bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Job 22
Job 22
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 23 →
1
Naye Elifazi ow'e Temani n'ayanukula n'agamba nti:
2
“Omuntu ayinza okugasa Katonda, n'omutegeevu ayinza okubaako ky'amuyambamu?
3
Ne bw'oliba omutuukirivu, ekyo Omuyinza wa buli kantu kimugasa ki? Amakubo go ne bwe gaba gatuukiridde, anaagasirwamu ki?
4
“Lwa bulungi bwo kyava akuvunaana, n'akuwaabira emisango?
5
Obwonoonefu bwo tebuyitiridde, n'ebyonoono byo nga tebiggwaayo?
6
Baganda bo wabasaliranga emisingo awatali nsonga, abantu n'obambula engoye zaabwe, n'obaleka bwereere.
7
Akooye tewamuwa mazzi, n'omuyala n'omumma emmere.
8
Wali musajja ow'amaanyi alina ettaka, omusajja assibwamu ekitiibwa, nga kwe wasenga.
9
Bannamwandu wabagoba ngalo nsa, bamulekwa n'obamala amaanyi.
10
Ebitimba kyebivudde bikwetooloola, entiisa ey'embagirawo kyevudde ekukankanya;
11
kyova tolaba kubanga enzikiza nnyingi, n'omujjuzo kyeguvudde gukubbika.
12
“Katonda tasukkulumye okwenkana eggulu? Tunuulira emmunyeenye gye zeewanise, kumpi ki?
13
Ate n'ogamba nti: ‘Katonda amanyi ki? Alamula ng'ayita mu nzikiza eyo enkwafu?
14
Ebire ebikwafu bimubisse, tasobola kutulaba; atambulira ku nkulungo y'eggulu.’
15
Oyagala osigaleyo mu kkubo ekkadde abantu ababi lye baakwatanga,
16
abasikulwawo ng'akadde kaabwe tekannatuuka, emisingi gyabwe ne gyerebwawo emigga?
17
Baagambanga Katonda nti: ‘Tuviire! Omuyinza wa buli kantu anaatukola ki?’
18
Sso nga yajjuza ennyumba zaabwe ebirungi! kyenva neesambira ddala ebiteeso by'ababi.
19
“Abatuukirivu baalaba bwe bazikirira, ne basanyuka; abataliiko musango baabasekerera nti:
20
‘Abalabe baffe bazikiriridde ddala, n'omuliro guwemmense obugagga bwabwe.’
21
“Mugondere nno, lw'onooba naye mu ddembe; ebirungi lwe binaakujjira.
22
Kwata okuyigiriza okuva mu kamwa ke, ebigambo bye bisse mu mutima gwo.
23
Bw'olidda eri Omuyinza wa buli kantu, olizzibwawo; empisa embi bw'olizisindiikiriza ewala ne weema yo,
24
n'okasuka eri mu nfuufu ejjinja lyo erya zaabu, ne zaabu wo owa Ofiri mu njazi z'omu biwonko,
25
olwo Omuyinza wa buli kantu y'aliba zaabu wo, ffeeza wo ow'oku ntikko.
26
Olwo olisanyukira mu Muyinza wa buli kantu, olisitulira Katonda amaaso go.
27
Olimuwanjagira n'akuwuliriza; olituusa bye wasuubiza.
28
Oliteesa ekintu ne kituukirira; n'ekitangaala kiryakira ku makubo go.
29
Kubanga atoowazibwa omugamba nti: ‘Situka,’ ate ow'amaaso ameetoowaze, oyo amulokola.
30
N'alina omusango amuwonya; aliwonyezebwa ku lw'obutukuvu bw'emikono gyo.”
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42