamu nabo.
54
Olikwatibwa ensonyi n'oswala olw'ebyo byonna bye wakola, ebiraga nti bo baganda bo bali bulungi.
55
Baganda bo Sodoma ne Samariya n'obubuga bwabyo baliddawo mu mbeera yaabwe ey'edda, era naawe wamu n'obubuga bwo, oliddawo mu mbeera yo ey'edda.
56
Kubanga muganda wo Sodoma tewayogeranga ng'omunyooma mu biseera bye weekulizangamu,
57
ebibi byo nga tebinnamanyika? Kaakano naawe Abeedomu n'Abafilistiya n'abalala bonna abakukyawa abakwetoolodde, bakuyisaamu emimwa.
58
N'olwekyo osaanye okugumira ebiva mu by'ensonyi ne mu byenyinyalwa bye wakola.” Mukama Afugabyonna bw'atyo bw'agamba.
59
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Nja kukuyisa nga bw'osaanidde ggwe, anyooma kye weeyama, n'omenya endagaano.
60
Wabula nze ndikuuma endagaano gye nakola naawe ng'okyali muto, era ndikola naawe endagaano ey'olubeerera.
61
Bw'oliddizibwa baganda bo, mukulu wo ne muto wo, olikwatibwa ensonyi olw'ebyo bye wakola. Ndibakuwa ne baba nga bawala bo, newaakubadde ng'ekyo tekiri mu ndagaano gye nkoze naawe.
62
Ndikuuma endagaano gye nkoze naawe, n'omanya nga nze Mukama.
63
Ndikusonyiwa byonna bye wakola, olibijjukira n'okwatibwa ensonyi, n'olemwa n'okubaako ky'oyogera olw'okuswala.” Mukama Afugabyonna bw'atyo bw'agamba.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48