bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ezekiel 39
Ezekiel 39
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 38
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 40 →
1
Kale ggwe omuntu, langa eby'akabi ebirituuka ku Googi, ogambe nti: “Mukama Afugabyonna agamba nti: ‘Ndi mulabe wo, ggwe Googi omufuzi wa Roosi, Meseki ne Tubali.
2
Ndikukwata ku nkoona ne nkukyusa, ne nkukunguzza okukuggya ewala mu bukiikakkono, ne nkutuusa ku nsozi z'omu Yisirayeli.
3
Omutego gwo ogw'obusaale gw'okutte mu mukono gwo ogwa kkono, ndigukuba ne gugwa, ne nkusuuza n'obusaale bw'okutte mu mukono gwo ogwa ddyo.
4
Ggwe n'eggye lyo lyonna n'abantu abalala abali naawe, muligwa ku nsozi z'omu Yisirayeli, ne mbagabula eri ebinyonyi ebya buli ngeri n'ebisolo eby'omu ttale, bibeekavvulire.
5
Mulifiira mu ttale aweereere, kubanga Nze, Mukama Afugabyonna, Nze njogedde.
6
Ndikoleeza omuliro gwokye Magogi, n'abo bonna ababeera mu bizinga nga tebaliiko kabi ke beekengera. Olwo balimanya nga Nze Mukama.
7
Ndimanyisa abantu bange Abayisirayeli bwe ndi Omutuukirivu, era siriddayo kuvumibwa. Olwo amawanga galimanya nga Nze Mukama, Omutuukirivu wa Yisirayeli.’ ”
8
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Olunaku lwe njogeddeko terulirema kubaawo.
9
Abantu ababeera mu bibuga bya Yisirayeli, balifuluma ne bakuŋŋaanya ebyokulwanyisa ebirekeddwa awo, ne babifuula enku. Balikuma omuliro ku ngabo ennene n'obugabo obutono, emitego gy'obusaale, emiggo egy'omu ngalo, n'amafumu, ne bibamala okukuma omuliro okumala emyaka musanvu.
10
Baliba tebeetaaga kutyaba nku mu ttale, wadde okutema emiti mu kibira, kubanga ebyokulwanyisa bye banaafumbisanga. Era balinyaga abo abaabanyaganga, baliggya ebintu ku abo abaabaggyangako ebyabwe.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba.
11
“Ebyo byonna bwe biribaawo, ku lunaku olwo ndiwa Googi ekifo eky'okuziikangamu mu Yisirayeli, mu Kiwonvu ky'Abatambuze ku ludda lw'ennyanja olw'ebuvanjuba, era kiriziyiza abo abayitamu. Eyo gye baliziika Googi n'eggye lye lyonna, kyekiriva kiyitibwa Ekiwonvu ky'Eggye lya Googi.
12
Ab'Eggwanga lya Yisirayeli balimala emyezi musanvu nga babaziika, okusobola okulongoosa ensi.
13
Ddala abantu bonna mu ggwanga balyetaba mu kubaziika, era kiribaweesa ekitiibwa ku lunaku lwe ndigulumizibwa. Nze Mukama njogedde.
14
Emyezi omusanvu nga giweddeko, walirondebwawo abasajja okuba n'omulimu ogw'olubeerera ogw'okuyitanga mu ggwanga lyonna, okunoonya n'okuziika abo abalisigala ku ngulu nga tebannaziikibwa, balyoke basobole okulongoosa ensi.
15
N'abo abaligenda bayitaayita mu ggwanga, bwe banaalabanga eggumba ly'omuntu, banaasimbangawo akabonero, okutuusa abaziisi lwe baliriziika mu Kiwonvu ky'Eggye lya Googi.
16
Era walibaawo ekibuga ekiriyitibwa Hamona. Bwe batyo bwe balirongoosa ensi eyo.”
17
Mukama Afugabyonna n'agamba nti: “Era ggwe omuntu, gamba ebinyonyi byonna n'ebisolo byonna eby'omu ttale nti: ‘Mwekuŋŋaanye mujje mukuŋŋaane okuva ku njuyi zonna, mujje ku kitambiro kye mbaweerayo, ekitambiro ekinene ku nsozi z'omu Yisirayeli, mulye ennyama, munywe n'omusaayi.
18
Mulirya emirambo gy'ab'amaanyi, ne munywa omusaayi gw'abafuzi b'ensi, ogw'endiga eza sseddume n'ogw'endiga ento; ogw'embuzi n'ogw'ente ennume, zonna ezassava eziva e Basani.
19
Mulirya amasavu ne mwekkutira, mulinywa omusaayi ne mugutamiira ku mbaga y'ekitambiro nze kye mbaweereddeyo.
20
Muliriira mu ddiiro lyange, ne mukkuta embalaasi n'abazeebagala, n'abalwanyi ab'amaanyi, n'abasajja bonna abaserikale. Nze Mukama Afugabyonna, njogedde.’ ”
21
“Amawanga ndigooleka ekitiibwa kyange, ne balaba bwe nnina obuyinza okutuukiriza bye nsazeewo okukola.
22
Okuva ku olwo n'okweyongerayo, ab'Eggwanga lya Yisirayeli balimanya nga Nze Mukama, Katonda waabwe.
23
N'amawanga amalala galimanya ng'ab'Eggwanga lya Yisirayeli, baawaŋŋangusibwa lwa bibi byabwe, kubanga baayonoona, ne mbaabulira, ne ndeka abalabe baabwe okubawangula n'okubattira mu lutalo.
24
Nabayisa nga bwe basaanira olw'obutaba balongoofu, n'olw'obwonoonyi bwabwe, bwe ntyo ne mbaabulira.”
25
Kale Mukama Afugabyonna agamba nti: “Naye kaakano, olw'okulumirwa ekitiibwa ky'erinnya lyange, nja kukwatirwa ekisa bazzukulu ba Yakobo, ab'Eggwanga lya Yisirayeli mbaggyeyo gye baatwalibwa nga basibe.
26
Bwe balitebenkera emirembe mu nsi yaabwe nga tebaliiko abatiisa, balyerabira bwe baaswazibwa olw'obutaba beesigwa gye ndi.
27
Bwe ndimala okubaggya mu mawanga, ne mbakomyawo nga mbakuŋŋaanyizza okuva mu nsi z'abalabe baabwe, ndiraga amawanga mangi nga bwe ndi omutuukirivu,
28
n'abantu bange balimanya nga Nze Mukama, Katonda waabwe. Ekyo balikimanya, kubanga nze nabasindika okuwaŋŋangukira mu mawanga nga basibe, era kaakano nze mbakuŋŋaanyizza ne mbakomyawo mu nsi yaabwe, ne sirekaayo n'omu ku bo okubeera eyo.
29
Ndiyiwa Mwoyo wange ku b'Eggwanga lya Yisirayeli, ne siddamu kubaabulira. Nze Mukama Afugabyonna, njogedde.”
← Chapter 38
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 40 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48