bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ezekiel 37
Ezekiel 37
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 36
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 38 →
1
Awo ne mpulira ng'amaanyi ga Mukama gankutteko, Mwoyo we n'antwala n'anzisa mu kiwonvu wakati, ekiwonvu nga kijjudde amagumba.
2
N'anneetoolooza ekiwonvu ng'ampisa mu magumba. Ne ndaba nga gaali mangi nnyo, nga gabunye ekiwonvu. Era ne ndaba nga gaali makalu nnyo.
3
N'ambuuza nti: “Ggwe omuntu, amagumba gano gayinza okufuna obulamu?” Ne nziramu nti: “Ayi Mukama Afugabyonna, ggwe omanyi.”
4
N'aŋŋamba nti: “Langa ogambe amagumba gano amakalu, gawulire ekyo Nze Mukama kye ŋŋamba.
5
Nze Mukama Afugabyonna ŋŋamba amagumba gano nti: ‘Nja kubateekamu omukka, mube balamu.
6
Era nja kubateekako ebinywa n'ennyama, mbabikkeko n'olususu, mbateekemu omukka, mube balamu. Olwo mulimanya nga Nze Mukama.’ ”
7
Awo ne nnanga, nga bwe nalagirwa. Awo bwe nali nga nnanga, ne wabaawo eddoboozi. Amangwago ne wabaawo okukankana kwe nsi, amagumba ne gatandika okwegattagatta, eggumba ku linnaalyo.
8
Bwe neekaliriza amaaso, ne ndaba ng'amagumba gazzeeko ebinywa n'ennyama, n'olususu ne lugabikkako kungulu. Naye nga temuli mukka mu mibiri.
9
Awo n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, langa, ogambe empewo nti ‘Ggwe empewo, Mukama Afugabyonna, akulagidde ove mu buli nsonda, ojje ofuuwe ku mirambo gya bano abattibwa, baddemu okuba abalamu.’ ”
10
Awo ne nnanga nga bwe yandagira. Omukka ne gubayingiramu ne balamuka, ne bayimirira ku magulu gaabwe, nga baweramu eggye eddene.
11
Awo n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, ab'Eggwanga lya Yisirayeli bali ng'amagumba gano. Bagamba nti: ‘Tuli ng'eŋŋumbagumba ezikaze. Tetukyalina kye tusuubirayo gye bujja. Tuzikiridde biwedde!’
12
Kale langa, obagambe nti: ‘Mukama Afugabyonna, agamba nti: Mmwe abantu bange, ndyasamya amalaalo gammwe ne mbaggyamu, ne mbazzaayo mu nsi ya Yisirayeli.
13
Bwe ndyasamya amalaalo gammwe ne mbaggyamu, mulimanya nga Nze Mukama.
14
Nditeekamu Mwoyo wange mu mmwe ne mulamuka, ne mbateeka mu nsi eyammwe ku bwammwe. Olwo mulimanya nga Nze Mukama, Nze nkyogedde, era nga mmaze n'okukituukiriza, Nze Mukama Afugabyonna.’ ”
15
Awo Mukama era n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti:
16
“Ggwe omuntu, ddira omuggo, oguwandiikeko nti: ‘Gwa Yuda ne Bayisirayeli banne.’ Oddire omuggo omulala, owandiikeko nti: ‘Gwa Yosefu, ye Efurayimu, ne Bayisirayeli banne.’
17
Ogikwatire wamu, gibe ng'omuggo gumu mu ngalo zo.
18
Abantu b'eggwanga lyo bwe banaakusaba okubannyonnyola kino kye kitegeeza,
19
ojja kubagamba nti Mukama Afugabyonna agamba nti: ‘Ndiddira omuggo gwa Yosefu ogukwatiddwa Efurayimu n'ebika bya Bayisirayeli banne, nguteeke wamu n'ogwa Yuda, gyombi ngifuule omuggo gumu, ngukwate mu ngalo zange.’
20
“Emiggo egyo gy'owandiikako bwe ginaaba gikyali mu ngalo zo, abantu nga bagiraba,
21
obagambe nti Mukama Afugabyonna agamba nti: ‘Ndiggya Abayisirayeli mu mawanga gye baagenda, ne mbakuŋŋaanya ne mbakomyawo mu nsi eyaabwe ku bwabwe.
22
Ndibagatta ne mbafuula ggwanga limu mu nsi eyo, ku nsozi z'omu Yisirayeli. Baliba ne kabaka omu alibafuga bonna, era tebaliddayo kwawulwamu kuba mawanga abiri.
23
Tebalyongera kwefuula batali balongoofu na kusinza bitali Nze Katonda, n'okweyonoona nga bakola ebyenyinyalwa, wadde ebintu ebirala ebikyamu. Naye ndibaggya mu nneeyisa yaabwe mwe baakoleranga ebibi, ne mbatukuza. Olwo banaabeeranga bantu bange, Nze ne mba Katonda waabwe.
24
Dawudi omuweereza wange, ye anaabanga kabaka waabwe. Bonna banaabeeranga n'omusumba omu. Banaakolanga bye mbalagira, era banaakwatanga amateeka gange.
25
Banaabeeranga mu nsi gye nawa Yakobo omuweereza wange, ensi bajjajjaabwe mwe baabeera. Balibeera omwo, bo n'abaana baabwe ne bazzukulu baabwe, emirembe gyonna. Era Kabaka Dawudi omuweereza wange ye anaabafuganga emirembe gyonna.
26
Era ndikola nabo endagaano ey'olubeerera, ebakakasa nga baliba mirembe. Ndibanyweza ne mbawa okwala, ne nteeka Essinzizo lyange wakati mu bo emirembe gyonna.
27
Era n'Eweema yange eneebanga mu bo. Nnaabanga Katonda waabwe, bo ne baba bantu bange.
28
Bwe nditeeka Essinzizo lyange wakati mu bo emirembe gyonna, olwo amawanga galimanya nga nze, Mukama, nze nalonda Yisirayeli okuba abantu abange ku bwange.’ ”
← Chapter 36
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 38 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48