bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Job 1
Job 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 2 →
1
Mu nsi Wuzi waaliyo omusajja, erinnya lye Yobu; omusajja ono yali taliiko musango, nga mutuufu, atya Katonda era nga yeewala ekibi.
2
Yalina abaana abalenzi musanvu, n'abawala basatu.
3
Yalina endiga kasanvu, eŋŋamiya enkumi ssatu, emigogo gy'ente ezirima ebikumi bitaano, endogoyi ebikumi bitaano n'omwandu gw'abaweereza munene nnyo; ye yali asinga ekitiibwa mu bantu bonna ab'ebuvanjuba.
4
Batabani be baagendanga balya embaga mu maka gaabwe mu mpalo; baayitanga bannyinaabwe abasatu bajje balye n'okunywa wamu nabo.
5
Ennaku ez'embaga bwe zaggwangako, Yobu yatumyangayo batukuzibwe; enkeera mu matulutulu ng'atambira ku lwa buli kinnoomu ekitambiro ekyokye, kubanga yalowoozanga nti: “Sikulwa ng'abaana bange baakoze ekibi, ne bavuma Katonda mu mitima gyabwe.” Bw'atyo Yobu bwe yakolanga ennaku zonna.
6
Olumu, abaana ba Katonda bajja okweyanjula ew'Omukama, ne Sitaani n'abajjiramu.
7
Omukama n'abuuza Sitaani nti: “Ova wa?” Sitaani n'ayanukula nti: “Nva kubaalabaala mu nsi, mbadde ngiyitaayitamu.”
8
Omukama n'amugamba nti: “Wekkaanyizza omuweereza wange Yobu? Teri amufaanana mu nsi, omusajja ataliiko musango, omwesimbu, atya Katonda era eyeewala ekibi.”
9
Sitaani n'addamu nti: “Olowooza Yobu atiira bwereere Katonda?
10
Tewamwetoolooza olukomera, ye n'ennyumba ye n'ebintu bye byonna? Wawa omukisa emikono gye bye gyakola, eby'obugagga bye ne byeyongera mu nsi.
11
Kale gezaako ogolole omukono gwo okwate ku byonna by'alina, oliraba takuvumiridde.”
12
Omukama n'agamba Sitaani nti: “Kale byonna by'alina biri mu buyinza bwo, kyokka ye tomukola kabi.” Sitaani n'ava mu maaso g'Omukama.
13
Olwatuuka, batabani ba Yobu ne bawala be baali balya nga bwe banywa omwenge mu nnyumba ya muganda waabwe omukulu,
14
omubaka n'ajja eri Yobu n'amugamba nti: “Ente zibadde zirima, nga n'endogoyi ziriira awo kumpi nazo,
15
Abasaba ne bazigwira, ne bazitwala, n'abaweereza ne babatta n'ekitala, nze nzekka nze mponyeewo nzije nkubuulire.”
16
Oyo aba akyayogera, omubaka omulala n'ajja, n'agamba nti: “Omuliro gwa Katonda gwavudde mu ggulu ne gwokya endiga ne gusenkenya n'abaweereza, nze nzekka nze mponyeewo nzije nkubuulire.”
17
N'oyo aba akyayogera, omubaka omulala n'ajja, n'agamba nti: “Abakaludeya baakoze ebibinja bisatu, ne bayiikira eŋŋamiya ne bazitwala n'abaweereza ne babatta n'ekitala, nze nzekka nze mponyeewo nzije nkubuulire.”
18
Era n'oyo aba akyayogera, omubaka omulala n'ajja, n'agamba nti: “Batabani bo ne bawala bo baabadde balya nga banywa omwenge mu nnyumba ya muganda waabwe omukulu,
19
amangu ago kibuyaga ow'amaanyi n'afuluma ku ludda lw'eddungu n'ayuuguumya ensonda ennya ez'ennyumba, n'ebagwira ne bafa, nze nzekka nze mponyeewo nzije nkubuulire.”
20
Awo Yobu n'asituka, n'ayuza ebyambalo bye, n'amwa omutwe, n'agwa wansi ku ttaka, n'asinza,
21
n'agamba nti: “Nava mu lubuto lwa nnyabo nga ndi bwereere, era ndiddayo bwereere. Omukama yawa, Omukama aggyeewo; erinnya ly'Omukama ligulumizibwe.”
22
Mu bino byonna Yobu teyayonoona era teyavunaana Katonda.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42